Twagendako mu restaurant emu mu Swaziland yali ya mu Falansa nga mubimpimpi nga ye king of jungle mukutegeka buli kisolo kyolowooza, bwetwabuuza speciality yo lunaku olwo koye nti "alina ggoonya enkima ne nfudu kati okwo kwogatta nebya bulijjo nge mbaata oba enkoko" konze sibila ku nkoko bannange bo nebamanyuula ligoonya nga kwebatadde nokweswanta bangamba nti awooma nga bwolaba ekyenyanja konze awo siliiwo , naye kummeza eyali etuddilidde kwaliko abavubuka aba Bbuwa ab Africana kobbo nti tuweere ddala eyo enkima nakagere kakaze tukambale mu bulago . Awo nga omuganda asigadde ggamba nti atanayita yita yatenda nyina okufumba.