Mswati yeerobozza gw’anaawasa
Embeerera nga ziyita mu maaso ga Mswati.
EBIKUMI ne bikumi by’abawala embeerera byeyiye mu maaso ga Kabaka Mswati owa Swaziland ng’ogumu ku mikolo gy’obuwangwa gw’akola buli mwaka.
Ku mukolo guno, Mswati kw’alondera omuwala embeerera gw’agatta ku bakazi be abatongole era oluvannyuma lw’okwetegereza ebijuujulu bino, ajja kulondamu omukyala owe 14.
Abawala bano bakolebwako emikolo gy’obuwangwa ne beesiba obukete okusobozesa Kabaka okwetegereza obulungi. Olwo ne bayita mu maaso ga Kabaka nga bakooloobya ennyimba n’okutyabula amazina, enduulu ne zitta abalabi.
Atali mbeerera takkirizibwa kwetaba ku mukolo guno kubanga bw’akikola kiwanuuzibwa nti afa. Omu ku bawala bano, Tenene Dlamini yagambye nti afuuyirira kanwe eriiso lya Kabaka limulabe amuwase.
Abalina enku bebalya ebiyidde naye ne kabaka ono ayisewo...kikaaaaaaaaaaaaaaaaa
