Mmengo egaanyi okuwabulwa kwa Museveni
Bya Kigongo Ssebalamu
AB’E Mmengo bagenze mu maaso n’okukuba enkung’aana z’ettaka wadde nga Pulezidenti Museveni yabawabudde baziyimirizeeko okutuusa ng’amaze okusisinkana Kabaka bamulungule ebyettaka.
Ku Lwokuna akakiiko ka Buganda akasomesa ku ttaka nga kakulirwa Betty Nambooze kaakubye olukung’aana e Katabi-Ntebe. Ne bategeeza nti bataganjudde amateeka nga Museveni talina buyinza kuyimiriza nkung’aana kubanga tezoogera ku ttaka lyokka wabula n’ebintu ebirala ebinyiga Buganda.
Mu lukung’aana luno baasonze 396,000/- okutandika ensawo y’okulwanirira ettaka.
Nambooze yagambye nti ensawo bagyagalamu obuwumbi buna ezijja okusondebwa buli ali mu Buganda ng’awaayo 500/-. Kyokka za kyeyagalire.
Eggulo (Lwakutaano) baakubye olukung’aana olulala e Ntenjeru mu Bugerere.
Bino biddiridde pulezidenti okuwandiikira Kabaka n’amutegeeza ayimirize Nambooze ne banne okukuba enkung’aana okutuusa nga basisinkanye. Museveni ne Kabaka bategese akafubo nga January 11.
Kino Museveni yakikola kutangira kye yayita bannabyabufuzi abalwanyisa muvumenti okwekweka mu by’ettaka ne basiga obukyayi mu bantu nga bababuulira ebikyamu.
Kyokka omwogezi wa Mmengo, Medard Ssegona yategeezezza nti baataganjudde amateeka ne batalabamu pulezidenti w’asinziira kuyimiriza misomo gyabwe.
Aboogezi okuli Erias Lukwago, Nambooze, Ken Lukyamuzi bonna baavumiridde etteeka ly’ettaka nga balumiriza nti ligenderera kutwala ttaka lya Buganda.
Nambooze yagambye nti bye boogera babirinako obukakafu n’olwekyo Museveni mukyamu okugamba nti basasaanya bulimba.
Sseggona yasaanudde abantu bwe yabalaze gye yayise maapu eraga ebitundu bya Uganda eyaakafuluma. Yeemulugunyizza nti wadde ebitundu nga Busoga, Ankole ne Bunyoro biragiddwa ku maapu eyo kyokka Buganda yasanguddwako n’eyitibwa ‘Central Region’. Teyayogedde ani yafulumizza maapu eno.
Kyokka ow’ebyamawulire wa pulezidenti, Tamale Mirundi yagambye nti ebyayogeddwa Ssegona bikyamu kubanga NRM yayingiza Buganda mu konsitityusoni era disitulikiti zonna ezikola Buganda ne zitwalibwa okuba nga zeegasse.
“Okuggyawo Buganda kyetaagisa kukyusa konsitityusoni. Okuggyako nga konsitityusoni ekyusiddwa abo bonna aboogera nti Buganda yaggyiddwa ku maapu beenoonyeza byabwe”, bwe yatangaazizza.
Published on: Friday, 28th December, 2007
