CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Re:lAND ISSUE WILL CAUSE WAR (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Re:lAND ISSUE WILL CAUSE WAR
#6417
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:LAND ISSUE WILL CAUSE WAR 11 Months, 4 Weeks ago  


Enkyukakyuka z’ebyettaka zaakuleka Abaganda mu bwamulekwa




Polof. Livingstone Walusimbi



ENFUGA ya nnaakyemalira eyatandika mu 1912 yakola nnyo mu nsi z’e Bulaaya ey’ebuvanjuba. Enfuga eyo y’eri ne mu China ennaku zino. Mu nfuga eyo, ebintu byonna mu nsi biba bya bantu bonna. Omuntu takkirizibwa kuba na kintu kikye ku bubwe gamba ng’ettaka.



Naye enfuga eyo eya nnaakyemalira efuula ettaka erya lukale, erina abantu abalondemu oba ab’oluse olumu b’ewa eddembe okussa emirimu gyabwe ku ttaka wonna we baagala. Abantu abo basobola okuba n’amalundiro, ennimiro, wooteeri, ebisulo ebipangisibwa, amakolero n’ebirala nga tewali abakubye ku mukono.



Omugenzi Nyerere enfuga eyo yagikozesa mu Tanzania. Yaggyayo enfuga ey’ennono n’assaawo enfuga y’ekipooli eya mayumbakkumi. Ennimi zonna ezaali ziwera 140 n’okusingawo yaziwera mu masomero ne mu Gavumenti. Ettaka lyonna lyafuuka lya bantu bonna.



Obote n’abatufuga kati bwe badduka Amin, bonna baddukira wa Nyerere. Bonna baagenda okuvaayo nga bakkiririza ddala nti enfuga ya nnaakyemalira y’esinga obulungi. Obote olwadda mu buyinza n’assaawo enfuga ya mayumbakkumi, yali tennannyikira mu bantu aba NRM ne bamufuumuula.



Aba NRM nabo bwe bajja mu buyinza mu 1986 baatandika okugoberera enfuga y’emu eya kitaabwe Nyerere. Kye baakola ekyenjawulo kwe kukyusa erinnya lya mayumbakkumi ne balifuula RC, oluvannyuma ezaafuuka LC.



Enfuga ezo eza mayumbakkumi, RC, LC ne NRM zonna ekigendererwa kye kimu, kuggyayo nfuga ya nnono kubanga enfuga eyo yeesigamiziddwa ku federo. Enfuga eya federo ewa abantu obwannannyini ku bintu byabwe ebyobuwangwa, ng’omwo mwe muli ettaka nga wano bwe kiri mu Buganda. Lumu, waliwo omunene mu NRm eyagamba nti ekyabateekesaawo enfuga ya RC kwagala kuggyawo nfuga ya nnono mu Uganda.



Ekikolwa eky’okwagala okufuula ettaka lya Buganda okuba ery’olukale tekiguddeewo bugwi kaakati. Ekirowoozo kino abatufuga baakifuna dda nga Nyerere akyafuga Tanzania. Obutafaanana Obote eyakozesanga amaanyi okuggyawo ky’ayagala, bano bo ensonga y’ettaka bagikutte mpola ate ng’oluusi bayita mu ffe Abaganda naddala abaana ab’omu ntumbwe (abatali ba mu njoka).



Ettaka kyabuwangwa bwa Muganda. Ekibiina ky’amawanga amagatte ne Uganda ky’erimu nga mmemba kyayisa dda etteeka erigamba nti, ‘buli muntu wa ddembe okuba n’eggwanga lye era waddembe okuba n’obutaka bwe...’

\

Ssemateeka wa Uganda essuula eyokuna akatundu 37 naye agamba nti buli muntu alina eddembe lye okukuuma ebyobuwangwa bye era n’okubikulaakulanya.



Amateeka ago gombi ganywereza ddala ettaka ly’Abaganda. Omuntu agezaako okuggya ku Muganda ettaka lye abeera atyobodde amateeka ago. Omuganda aba amuggyeko ekyobuwangwa kye ekikulu ennyo era ennono ye. Aba amuggyeeko obutaka bwe, Abataka ne Ssaabataka.



