|
TOP RADIO; Ku luno tewali alitoloka Mengo
Yeewuunya enjiri esiga obukyayi eteva ku leediyo
Buno obukyaayi tebulina ngeri gyebugenda kuggwaawo. Okujjako nga buli omu atudde wuwe, mu ngeri emu oba endala. Tewali kwegatta kusoboka lwa kabi. Bino ebintu tebirina ssuubi lyonna yadde. Abaganda muve mu kwebuzabuza. Abaganda mwenyweze. Ekijja omanyi kinyaga bitono, ekiddukano tekimala byenda mulubuto. Aa.
Mzee Zedde
Ebigambo ebimokkolwa ku leediyo ezitali zimu bwe binaalekebwa okugenda mu maaso, bijja kutabangula eggwanga.
Omuntu omu yawuliddwa ku Top Radio nga yeewerera ab’e Mmengo ng’agamba nti newankubadde ku mulundi guli waliwo abaasobola okutoloka mu Lubiri lw’e Mmengo nga luzindiddwa ku luno tewali alisobola kutoloka.
Ebyo ebigambo bya mutawaana, ebiteekwa okuvumirirwa ne ssekuvumirira yenna kubanga bitabangula emmeeme z’abantu era ne bibateeka ku bunkenke obw’ekitalo. Ab’e Mmengo tebalina musango gwannaggomola gwe bazzizza ogubatuusa ku kwewererwa nga okwo. Era tewali kivve kye baakoze ekiyinza okubateekesa ku bunkenke.
Emirundi mingi Gavumenti evumiridde nnyo ebigambo ebivuma abakulembeze, naddala ebivuma omukulembeze w’eggwanga. Kati ate kye kiseera n’ebigambo ebisiikuula emmeeme z’abantu era ebiyinza n’okuleetawo obutabanguko nabyo bivumirirwe.
Kirabika waliwo abantu abawendule aboogerera ku leediyo ebigambo ebigenderera okwonoona emirembe, n’olwekyo abantu aboogera ebyo tebasaanye kulekebwa kuyinaayina. Baandikwatiddwa mangu nga baakoogera ffakalimba oyo ne basimbibwa mu mbuga z’amateeka okubitebya.
Ekyewuunyisa waliwo aboogera ku byaliwo mu 1966 nga babyogerako ng’ebyali eby’olusaago. Byali bintu bya kabi nnyo ebibonyaabonyezza eggwanga lino n’okutuusa kati era tewali muntu omutebenkevu mu bwongo ate eyandyogedde ku byaliwo mu 1966 nga yeegwanyiza biddemu nate okubeerawo.
Newankubadde mu Lubiri lw’e Mmengo eriyo abasobola okutoloka kyokka ekyo tekyalifuuliddwa kya luyeeyo kubanga ebyaddirira byali bibi nnyo eri n’abo abataali b’e Mmengo. N’olwekyo ebyo birina okuvumirirwa n’okukolerera emirembe bireme kubaawo nate mu ggwanga lino.
Leka folofotto ow’engeri eyo aggyibwe mangu ku leediyo zaffe era leka aggyibwe ne mu bwongo bw’abantu, kubanga n’abo bennyini abafolofotta singa folofotto waabwe atabangula eggwanga nabo basobola okukaaba twawa ng’entulege.
Wo ayi Mzee Zedde ng’alabye ennaku! Teebereza okumala okuyiwa omusaayi omungi gutyo n’okwonoonekebwa ebintu byaffe ebingi bityo mu kulwana entalo ezibaddewo, kyokka era ne waba nga wakyaliwo abawera enkolokooto ez’okutuleetera nate entalo ez’okuyiwa omusaayi!
Nedda nedda bagundi mulimbye nnyo! Eky’okwewerera ab’e Mmengo okubakola obubi tekirina kalungi konna ke kijja kuleetera ggwanga lino. Era bwe munadda mu folofotto ow’okukola akabi ku bantu bannammwe mukimanye nti fenna eyatwalula eneeba etuuse okusiriira n’ekinaava mu ekyo zinaaba zitusanze azasanga lumonde mu ttaka. Sikulimba!
Bukedde
Published on: Friday, 15th August, 2008
|