Ebbanga liyise bukyanga mukise munaffe ono atusibula mbu alina gyalaga kyokka buli Sunday muwulira nga akubye essimu ate nga ne mu chatroom tuba naye butediza.Ssewa oli koma ddi okuzanya katemba,lumu ojja kwesanga nga olinga "The Boy who cried wolf".Tokitwala bubi mbu nkunenya,tukwetaga nyoo ku Connect naye lekelawo okutwewanisanga eminankani...onzijukiza omukadde omu kukyalo ekimu e Temangalo eyo.Yali akyadeko ewa mutabani we..kati nayagala azule oba dala yalina omugaso awaka weyali.Yagera abakulu bagenze okukola,nabato nga bagenze ku somero awaka nga wasigadde wo mukozi,neyetegekera obyokulya nagenda nabyo awo mukasiko okumpi nawaka neyewogoma.
Abaana olwadda nga babuza jajja aliwa?Ko mukozi mbu alabika yakyadeko ewaba mulilanwa akomawo,maama bweyada nga abuza jajja aliwa nga naye bamudamu kyekimu,eno obudde buwungela naye nga buli kyogerwa jajja gyali akiwulira.Ndowoza agyakudda tulinde tulabe.Nga taata akomawo,wewayita akasera nga talaba ku nyina nga abuza..maama aliwa,nga bamubulira nti taliwo.Taata yava mumbera nabagamba teli kidamu kutambula waka okutusa nga nyina azuse.Bonna nebabuna emiwabwo nga banonya jajja gyali,abe kyalo nga bakungana bonna olwo omukadde abuze.Baba bakyali awo bebuza ekidirila nga jajja yesowolayo mukasiko nga bwamwenya..nabagamba nti eehh ntegedde leero nti nange ndi wamugaso bulijjo ndowoza nti temukyandaba nga owomugaso olwokuba nkadiye.Kale nga mbalabila naye nawe Ssewa ogila.................................
