Bannabyabufuzi balumbye Museveni ku by’okuyigga 9 Months, 2 Weeks ago
Bya Angel Lubowa
EBYAYOGEDDWA Pulezidenti Museveni nti tanatuuka kuva ku bukulembeze ne yeegeraageeranya ku muyizzi amaze okwefumitira ensolo ye bali ne bava eri ne baagala okugigabana byogezza bannabyabufuzi abamu ebikankana.
Museveni bwe yabadde e Munyonga, Kyeizooba mu Bushenyi ku Lwokubiri yagambye nti talina gy’alaga mu Lunyankole nti, “Niinye nahiigire enyamaishwa yange nkagiita, mbwenu ngu ngyende,nzehi?” ekivvuunulwa mu Luganda nti “nze nayigga ensolo yange kati mmaze okugitta nti nveewo”.
Omubaka Beti Kamya owa FDC ategeezezza nti “akagero ka Museveni ak’okuyigga ensolo kanneewuunyisizza kubanga ensolo gy’ayogerako ye Uganda era tagittanga kubanga naffe mwe tuli tugirwanirira.”
Yayongeddeko nti Museveni talowooza nti ensolo Uganda yakulya wabula eteekwa kulundibwa n’abalala bagisangewo.
Omumyuka wa Katikkiro w’e Mmengo, Nsubuga Nsambu yategeezezza nti ebigambo bya Pulezidenti byayambye okukakasa abantu abamu bye bazze bamwogerako nti kubanga omuyizzi tatera kuyigga mumwe.
Wabula Ssebaana Kizito (DP) yayambalidde Museveni n’abamuwagira nti agira afuga n’abuuza nti “Museveni alowooza twerabidde bye yayogera mu 1986 nga yakawamba nti wakufugira emyaka ena.
Yali ayogera ebyo nga yeerabidde nti yayizze? Ye ne bwe guba muyiggo emyaka 22 gy’afuze by’alidde ne by’afunye bitono?”
Yahaya Kamulegeya owa Peoples Independent Party (PIP) yagambye nti ebigambo bya Museveni byamukubye wala n’akizuula nti abantu baalonda bubi.
Daniel Muliika yagambye nti Museveni bw’abeera yeeyise muyizzi kitegeeza nti yatyoboola dda banne bwe baagenda okuyigga naddala Buganda etaagabana.
Kukaayana na kuwamba bya balala ate ne bano be muyizze nabo obawaako.
“Atubuulire banne bwe baayigga nga ffe Abaganda atusasudde ki?.
Okuyigga muzzanyo gwa mazima na bwenkanya tegukolwa bw’omu era bano ogabana nabo sso ssi kwekkusa wekka” bwatyo Muliika bwe yakubidde.
Re:Bannabyabufuzi balumbye Museveni ku by’okuyigga 9 Months, 2 Weeks ago
Banage ndowozza nti former president--his exellence BINAISA--yali mutufu nti entebbe ewoma era tefikamu-----Idi Amin Dada--bweyayogera nti iam the life president of Uganda-abantu nebatandika okuyekera-era our leader his exellence General YOWERI MUSEVENI KAGUTA-na forming wo ekibina FRONASA---Okulwanisa dictator Idi Amin----eyali mu buyinza emyaka nge esatu jokka--naye General museveni ali mu buyinza emaka abiri nokusukawo--era tayatula nti ndi life president-naye kirabika nti kya yakala okuba-banage can we trust our leaders? tomorrow will may be KIZZA BESIGYE OR ANY OTHER HOW CAN WE TRUST them? may be--former president his exellence Binaisa tell us more of the entebbe of the presidency---we are luck that we still have him- respect Q.C