EBYAMBAALO BYAFFE TUBISEEMU EKITIIBWA 11 Months, 3 Weeks ago
Baseruganda neba Naruganda,Nina ensonga ensuza nga nkukunaadde.Bagande bange namwe banyinaze mwena mbade mbansaba ebyambaalo byaffe ebyobuwangwa tubiwe ekitiibwa ekimala.Kino kyantuuka luumu ku kabaga akali kategekeddwa banaUG okumalaako omwaka.Narowooza nti kano ke kakiisa okulaga abamanga amalala nti naffe tulina ebyambalo ebyaffe era ebituwesa ekitibwa.Nagenda nyambadde ekanzu eyomuleera nga nekanyekanye okukira agenda okwanjula.Naye ekyanzigya enviri ku mutwe,olwayingira nti mu hall,buli muntu natandika okunsekerera mbu mbaswaziza nnyo kuba ninga ayambadde MAXI oba ekiteteeyi.Ebigambo ebyayogerwa akawungezi ako olwe kanzu yange byampisa bubi nnyo era wano wenkikinarira mbuze,Kibi ki ekiri ku Kanzu oba Gomesi??????.Nsaba akimanyi anyambe kuba nakinonya kyambula.
Re:EBYAMBAALO BYAFFE TUBISEEMU EKITIIBWA 11 Months, 3 Weeks ago
Fikema nga walaba munange,oba ekkanzu yali nene nyo okusinga kati nga obulide mu.Kyokka abantu bakikumalako,kale bambi gwe wagenda omanyi oshabudde kyokka laba bwotuka eli nga tebakulabawo,yiyiyi ensi eno.Tekwaliko kooti balyoke bakiyite ekiteteyi? Ye nga balela nyoo.
Re:EBYAMBAALO BYAFFE TUBISEEMU EKITIIBWA 11 Months, 3 Weeks ago
Mukulu Fikema nga walaba ennaku n'okusekererwa enseko abantu abatassa bitiibwa mu by'obuwangwa n'ennono zaabwe!
Amazima gali nti bangi ku bantu baffe bagenda ne bava eka nga basiibulidde ddala,nga empisa,ennono n'obuwangwa babisude mu kasasiro ku kisaawe Entebbe!
Re:EBYAMBAALO BYAFFE TUBISEEMU EKITIIBWA 11 Months, 2 Weeks ago
Fikema Zino ezekidera wazisanga wa ? abo bogamba nti nsanga muyise abantu abandibadde bakyewuunya be bastone age naye kati abantu bangi batambula nga bali mu ngoye zaabwe ezobuwangwa ate ekyo ku beeru oba obategeeza nti ekyambalo ekyange kyekinsingira ebyammwe ate olaba nabatwaala abeeru eka okufumbirwa oba okwanjula babambaza ekkanzu nekooti nobalaba ngabanekanekanye omanyi bagamba nti oyinza okujja omuntu mukyaalo naye kizibu omujjamu ekyaalo.
Nze bwensulamu kaboarding kange nentambula nkyuusa nembalagira ddala nti teli egisinga era buli mweeru abaagiwaana. Nali nkyasoma nebatugamba okukola ekyambalo nagamba nti ssagala kukola buli omu kyakoze nentungamu boarding ngolina nokulaga step by step byonna byokoze nokugissa ku form nogyambaza ngomukyaala aterezezza ate ogyambale otereko ne accesories nge nsawo , engatto necklace ne earrings era navaayo ngekirabo kyange kindi muttaano nolweekyo bwogwanga kuboarding mu magazine zabafalansa ngomanya nti Buganda ekikiribbwa.
okujjako bwenaddayo eka nembuuza bajjajja nebamaama nti bwekiba nti byonna ebinyumisa ayambadde boarding obirina kiwato bbere kabina olwo ebikooyi ebingi oba oyagala byaaki era namaliriza ebyo byonna sibitukirizza nze omu nenejjawo