|
Baali bo'gela, - ko':
Omukazi (Ritah) - Naye mwami, lwaki onjagala mazima -, lwaki?
Omwami (Tim) - Umh...silina nnyo nsonga eli awo, naye nga nkwagala mubutuufu Ritah.
Ritah - Tolina nsonga? n'abuuza. Kati kwagala nabaki okwo?
Tim - Yee...silina nsonga eli awo. Naye nga nsobola okikulaga no'okilaba.
Ritah - Okindaga? Nze mpa ensonga Tim. Mukwano gwange Mercy angamba ye ensonga bazimuwa nange zingambe.
Tim - Kale mukwano. aahh...umhh... Olimulunji Ritah, edoboozi lyo ssufu, ofaayo, onjagala, entambula yo nungi, oyiiya, bwonsekela nsanuuka, ompeesa ekitiibwa ela oli mata meelele.
Ritah - Ela kale, mpulira bulungi kati. nkakasiza onjagala bambi.
Ebyembi bambi, olwomukaaga olwadako, Ritah nafuna akabenje akabi enyo akamumenya menya n'agwa ne mukoma.
Tim nawandiika ebbaluwa na'ajisa kukameeza kumpi nekitanda Ritah kweyali.
Bweti bweyali esoma:
Mukwano, edoboozi lyo lyewalina edungi, kati tosobola kwogela, kale ekitegeeza nange SISOBOLA kwagala,
Obulunji,okwagala kwo, entambula,ensekayo,ekitiibwa, byona ebyo tokyalina - ela mba sisobola kwagala.
Ritah bweyazukuka, najisoma, Tim yamuli mabega nga amulaba. Bweyamaliriza ati, Tim kyava akutama namugamba:
Mukwano, okwagala okutuufu tekuba na'nsonga yadde. Bwekiba kyo, tewaba nsonga lwaki mba nkwagala kati.
Naye ate, mpulira nkwagala ela njagala okuba naawe. Tim nakigumizza, "Ritah nkwagala kuba nkwagala."
"Banange mwagale banamwe kuba mubagala"
|