CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Re:LAND ISSUE WILL CAUSE WAR (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Re:LAND ISSUE WILL CAUSE WAR
#5273
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:lAND ISSUE WILL CAUSE WAR 1 Year ago  
Ebikwata ku ttaka waakiri enkuba etugwerako



BAABADDE bakyawuliriza abakungu ab’enjawulo nga babasomesa ku bikwata ku ttaka mu Bulange e Mmengo, enkuba n’etandika okutonnya.



Kyokka abantu baaganyi okuseguka n’ebagwerako nga beebisse obutebe nga bagamba nti ku bikwata ku ttaka waakiri enkuba ebaggwerako naye nga tebavuddeewo.



Published on: Monday, 19th November, 2007
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
#5274
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:lAND ISSUE WILL CAUSE WAR 1 Year ago  
‘Mutunyige ku ttaka naffe tubalinze mu kalulu’



Aba LC bawabudde Gavumenti ku tteeka ly’ettaka



EBBAGO ly’etteeka ly’ettaka erigenda okwanjulirwa Palamenti likyayombya Abaganda n’abantu abalina ettaka.



Bassentebe ba LC I mu Kampala bagamba nti lirimu akatego k’okunyigiriza Abaganda, okunyaga ettaka ly’ebika n’okusengula ebiggya.



Abamu baawadde amagezi nti balinde lwe wanaabaawo akalulu nabo babonereze abalireese. Baayogedde ne Ibrahim Ssegirinnya ne Ibrahim Kisuule. BASSENTEBE ba LC I ne bakansala Abaganda mu Kampala balowooza nti Abaganda bonna bandibadde mabega wa Mmengo ku nsonga y’ettaka.



Abamu bawa amagezi nti etteeka ly’ettaka eppya erijja, oba liyitamu oba teriyitamu lyandibadde liyigiriza Abaganda okusalangawo ekitole ku nsonga ezikwata ku Buganda awatali kufa ku kibiina kyabufuzi, ddiini n’endowooza endala.



Ssentebe w’e Bbiina Zooni 5 Mw. Andrew Mulindwa agamba nti tasobola kuwagira gavumenti ng’ereeta etteeka erigenderera okunyaga ettaka lya kabaka n’ery’ebika. “Mpagira NRM naye bw’onyaga ettaka lya Kabaka oba onyaze ttaka lya Buganda.



Bw’onyaga ery’ebika ng’osenzaako Abalaalo ate n’obakolera etteeka eribawa obwannannyini olwo gye bujja ffe balituziika ku miti?,” bwe yabuuzizza.



Akulira ensonga z’abakyala e Mutungo Zooni 4 Muky. Namakula Ssembajjwe, agamba nti ku luno ali mabega wa Mmengo ku nsonga y’ettaka n’alabula ab’amawanga amalala abasirise ng’abataliiwo nti Pulezidenti Museveni ky’agezaako okukola mu Buganda agenda kukibakola gye bujja.



Kansala akiikirira Kisenyi, Salim Saad, Kabaka gwe yawa erinnya erya Nsubuga, agamba nti bwe kiba ng’abasenze babagoba ku ttaka, waliwo engeri endala nnyingi eziyinza okugonjoolamu ensonga zino nga Gavumenti, bannannyini ttaka ne Mmengo bayita mu kuteesa.



Yabuuzizza nti bwe kiba nga mu Buganda mulimu abatali bazaaliranwa abalina ettaka era nga tebabagobangamu, lwaki Gavumenti kigikaluubirira okuteesa ne Mmengo ku nsonga eno ng’abantu abasinga bwe bagiwabudde?



Kansala Shifra Lukwago akiikirira Kawempe mu KCC agamba nti ekimuwagiza Mmengo ku nsonga eno kwe kuba nti abaleeta etteeka nga beerimbika mu kuyamba abasenze be baleeseewo embeera egoba abasenze buli we bagula ettaka.



“Edda abasenze tebaagobwanga ku ttaka, lwaki kitandise kati? Waliwo abanene mu Gavumenti ne bofiisa b’amagye ababadde basengula abantu ku ttaka.



Be basomba Abalaalo okubasenza ku byalo, kyokka kati ate be baleeta etteeka nti baleme kugobwa,” bwe yagambye.



Ssekalema Abubakar, kansala w’e Katwe- Muwanga Zooni agamba nti alina ettaka e Masaka era tayinza kuwagira tteeka erireetebwa kubanga liringa erigabira abebibanja ettaka ery’obwereere.



Abuuza nti kati olwo buli ttaka lyakubaako ebyapa bibiri? Ssebyala Kasozi, Ssentebe wa Musoke Zooni e katwe alabula nti etteeka lizze kumalawo Baganda.



Hussein Mubiru Ssentebe wa Lugoba- Kazo naye agamba etteeka balireeta kufeebya Kabaka era n’akubiriza buli Muganda obutakyerabira.



Kansala Siraje Kabuye owa katwe 1 parish agamba nti Abaganda bayige okufa ku bantu baabwe n’okubonereza abo ababakola obubi nga bayita mu kalulu.



