CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Gavt. ediibuuda ssente ku bitaliimu (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Gavt. ediibuuda ssente ku bitaliimu
#8554
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Gavt. ediibuuda ssente ku bitaliimu 9 Months ago  
[img size=150][/img]

Abapoliisi nga bakuba abawagizi ba DP e Mukono omwaka oguwedde.



Bya Hussein Kyanjo



EMBEERA gye tulimu ennaku zino, naddala ku b’oludda oluvuganya erina be yeeraliikiriza nti osanga Gavumenti yanditulemesa okuboogerera ensonga ezibaluma. Kino okirabira ku ngeri Poliisi omwezi oguwedde bwe yatulugunyizza omubaka Erias Lukwago n’engeri Pulezidenti Museveni gye yakuttemu ensonga ze n’omubaka Beti Kamya.



Wabula nze ng’amba nti abantu balina okuyiga okubanja Gavumenti ssente zaabwe z’eyonoona. Okuddira abaserikale 1,000 n’obayiwa ku kkooti e Kampala n’e Masaka, n’osiba enguudo n’okukozesa oluseregende lw’emmotoka ng’okwata abantu babiri abatalina yadde ennyaanya mu ngalo kinakuwaza.



Wano Bannayuganda we balina okuzuukukira bamanye nti Gavumenti eri ku ssente zaabwe eyonoona okusobola okwekuumira mu buyinza. Ffe abagivuganya tetujja kuweera era tukyagenda mu maaso.



Pulezidenti bwe yawandiikidde Beti Kamya, n’agamba nti agenda mu kkooti ku nsonga ezimu ze batakkaanyizzaako tekyabaddeko mutawaana. Wabula obuzibu buli ku ngeri Pulezidenti gy’ayinza okuva ku nsonga n’atandika okulumba omubaka nti muwala wa mujaasi wa Amin. Kino Pulezidenti si ye yandibadde akyogera kuba ye teyakoma ku kukolera mu ofiisi ya Obote naye abajaasi ba Amin bangi akola nabo!



Ate ekirala, ng’omuntu omulala yenna, Beti Kamya alina eddembe okubuusabuusa obuzaale bwa Pulezidenti Museveni. Nkizudde nti pulezidenti alina ekizibu kimu, alemwa okwesonyiwa.



Ffe mu kunoonya akalulu baatuyitanga bagwira naye tewali gwe twatwala mu kkooti. Pulezidenti alina okwekenneenya abamuyamba okumuwandiikira okwewala ebintu ebimuweebuula.



Okugeza, kizibu kya kukkiriza nti

Pulezidenti yayise Kabaka ne bannaddiini abasomese ku ttaka kuba bo tebalitegeera. Bwe kiba nga kituufu yabyogedde, kyakusaalirwa nnyo.



Waliwo ebigambo bingi bye twogera ku balala naye nga tubyogerera mu maka gaffe. Kati Pulezidenti bw’addira ebigambo ebyogererwa awaka, awali omukyala n’abaana n’abibuulira eggwanga lyonna, ebigambo bye tebikoma kumuyiwayo naye biswaza nnyo. Kati Kabaka amusome ki ekyo era ng’ani? Lwaki tasooka ewaabwe e Mbarara n’asomesa abaayo?



Waliwo abaalya mu Buganda olukwe, era abakyagenda mu maaso okugiryamu olukwe naddala ku by’ettaka ebiriwo. Nze omulimu ogwange ogw’okutegeeza eggwanga abakulembeze baffe abaatulyamu olukwe nnagumaze. Naye mpulira omumyuka wa Pulezidenti anvumirira olw’okwogera ekituufu naye nkitwala nti yabadde ayanukula bulijjo by’ajja yeegaana.



Yadde Polof. Bukenya agamba nti okukakasa nti Buganda teyagiriddemu lukwe tumulinde ajja kubaawo nga basoma etteeka ly’ettaka omulundi olwokubiri n’ogwokusatu, ekyo kirimu okutimba bbula.



Naye akimanyi nti ku mitendera egyo gy’ayogerako bayinza okuleeta ebintu ebirala liri etteeka ne liyitawo. Bw’agamba nti obutabeerawo ku lusoma lw’etteeka olwasooka kuba omukolo gwali gwa kiseera kitono nga tekyetaagisa, teyatuyamba. Singa buli mubaka yakola ng’omuyivu bwe yakola olwo Sipiika yandibaddeyo yekka?



Ekisembayo, siri musanyufu engeri Pulezidenti gy’alumbamu leediyo ya Buganda eya CBS. Pulezidenti akimanyi nti leediyo byuma, ffe tugendayo ne twogererako ensonga zaffe.



Kati ky’aba akola akwate ffe aboogererayo mu kifo ky’okudda ku byuma ebitalina musango. Ekirala, y’omu ku basinga okwogerera ku leediyo ssaako n’abakungu be abalala b’atumayo okwogera ensonga ze. Kati ayagala bamukole batya? Bw’aba ayagalayo bwa Genero- maneja alamule bulungi ky’aba ayogera.



Kyanjo mubaka wa Palamenti owa Makindye West. Yabitegeezezza Semei Wessaali.



Published on: Sunday, 2nd March, 2008
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here arrow Forum
Advertisement
Advertisement