CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Re:kKINO OBADDE OKIMANYI? KIGEZEKO ONATUGAMBA!!!! (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Re:kKINO OBADDE OKIMANYI? KIGEZEKO ONATUGAMBA!!!!
#9238
robster (User)
Expert Forum Member
Posts: 393
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
kKINO OBADDE OKIMANYI? KIGEZEKO ONATUGAMBA!!!! 6 Months, 3 Weeks ago  
Sibunyogootola



Ssenga Nabunnya.



Nze obusajja mbukwata nga giraasi



ABAKYALA bangi bwe balowooza ku bitundu by’abaagalwa baabwe bye bakwaako obubateeka mu ‘muudu’ ekisooka okubajjira bwe busajja.



Ebyembi ate abamu babukwata bubi okukkakkana ng’omusajja alemeddwa okukuba ‘saluti’.



Ssenga Hawa Nabunnya akolera ku luguudo lwa Kafumbe Mukasa, agamba nti obusajja bukwatibwa nga giraasi era akulaga engeri omukazi gy’alina okukwatamu obusajja n’amwagazisa okwegatta.



“ Nga tonnatandika kubuweeweeta, osaanye osooke omanye oba amaanyi g’ekisajja agaweza oba alina ga lusuluuju. Bw’aba munafu tandikira wansi ddala oba ku kikolo, nga bw’odda waggulu.



Engalo z’oteekeddwa okukozesa z’ezo essatu okuli kyalakisajja n’ebbiri ezikiddirira. Zeetoolooze obusajja wabula tobunyweza nnyo. Engalo zino ziteekwa okuba nga ziweweera bulungi kubanga bwe zibeeramu enkyakya ziyinza okusala munno ebibadde eby’obulungi ate n’aggyamu busungu.



Tandika mpola okubuweeweeta nga bw’odda waggulu. Mu kiseera kino bwe buba tebunnasituka buteekwa buteekwa okukikola ate bwe buba bwasituse dda, bujja kweyongera okuwaga.



Bw’otuuka wano engalo zitambuze ng’odda wakatikkati, otandike okunyigaanyigawo mpolampola.



Okunyigaanyiga kuno ate tekitegeeza kubunyogootola ng’abamu bwe bakola, wabula okikola mpola nga bw’owuliriza n’okusiisiriza emisuwa egibwetimbye bwe gikuba nga gitambuza omusaayi.

Abasajja abasinga bw’atuuka ku ssa lino abeera ayagala kimu kuyingira nnabunnya yeemale eggoga.



Eno ebeera nsobi nnene kubanga omusajja oluba okuyingira ng’amalamu akagoba.



Mugambe alindeko, era wano ddira olugalo oluddirira kyalakisajja otandike okuluyisa mpolampola ku mutwe gw’obusajja.



Wano obuswandi bujja kweyongera era abamu wano we bamaliramu akagoba akasooka.



Wabula bw’aba alemeddwa okutuuka ku ntikko, osobola okuyisaawo olulimi mpolampola, tayinza kusigala kye kimu.



Bwe mutuuka ku ddaala lino, ate omukazi oteekwa okuddamu buto munno asobole okucamuka.



Ebiseera ebisinga omusajja bw’amalira ebweru wa nnabunnya, taggweeramu ddala maanyi era bw’otandika luutu ey’okubiri kubeera kunazaako bunaza ng’ebintu bigenda mu maaso.



Ensobi abakazi abamu gye bakola bwe batuuka okukwata ku bannaabwe n’okubaweeweeta ate badda mu kubapima sayizi n’okubasikambula, ebibamaliramu ddala amaanyi.



N’ekirala, munno olina okumuzzaamu amaanyi ng’omuweeweeta. Mutende nga bwe yabala ojja kulaba bw’aboyaana.



Published on: Monday, 12th May, 2008



Email this article to a friend.













© Copyright The New Vision, 2000-2008. All rights reserved.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9727
JeenaJulia (User)
Diamond Forum Member
Posts: 943
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:kKINO OBADDE OKIMANYI? KIGEZEKO ONATUGAMBA!!!! 4 Months, 3 Weeks ago  
Obukomo: Omukazi bwekwate oleme kusula na luyontayonta



Obukomo ku mukono.



MU kisaawe ky’omukwano, abakazi balina ebintu bingi bye bakozesa. Ng’oggyyeko okwewunda mu bitundu byabwe ebyekyama nga bongera ku buwanvu bw’abazalibwa ababiri, balina kalonda mungi gwe bakozesa okusobola okunyumisa omukwano n’okwagazisa bannaabwe ekigwo ky’abakulu.



Ekibi nti abamu bwe boogera ku kwewunda balowooza ku kya kwambala butiiti bwokka. Kituufu obutiiti bukola kinene mu kitanda naddala ng’osanze omukazi amanyi okubuzannyisa obulungi. Wabula kati abakazi abamanyi ebintu wano bavuddewo, oba bongeddeko eddaala mu by’okwewunda.



Obukomo ky’ekimu ku bintu abakazi abamanyi omukwano bye beeyambisa okusumulula obwagazi era n’okusaba omukwano.



Eno y’ensonga lwaki bukyase nnyo ensangi zino era kizibu okuyita ku bakazi abataano nga tekuli ayambadde bukomo.



Babukozesa mu ngeri nnyingi nga bali mu buliri era omusajja ne bw’aba yeetenda okukoowu, tayinza butavaamu mwasi.



