|
Waliwo abantu balowooza nti history ya Buganda temanyiddwa, baagala kati okuyiiya byonna babiteekewo bibagase mu ngeri emu oba endala. Naye bakola nsobi, history ya Bugnda emanyiddwa okuddira ddala emabega ebyaasa bingi. Ebyo Ebya ba Luo tebiberangayo. Ate kubanga wankaaki naba Luo bakirina nga ekigambo tekirina kyekiteegeeza. Nomugenyi omu ayinza okuleeta ekigambo ekipya mu lulimi gyakyadde. Kakaati katugambe amawanga agasinga maama gamuyita maama, ate waliwo nabayita taata taata, olwo ekyo kitegeezaki nti nabo bafuganga Buganda? Nze ndowooza history bamulekere abamusoma, abaategeezebwa ebintu okuva mu bakulu (tribal groits), nemubalina interest ebbanga eddene nga bakola nga ba researchers mu byafaayo. Ate ekintu kyomuntu okuwanuka eri nawandiika history weggwanga eritali rirye kyadiiba dda dda dda!! Abantu bafube bakwate emikutu emituufu egyebiseera byebalimu baleme kusigala mabega. Kati buli nsi yewandikiira history waayo. Ggwe ate oba namawulire agaliwo KATI, (breaking news) banyini nsi bebagawa, ggwe onotegeera ebyaaliwo emyaka olukumi emabega, gyokyadde ennaku bbiri nga te nolulimi olugwa oba nga tolumanyidde naddala? Ebyo tebikyalina abbikkiriza. Ate oba nebyabazalirwana nabyo biteesebwako! Ekyo kiraga bbula lya nsonga zirimu makulu. Aba Africa balina okufuba ku nsonga yokulowooza tuleme kuswaala nnyo nga tusigala emabega ennyo kiyitiridde! Enough already!!!
|