Banange nsaba kunyamba oba waliwo amanyi Obuko kyekitegeza mubunyonyofu.
Era oba mukoomwana azila nyazalawe?
Can you sleep on your Mothers bed if you are married or vise-verser. please reply if you really know what you are talkin about coz I am going to quote you to teach other people. Mwebale nyo
omwana yenna bwafumbirwa oba bw'awasa takirizibwa kuddamu kusula ku buliri bwa bazadde be.Ate bwabeera omuwala nga afumbiddwa ye baamugambanga nti eno(ewaabwe)gyavudde tekyali kitanda kye era bamuwerekezanga n'obuliri bwe ne babutwala gy'afumbiddwa okukaatiriza ensonga eno.Nti era akkirizibwa kukyala yo nga ennaku satu zokka.kino kyagendereranga kulemesa bawala bano kubaamu nakirowoozo kya kunoba.
Era baamugambanga nti eri gyalaze(gyafumbiddwa)wewafuuse ewabwe,nti maama w'omwami we yafuuse owuwe naye n'olwekyo awo muk'omwana tazila nyazaala we mungeri nti naye aba nga maama we.Asobola okumujjanjaba mungeri yonna nga omwana we bweyandikoze,n'ebirala ebigenderako.
Kansuubire nti ebyo binakuyamba.Abamanyi okusingako awo b'ongerezeeko.