N’olwekyo nze ng’amba nti Abaganda beesibe bbiri okulwanirira ettaka lya Buganda n’eggwanga lyabwe lireme kusaanyizibwawo. Ggwe olaba n’erinnya Buganda teririna we lirabikira ku maapu ya Uganda!



Polof. Livingstone Walusimbi musomesa mu yunivasite e Makerere.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
#6418
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:LAND ISSUE WILL CAUSE WAR 11 Months, 4 Weeks ago  
Uganda nnene emala bulungi abantu baayo singa basooka nebatuula wansi nebajjukira ewaabwe gyebaava , bajja kukizuula nti baleseeyo ettaka eddene. Era bwebanadda mukwebaka bajja kwesanga ngabayindi yonna basizaayo amasamba gaabwe. Mukifo kyabuli omu okudda ewaabwe nakulakulanyaayo besibiridde mu Buganda era yensonga lwaaki twagala okwekutulako kuba tukooye okutunyigiriza nga mudduka ewammwe awagazi obulungi. Obubbi nobutemu obutatadde, tukooye okulera agasajja nagakazi agakulu.FFe wano ebbanga lyonna lyebatutemudde nga tetwasitula ngugu zaffe kugenda mu West oba mu North tukooye ekitali ekyo ebintu kati tubikwasizza bajjajja mujja kugendera mubbanga mudde ewammwe ebisigadde mujja birabira awo, nga bibatuseeko anti balina fed - express ejja batusaako obukunta bwammwe bwemunaaba mulese emabega . we had enough we are tired and sick
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
#6433
xaza (User)
Junior Forum Member
Posts: 133
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:LAND ISSUE WILL CAUSE WAR 11 Months, 3 Weeks ago  
Abantu abawaalirira okubba e ttaka mu Buganda, lwaki temudda ewamwe jemusibuka, sso nga nayo eriyo ettaka ejjimu? Mu Buganda munoonyaamu ki? Mwe mulowooza nti abaganda ssi bantu abagala okubeera ewabwe? Era n'abaNubbi nabo bwebatyo bwebaali nga mmwe - nga tebagala kuva mu Buganda. Kati bali luddawa? Mukyabalabamu mu Kampala, oba mu Buganda? Lwaki mmwe temuyiga? Oba abaNubbi abaali wano mu Kampala nga bangi ng' ebiyenje (oba virus), olaba kati mu Kampala temukyali, mwe mulowooza kiki ekinabasobozesa okusigala wano?
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#6443
chamu (User)
Junior Forum Member
Posts: 88
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:LAND ISSUE WILL CAUSE WAR 11 Months, 3 Weeks ago  
Their land in Ankole etc is virtually empty. Why do they pick on Buganda to purge their 'unbudgeted population growth'? Those stealing land in Buganda are not the unbudgeted population. It is the ruling mob. It is actually not a case of population growth. It is daylight robbery. The balalo were living somewhere. They were simply relocated - not their siblings, leaving their former dwelling places to be occupied by the ruling mob, because of prospective oil in that area.



Sir, it is not population growth. It is robbery. But they are joking, as they will soon find out.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#6444
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:LAND ISSUE WILL CAUSE WAR 11 Months, 3 Weeks ago  
Wano kiringa omusenze bwasitula ekika kye kyonna nakikuba mu makago nalyooka akuwoleza ngabwozaala ennyo ,gwe nyini maka gwooba osala kubozaala kyokka ye ekyaalo kyewaabwe ye asigale nga kyakikusombera oh nayongerezaako nti kati tebakyajaawo.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
#6915
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:lAND ISSUE WILL CAUSE WAR 11 Months, 2 Weeks ago  
BANO abatuuze b’e mawugulu tebawena. Bakkakkanye ku bapunta abaatumiddwa omugagga w’omu Kampala, Haruna Kasaayi okupima ettaka mu kitundu kyabwe ne babakuba emiggo n’okubatema embale ne mmotoka mwe bajjidde ne bagikumako omuliro n’ebengeya.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here arrow Forum
Advertisement
Advertisement