Owino -Gye batunga engoye ne bazissaako obupande bwa Yitale
WALI otunuddeko ku kitogi ky’olugoye lwo n’olaba wa gye lwatungibwa?
Bannakampala okuyiiya kubasusse,akuguza olugoye ng’ataddeko ensi gye luva kyokka nga balukoledde mu mayumba gaabwe.
Sijja kukutwala wala, kankulambuze ‘Made In Owino’ ekifo awagumbye abantu akatunga engoye eziyaayaanirwa nga bazitaddeko obupande bwa Yitale.
Abantu ekitundu kino baakikazaako lya ‘Down Town’ era oli bw’akulagirira yo omanya nti akugamba katale k’abantu akajjudde abayiiya kyokka nga n’ebintu njolo, ssente ze zikusalako.
Wakati mu kitundu kya Down Town we wali Made in Owino. Era kiri wakati mu katale ka Owino. Eno wewali abakyala n’abaami abamanyi okutetenkanya obulamu.
Abakoleramu batunga buli kika kya lugoye era ogwabwe si gwa kuddaabiriza oba kukuba biraka.
Bano bakyusa ekibadde ekiwero,ebadde essuuka oba olugoye ne balufuula olugoye olwambalwa omuntu. Balimu ebibinja, si buli muntu nti akola gwa munne era bagigabana bulungi buli omu n’abaako gw’akola.
Nnalongo Nanteza akola ogw’okukomola obuwale bw’abaana, agamba nti mu bbo mulimu abakeera okusala endiboota ne bafunamu engoye embi bbo ze batungamu endala ne bazizza mu katale.
Abakeera be bafuna amasuuka ge batungamu amasaati, ekkooti, empale n’ebirala era tebasuula kiwero kubanga n’ebiwero bye basala ku bye batunga bakomekkereza babitunzeemu waakiri ebisaati eby’amadowadowa eby’ettanirwa ennyo abalaasi.
Mulimu ekibinja ekikola ogw’okukomola. Bano olubaleetera ekigoye kyonna kye basaze mu ndibota nga bayiiya kambalo kinaavaamu.
Bano olumala okutunga engoye nga basuubuza era babeera n’obubonero bw’amakampuni g’ebweru bungi, gwe aguze olugoye n’olowooza nti lw’oyambadde luva Thailand oba Yitale. Ogw’okutunga gusinga kwettanirwa bakazi, ate ogw’okusuubula n’okugula ebiwero ne gukolebwa basajja.
Batunga buli kika kya lugoye omuli amasuuti, engoye z’abakazi ez’omulembe n’endala. Oli bw’akugamba nti ‘ono Kampala kuyiiya’ tomuwakanya. Buli muntu alina kulya ku magezi ge.[img size=150][/img]
