CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Re:Do you love your country Uganda?
#2498
Jona (User)
Junior Forum Member
Posts: 91
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Do you love your country Uganda? 1 Year, 2 Months ago  
Okuva Uganda lweyatondebwaawo tewabangawo mufuzi yenna akola mulimu buli omu mu Uganda neyeyagala. Lwaki? Kizibu nnyo (kumpi tekisoboka) okufuga amawanga amangi nga amawanga ago ogafudde eggwanga limu. Abamu basanyuka, abalala banyigibwa.



Labira ku eyali Russia eyedda. Bweetyo bweyagezaako okukola, naye oluvanyuma byalema. Amawanga agaali mu Russia mangi gekutulako.



Amawanga agali mu Uganda fenna tugamanyi. N'amawanga agali mu Europe oba States mu USA nazo tuzimanyi. Amawanga agali mu Scandinavia gamanyiddwa. Entegeka eyekika ekyo erimu emigaso, naye tekitegeeza nti Scandinavia ggwanga limu.



Mu Uganda waliwo akutte akaggo. Eggwanga Buganda bwerigamba nti lyagala lyekolere ku byaalyo (nga bwekiri mu USA, Europe, Scandinavia) nga baligamba nti "ssirika mangu, ssikkuba. Ekyo tokiddamu. Oyagala kubeera musosoze?". Ne mu Russia waaliyo eyali akutte akaggo, kyokka ebyo bbyo byalema. Mu USA, Europe, oba Scandinavia, teri akutte kaggo. Ezo zensi zetwegomba, era eyo otusangayo bangi abava mu Uganda.



Ekibuuzo kiri nti "Oyagala ensi yo Uganda?". Nange wano wendi abeeru bawano ekibuuzo ekyo bakimbuuza ntakera. Era bongerako nti "Oba oyagala ensi yo, kati wano wanona ki?" Nebongerako "Onoddayo ddi ewammwe?".



Oyinza okubuuza omuzungu nti "Do you love your country Europe"? Asobola okubuuza tourist nti "Do you love Europe or Scandinavia?" Oli bwakugamba nti "I come from the United States of America". Ekibuuzo kyomuddiza kiba nti "In which State do you come from?"



Ekituufu kiri nti njagala nnyoooo ensi yange BUGANDA. Buganda y'emu kunsi Katonda zeyatonda. Katonda teyatonda Uganda.



Yadde naabo abagamba mbu ensi yatondebwa ne "BigBang", BigBang teyatondawo Uganda. Wabula yatonda Buganda etc.



Ani gwetusanidde okuwa ekitiibwa Katonda oba abeeru abakola Uganda (oba BigBang)?
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here arrow Forum
Advertisement
Advertisement