Mulamu alozezza ku sukaali wange n’amutenda obuka
BBA wa mukulu wange oluvannyuma lw’okundabirira anteze akamasu era okukkakkana ng’alozezza ku sukaali wange.
Ndi muyizi mu limu ku matendekero aga waggulu mu ggwanga. Bwe nnayingira siniya, baaba n’ansaba okubeera ewuwe nga gye nva nga nsoma. Bbaffe yanjagala nnyo era ng’ampa buli kye musaba omuli n’okunsasulira ffiizi.
Ne baaba kyamusanyusa nnyo era buli bbanga yamwebazanga olw’omutima omulungi. Ebigezo bya S.6 nnabiyita ne nfuna ekifo mu yunivasite era kati ndi mu mwaka gwakubiri.
Mulamu abadde ankyalira ate nga buli lw’ajja aneetikkira ebintu nkumu nga kw’atadde n’ensimbi enkalu. Wabula ate yang’aana okubuulira ku baaba ku bintu nga bino ng’agamba nti ayinza okulowoozaamu ebirala.
Nange obutayagala kufiirwa mbeera nnungi ng’eno bannange abasinga gye balimu, nnakkiriza kye yansaba. Jjuuzi yangulira n’essimu ey’ebbeeyi kyokka nayo ngikwata mu nkukutu kubanga saagala baaba agirabe.
Newankubadde bino byonna abadde abikola, musajja wattu abadde tansiinyangako kigambo kya laavu , okutuusa ku wiikendi ewedde bwe yankimye ku yunivasite n’ansaba tubeeko we tulaga.
Bannange bonna baabadde beetambulidde nga nze nfuuse omukuumi, era mulamu we yannonnedde yanzigye ku muguwa.
Emmotoka yagivuze agizza Jinja. Twatuukidde mu bbaala emu n’atandika okugula omwenge ne tusindisa bigere, era ndowooza gwe gwanzigye ensonyi ku maaso, n’okunteeka mu ‘muudu’.
Bwe twavudde wano twasibidde mu wooteeri emu gye twasuze nga twegiriisa.
Nnamukakasizza kubanga yampuubye emirundi egiwera ne ntuuka n’okukoowa.
Yalabise nga yawoomeddwa oluwombo lwange kubanga yansuubizza wiikendi ejja okuntwalako e Mbarara gye tuba tuliira obulamu.
Published on: Thursday, 3rd July, 2008
Email this article to a friend.
KAKATI BWEKATI BWEKASAZEWO OKWEBAZA MUKULU WAKKO EBILUNGI BYEKATUSEKO;NAYE OBA NAMWE ABAAMI MWABA KI????
