Re:Ekyaliyo endwadde zebakebeza amaaso? 5 Months, 1 Week ago
Siriimu tebamukebeza maaso
KYANNAKU nnyo okulaba nga mu ggwanga lyaffe mwe basomesa abantu ebikwata ku siriimu buli lunaku, mukyalimu abantu abakyakebeza siriimu amaaso ne batagenda mu bifo gye bakebererwa.
Siriimu nga bweri endwadde ey’omu musaayi, tosobola kumukebeza maaso ga bulijjo n’olaba akawuka. Abamu bambi bawoza nti omukazi oba omusajja bamukeberera ku bubonero obw’okungulu.
Naye mbalabula nti mu kusooka, abantu balwala nga buli muntu n’akimanya.
Naye kati, abasinga bwe bafuna obulwadde bagenderawo mu ddwaaliro ne bafuna eddagala era omuntu atuuka okufa nga tagudde ku ndiri wadde okumulabako akabonero konna. Musooke mwekebeze n’abaagalwa bammwe nga mubafunye