QUOTE:
Alogya omukwano tayogera bingi bwebiyitirira bifuuka bulimba
- Freda Ssonko.
Ono Omukyala Freda Ssonko yayimba mu gye nkaaga naye oluyimba mu nyimba ze olwasinga okwebuga oba okwata abantu omubabiro ebiseera ebyo baluyita 'Olupapula Si Mupiira' oba abangi lwe bakazaako 'Wambuuza.' Naye bwe luba lutandika agamba nti....
*Olupapula si mupiira mwatu nti lunanuka nandilwongedeyo..... alogya omukwano tayogera bingi bwebiyitirira bifuuka bulimba*
Nze nsubira nti gyebujja mu myaaka egyomaaso, lunno luyinza n'okufuuka olumu ku ngero zaffe mu Buganda. Anti nga bagamba nti ..... 'Alogya omukwano' .... ng'omulala amalayo nti ..... 'Tayogera bingi'..... bwe bamubuuza amakulu nga adamu nti 'bwe biyitirira, bifuuka bulimba'