Obukomo obusinga okukola omulimu guno bwe bwo obukolebwa mu kyuma. Bubeera butonotono ate okukola obulungi omulimu bwambalwa mu kisaaganda. Engeri gye buba bunnyogoga, omukazi buli lw’abuyisa ku munne tayinza butazuukuka n’amumalira ekizibu kye.



Ng’oggyeeko enkola eyo, obukomo bwe buba nga bungi ku mukono, omukazi buli lwe yeekyusa bukola oluyoogaano omusajja n’amanya nti munne alabika tali bulungi, alina by’abanja.



Enkozesa y’obukomo mu kitanda erudde naddala wano mu Buganda. Ssenga Nalongo Nalule akolera mu katale k’e Katwe obukomo abwogerako bw’ati;



Buli mukazi omufumbo yandibadde ayambala obukomo. Okusooka bulaga omukazi omujjuvu mu nnyambala era babukozesa mu kwewunda.



Omukazi eyatendekebwa mu nsonga z’omukwano n’akuguka omulabira ku bukomo, era atabwambala abamanyi ensonga zino bamuyisaamu amaaso. Babwambala ku mukono ogwa kkono ogutakakaalukana nnyo nga ne bwe giba mirimu gya bafumbo tebukola nnyo luyoogaano kutabula mikolo, oba abali okumpi okubawulira.



Obukomo obwo kya kulwanyisa kinene abakazi kye baakozesanga okutegeeza abaami baabwe nti balina awabasiiwa we baagala batakule mu kiseera ekyo.



Edda obukomo obwayambalwanga bwabanga butono ddala era nga ku mukono omukazi abeerako na bungi ddala, so si kamu.



Mu kubukozesa, omukazi nga bw’awulira ng’omubiri gubanja ate nga munne ali mu kwebaza yazimba ng’olwo atandika okwekyusa ng’emikono bw’agimukubako oba okugikuba okumpi ne w’awulirira. Omusajja bwe yalabanga munne teyeebase bulungi ng’amukolera ku nsonga ze.



Ng’oggyeeko kino era obukomo buno engeri gye buba bunnyogoba, omukazi nga bw’abuyisa ku munne wakati mu ttumbi, obunnyogovu obwo bulina engeri gye bumukangamu okukkakkana nga ssemusajja yagaludde dda!





Published on: Monday, 7th July, 2008
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
  The administrator has disabled public write access.
#10362
JeenaJulia (User)
Diamond Forum Member
Posts: 943
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:kKINO OBADDE OKIMANYI? KIGEZEKO ONATUGAMBA!!!! 3 Months, 1 Week ago  
Ensonga 12 lwaki weetaaga ekigwo ky’abakulu

ABANTU abasinga bwe boogera ku ky’okukuuma omubiri nga mulamu bulungi, kye basooka okulowoozaako kwe kugenda mu jjiimu okwokya amasavu oba okukola dduyiro.

Kye batamanyi nti emirimu gy’omu kitanda naddala ng’oginyiikiridde bulungi gukukuuma ng’oli ffiiti n’otojulirira.

Mu butuufu omuntu anyumizza akaboozi n’akakkuta bulungi afuna kinene okusinga adduse emisinde oba agenze mu jjiimu.

Okunoonyereza okukoleddwa bannassaayansi ab’enjawulo kukakasizza nti singa omuntu anyumya akaboozi ne munne gw’ayagalira ddala okuva ku ntobo y’omutima gwe kirina engeri gye kimukuuma nga mulamu bulungi mu mubiri ne mu birowoozo.

Akaboozi kayamba omuntu okusala amasavu kubanga buli lw’okanyumya n’otuuyana kiraga nti n’amasavu gakendedde.

Bw’obaako w’olumizibwa mu kifo ky’okumira panado, weekwate kaboozi kubanga kalina engeri gye kagololamu ebinywa obulumi ne buggwaawo.

Kakkakkanya ebirowoozo era omuntu bw’aba alina ekimweraliikiriza n’akanyumya ebirowoozo bidda mu nteeko.

Kakukuuma omubiri obutalumbibwa ndwadde nga sennyiga n’ebifuba kubanga omubiri buli lwe gucamuka gwongera gufuna ekirungo ekirwanyisa endwadde.

Kakendeeza ku mikisa gy’omuntu okufuna endwadde z’omutima, kubanga omuntu bwe yeegatta omubiri gwonna gukkakkana n’akomya okweraliikirira ekiyinza okumulwaza omutima n’entunnunsi.

Kayamba omuntu okukomya okwetya n’ayiga n’okulaga omukwano. Bino biyamba omuntu okubeera nga yeeyagala mu mubiri ne mu mwoyo.

Akaboozi kaleeta otulo, ekiyamba okukendeeza omukisa gw’omuntu okufuna endwadde ezikwatagana n’omutwe.

Akanyumizza obulungi kamuyamba obutakaddiwa. Bw’aba mukyala, akaboozi kamuyamba okulongoosa enviiri ne zifaanana bulungi, ssaako n’okuzikuza, amaaso geeruka era yenna n’adda buto.

Kamalawo ekiyongobero kyonna omuntu n’abeera mu ‘muudu’ buli kiseera.

Kayamba omuntu okuwangaala naddala mu basajja. Omusajja amalamu akagoba emirundi ebiri mu wiiki baba n’omukisa munene okuwangaala.

Kakendeeza emikisa gy’omukazi okufuna kkansa w’amabeere, ate mu basajja kakendeeza emikisa gy’okufuna kkansa w’obusajja.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here arrow Forum
Advertisement
Advertisement