Your favorite kiganda food (1 viewing) (1) Guest
Favoured: 0
TOPIC: Your favorite kiganda food
Re:Your favorite kiganda food 1 Year, 2 Months ago
Omumbejja nga Meli aduse mangu naye nga gwe ssebo omumbejja bwotakirizibwa kola muli gwonna okujako okulya nze kankufumbire nfumbye akaalo nga nfumbideko enva byenda byambuzi ngabya boyilo kati ekyokunywa nankuletera super diki
The administrator has disabled public write access.
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
Re:Your favorite kiganda food 1 Year, 2 Months ago
Luutu mbu Meli yebunguluddeko awo, naye owange olowooza nno akasusu kange kasobola akalo nebyenda byembuzi? bilina olusu lwembuzi ennume awo sijja kwatako, yye bannange nze bwennali nkyaali mukiyungu nagezaako kubategekela bili sexy lwaaki bwenalita buli aliyingila ayagala otukyankalanya mubaddeki? tutuuse okubaziririra byemufumba teli akyayagala kutwaala ku order .Wabula kati webituuse buli ayingila effumbilo ffe tujja muwa byetwagala atutegekere, kati nze mwattu singa onkolelayo kubunyama obusiike bwa nte ssagala kulya bisolo bye ssimanyi osalileko cucumber ne carrots ngozisaze buwanvuyilivu sagala bugazi onteleko greek cheese ne lumonde omusiike ommpereko omunanansi omuto nga gukya womerera omanyi nze ssinywa bikaawa.
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
The administrator has disabled public write access.
Meli (User)
Gold Forum Member
Posts: 1408
Re:Your favorite kiganda food 1 Year, 2 Months ago
Ani asabye gonja? Kuba mbadde ninawo owa manjaya. Minwe minene ddala, ekyembi tegilibwako bakazi nabaana bawala. Mbu kuba ku nkota eminwe gyesuula amatalaga, tegituula wamu ku kiwagu nga matooke. Kale waliwo okutya nti omukyala bwalya manjaya ono ajja kugenda nga ayanjaya yanjaya atyo nga tatudde wamu. Awo naye tulinga abagamba nti tuleke abasajja bebaba banjaya?
Aaaha nessaze, manjaya sijja kumufumba. Luutu26, lagiriza emmeere endala, oba mpozzi onolya ku kivuuvu, kiri ekimyuka nga kyengedde. Ekyo Luutu26 kyenja okuvumbikira, otuule ne munno akuyita Mivule, okusinga okugenda gyebali kutumira Mituba nanti ki Ppaapali.
Ayiisa Kuba Mwagale
The administrator has disabled public write access.
Meli (User)
Gold Forum Member
Posts: 1408
Re:Your favorite kiganda food 1 Year, 2 Months ago
Atalya katunkuma, magera tujja mukugattiramu entula enganda. Totumiriza nnyo mufumbi ono ssebo Omumbejja, takuteera mu magera entengotengo. Ne supa diki namuwandamu amalusu.
Luutu26, supa diki yani? Mmeere nganda eyo? Mwattu towemulira mu ffumbiro!!
Nga bwoleese ebyenda byembuzi tuyinza nokukola kafeche. Mu lubuto lwe mbuzi netuteekamu omusaayi, ebyenda nga tubiruse, ensigo, ekibumba, amawuggwe, nakazigo aKaganda. Tubifumbe ku mmeere. Tugabulireko lumonde owa kyebandula aboobedde. Tulyeko neleero, nga bwetulinda ebye nkya. Kubanga omusango gwa lubeerera!!
Ayiisa Kuba Mwagale
The administrator has disabled public write access.
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
Re:Your favorite kiganda food 1 Year, 2 Months ago
nze kakati njakusaba kyaayi yekka kuba ebigenda muffumbilo ssijja kubisobola entengo tengo yamukolo oyo abaayagala okugikuliisa abaayagala wekoleko from inside out kyokka eyayiiya enteengo teengo alabika yali mukazi mujja nga giyiyiza baana bamujjawe owange Luutu agiyise atya supa diki oba super diiki ? Luutu bwoobanga osabanga emmere giwe elinnya abantu bonna lyebamanyi . Amma Meli nze ekyeggulo njagala nkoggo ngeli mukasaka onotelako notuzzi twomunsuwa naottuzzi tumpeere mulwendo
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
The administrator has disabled public write access.
Meli (User)
Gold Forum Member
Posts: 1408
Re:Your favorite kiganda food 1 Year, 2 Months ago
Nja kuleeta enkoggo yonna gyoyagala ssebo, singa ontontegeza enkoggo yye kki? Oba ogamba bbunwe?
Ayiisa Kuba Mwagale
The administrator has disabled public write access.
Sorry, but Javascript is not enabled in your browser!