Edisa Namagembe ow’e Lugoba abuuza nti Abaganda gye bujja bajja kubagoba ku ttaka.



“Singa naffe twali tetukkiriza kulonda batali Baganda ng’ebitundu ebirala bwe bikola, bino byonna tebyanditutuuseeko,” bw’awunzika.



Published on: Monday, 19th November, 2007
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
#5279
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:LAND ISSUE WILL CAUSE WAR 1 Year ago  
Kiboga residents in land row with army



EPHRAIM KASOZI & AND FRED MUZAALE



KAMPALA/KIBOGA



THE army has fenced off Nalukonge Trading Centre, Kyankwanzi Sub County in Kiboga District in a move to evict over 2000 residents from the land they have occupied for many years, Daily Monitor has learnt.

The residents said the Commandant of the National Leadership Institute, Maj. Henry Matsiko, ordered the soldiers to fence off the land that accommodates a bigger part of Nalukonge Trading Centre.



According to the residents business, schools and church activities in the area have been paralysed by the soldiers who are guarding the place.



Nalukonge Trading Centre is the major town in Kyankwanzi Sub County. It's located about 2 kilometres from Nali.

"They [soldiers] came and sealed off about 30 acres of land and ordered us to vacate the place immediately. They told us that unless we vacate, we shall be leaving in the army barracks," one of the residents told Daily Monitor yesterday on phone, on condition of anonymity for fear of being arrested.



Kiboga District Chairman, Siraje Nkugwa Kizito described the eviction of the residents as a move to disenfranchise them of their land.

Mr Kizito said, "If the government is evicting people now, what is the rationale on who should evict and who should not?"



He said neither leaders nor courts of law approved of the move.

"Basing on the fact that an amendment to the Land Act of 1998 is soon being tabled in Parliament and that it shall address the issue of bonafide and lawful occupants, I consider the eviction order as a decision that was hurriedly taken without consideration of the facts on the ground," said Mr Kizito, who is also the Kiboga District NRM chairman.



He said that they had directed the affected residents not to go away from their land until a solution is found. "We have taken the matter to President Museveni so that he intervenes to have these people stay on the land," he said. The residents said part of the land had been allocated to herdsmen who were recently evicted from Masindi District.



The land is part of the 9,000sq miles the Buganda government wants to recover from the central government. Defence and Army Spokesman Felix Kulayigye confirmed the fencing of the land but denied any evictions.

He said the Military Land Board met the residents some years ago to settle the matter.



He added that the land belongs to the army and that he is surprised to hear some people complaining. Maj. Kulayigye said since theland belongs to the UPDF , the residents have to leave without any court order.


Kyankwanzi Sub County Chairman Fred Mpora described the situation and action by the army as "unfortunate."



"The soldiers have defied the law and local government leaders and have settled the land issue in this area in an unlawful manner. They have gone ahead to threaten people who wanted to tamper with the barbed wire fence," Mr Mpora said.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
#5314
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:LAND ISSUE WILL CAUSE WAR 1 Year ago  
Etteeka ly’ettaka teriyamba wadde abasenze



Bya Godfrey Lule



ABANTU bangi beeralikiridde etteeka ly’ettaka erijja ne beerabira nti etteeka eryo nnyongereza ku tteeka ly’ettaka erya 1998. Mu tteeka eryasooka, Gavumenti mwe yakolera amateeka okusobola okunyaga ettaka ly’abantu, kati lino lye baleeta basembeza bunyazi lwakuba buli omu akirabye.



Ng’oggyeeko okuba nti etteeka eppya lireeta ebintu ebitasobola kukola okuggyako okutabangula omusenze ne nnannyini ttaka, ng’okuwa omusenze obuyinza okuwaabanga ewa minisita mu kifo kya ssemateeka, nnannyini ttaka okusookanga okwebuuza ku musenze nga tannatunda ttaka n’ebirala, ate waliwo abantu kye basaanye okumanya mu tteeka lino.



Ettaka kya buwangwa abantu kwe batambuliza obulamu bwabwe. Kwe balima emmere, okulundira ensolo zaabwe, okuli enzizi kwe bakima amazzi, ebibira mwe basennya enku n’amayumba gaabwe. Ssinga etteeka lino litandika okukola, ebyo byonna byakutaataganyizibwa oba okusaanyizibwawo. Ebyo waggulu kwe kutambulira obulamu bw’omuntu era we bitali naye taliiwo.



Abasanze bategeere nti olwaleero Pulezidenti Museveni ayogera nga bw’ayagala okubayamba alina ky’agoba.Bw’olabanga omuntu nga yeefudde akwagala ennyo weebuuze nti alina kigendererwa ki?



Ggwe teweebuuza lwaki abantu abapangisa ku ttaka lya KCC ne Gavumenti basasula busanga era omubalirizi wa Gavumenti asooka kubalirira kye bafuna olwo n’ababinika omuwendo kyokka bwe gutuuka ku bantu ba bulijjo mu Buganda ne bagamba abasenze basasule obusuulu bwa 1000/- buli mwaka awatali kufa ku kiki ekikolebwa ku ttaka eryo!



Bwe kiba nga kituufu nga Gavumenti erumirirwa basenze n’abapangisa, lwaki n’abali ku ttaka lyayo tebasasula 1000/-? Awo abasenze mu Buganda we bandisinzidde okuzuula nti ebyo ebibagambibwa nti baagala kubalwanirira kakodyo, balina kye baagala okubafunako.



Bw’ogeraageranya etteeka lino erijja n’obwannannyini ku ttaka mu bitundu ebirala, okirabirawo nti abaalikoze essira baalitadde nnyo ku Buganda yadde n’abalala liyinza okubataaganyaamu. Baalikoledde Buganda kuba wano we wali ettaka lya mayiro ne freehold ate era kye ky’obuwangwa bwaffe..



Ate bw’ogattako eky’okuba nti abanene mu Gavumenti eno baguze nnyo ettaka mu Buganda ne batandika n’okwegazaanya, kisoboka okuba nga bano bennyini beefubiridde okulaba nga bataataganya Obuganda n’okulaga nti bali ku ludda lwa basenze oluvannyuma ettaka lyonna balitwale. Ekyo kisobokera ddala kuba be bali mu buyinza, balina amaanyi ne ssente.



Abaganda bonna bamanye nti obuzibu butujjidde. Etteeka lino lizze kusaanyaawo Bwakabaka bwa Buganda kuba bw’otaataganya ettaka eky’obuwangwa ekisinga obukulu ng’oyagala okusangulawo ebyo bajjajjaffe bye baategeka mu kusooka, Buganda oba ogimazeewo.



Oba ogiggyeeko n’obuyinza okukola ku nsonga zaayo ez’Ebyaffe n’olwekyo buli Muganda amanye nti lino etteeka bwe liyitamu, Buganda tugifume.



abalaalo abawamba ebyalo kimanye nti nabo basenze. Ssinga etteeka eryo liyita, omulaalo agwa mu kiti kino bw’ajja ne yeesenza ku ttaka lyo, minisita w’ajjanga okulimukuumirako.



Godfrey Lule yaliko minisita w’ebyamateeka e Mmengo.

Yabitegeezezza Semei Wessaali.



Published on: Sunday, 18th November, 2007 from bukedde
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
#5409
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:LAND ISSUE WILL CAUSE WAR 1 Year ago  
'Twagala kyapa awali Yunivasite y'e Makerere



Bya Robert Masengere



MMENGO eyongedde okukaluba ku nsonga z’ettaka bw’egambye nti eyagala ekyapa ky’ettaka Buganda lye yawaayo okuzimbako Yuniva-site y’e Makerere kiwandiikibwe mu mannya gaayo.



“Tetwejjusa kuwaayo ttaka okuli ettendekero lino mu kiseera ekyo nga liyitibwa University Collage of East Africa, naye twagala obwannannyini busigale mu mikono gya Buganda olw’okwewala abalabbayi abayinza okulyekomya nga bayita mu mateeka g’ettaka ng’eryo eriri mu bubage,” Minisita w’ettaka e Mmengo Katimbo Mugwanya bwe yagambye.



Eddala lye baagala lidde mu mannya ga Buganda kwe kutudde abalimi ba ppamba abayitibwa Empire Cotton Growing Association e Namu-longe, ery’olukale erya mayiro 9,000, erya mailo 1,500 okutudde entobazzi, sikweya mailo 16 erya Katikkiro wa Buganda, 16 ez’omulamuzi, 16 ez’omuwanika n’awalala.



Published on: Thursday, 22nd November, 2007from bukedde
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
#5410
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:LAND ISSUE WILL CAUSE WAR 1 Year ago  
Gavt. terina buyinza kuwamba ttaka— Awori



Bya Bridget Namitala



MUNNABYABUFUZI Aggrey Awori agambye nti tewali muntu alina buyinza kuggya ku Baganda ttaka lyabwe kuba lyabwe lya bwebange era nga bwe libaggyibwako n’amaanyi, bajja kulyeddiza mu biseera eby’omu maaso.



Yagambye nti gavumenti terina buyinza kutwala ttaka ly’Abaganda kuligabira Balaalo.



Bino yabyogeredde mu lukung’ana lwa CHOGM olw’abantu baabulijjo, abantu gye baaweeredde endowooza zaabwe ku bintu eby’enjawulo ebibaluma olwabadde ku Hotel Africana ku Lwokusatu.



Okutuuka ku kino yabadde ayogera ku pulezidenti Robert Mugabe owa Zimbabwe eyagaaniddwa mu lukungaana luno kuba yawamba ettaka ku Bazungu n’aliwa bannansi.



Awori yagambye nti bannansi ba Zimbabwe baalina okuddizibwa ettaka lyabwe kuba Pulezidenti Mugabe bw’atandikikoze kwandibadde nga kubalyamu lukwe.



Published on: Thursday, 22nd November, 2007
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here arrow Forum
Advertisement
Advertisement