Omuganda alina ettaka asaanira aweebwe obuyinza obujjuvu - Ssekabaka Daudi Chwa
Eno y’ebbaluwa Ssekabaka Daudi Chwa gye yawandiika mu 1930 ennyonnyola ensibuko y’obutakkaanya ku ttaka:
Mu kitundu 15 eky’Endagaano ya Buganda eya 1900 kyakkiriziganyibwako wakati wa gavumenti ya Kkwiini ne Kabaka wa Buganda nti, mayiro 8,000 zisaana zigabirwe abaami n’abantu aba bulijjo ng’omuwendo gwabwe bawera 1,000. Mayiro zino 8,000 zaali za njawulo ku ttaka ddala ettongole eryaweebwa abo abaali mu bwami mu kiseera ekyo.
Mu 1908 Ssaabasajja Kabaka, Olukiiko ne Gavana, bakkaanya ne wassibwawo etteeka ku ttaka erinnyonnyola amakubo agatali gamu aganaakwatibwanga ku nsonga ezikwata ku ttaka ery’obuzaaliranwa, ery’obwannannyini n’erya Buganda.
Mu kitundu 15 eky’endagaano ya 1900, kitegeerekeka mangu nti embeera Abaganda gye bafunamu ettaka lya mayiro 8,000 y’eyo ey’obwannannyini entuufu era bw’esaanidde okuba nga bwe kiri mu nsi ezitali zimu mu nkola eya ‘Freehold’.
Bwe kityo tosobola kugamba nga waakayitawo emyaka 30 kasookedde ettaka lino ligabanyizibwa mu bannyiniryo abo nti, “ettaka eryo baalifuna kubeera ng’abayima (abakuumi) olw’abazaaliranwa Abaganda era nti ekyo kyonna kye bakola ku ttaka eryo mulimu gwa gavumenti ya Buganda okulirabirira n’okusingira ddala Kabaka yennyini.” Kya mazima nti okusinziira ku biragiro ebiri mu tteeka ly’ettaka ebya 1908, Gavumenti ya Buganda yatwala omugugu ogw’okulaba nti byonna ebikolebwa ku ttaka bisaana bibeere bigolokofu era nga bikolebwa mu ngeri esaanira ey’amateeka.
Mu 1927, Ssaabasajja Kabaka, Olukiiko lwe ne Gavana bassaawo etteeka erinnyonnyola embeera n’obuyinza bwa nnannyini mayiro n’okulongoosa ensolooza ya Busuulu n’Envujjo okuva ku bali ku ttaka lye. Mu tteeka lino, obuyinza bukugirwa era bannannyini mayiro tebakkirizibwa kukozesa buyiza bwabwe bwe buba nga bukooganana n’embeera y’abantu abali ku ttaka lyabwe. Ekyokulabirako, tewali nnannyini ttaka ayinza kugoba wa kibanja ku ttaka lye wadde abadde tasasula busuulu wabula Eggombolola y’eyinza okuwa ekiragiro ng’esinziira ku nsonga ezirambikiddwa obulungi era ng’oweekibanja amaze okuwozesebwa mu lujjudde era ng’avunaanibwa ekisobyo ekinene ddala.
Busuulu n’envujjo byamala okuteekebwako kkomo eritassuka eryo eryateekebwa mu tteeka lya ‘Busuulu n’Envujjo’ ate nga ku luuyi olulala ensolooza ya Busuulu n’Envujjo yo erekebwa mu mikono gya nnannyini ttaka awatali kuyambibwa baami b’amagombolola.
Awo omukopi akuumibwa mu ngeri yonna mu tteeka lino ate naye nnannyini mayiro tafuna kukuumibwa kwonna okw’engeri eno. Ye ateekwa okukozesa amagezi ge okwesolooleza Busuulu n’Envujjo era tewali kuwaliriza kwonna okuteekebwa ku weekibanja okusasula Busuulu oba Envujjo. Kisaana kitegeerebwe nti waliwo ekitundu ekisoloozebwa okuva ku Busuulu obwamala okugerekebwa oweekibanja bw’asasula mukama we era ekitundu kino kiweebwayo mu gavumenti ya Buganda olw’okuyamba Buganda so si lwa kuyamba nnannyini mayiro okumusolooleza obusuulu bwe.
Mu ngeri eno, kirabika ddala nti bannannyini mayiro abalina ettaka eringi tebalina kugasibwa kwonna kwe bafuna okuva mu ttaka lyabwe lyene bwe libaako abantu bangi kubanga tebayinza kukozesa maanyi gonna mu kwesolooleza busuulu bwabwe wabula balina kwesiga buntubulamu bw’abasenze baabwe okusasula busuulu n’envujjo. Kimanyiddwa mu nsi yonna nti singa omusenze agaana okusasula empooza, nnannyini ttaka alina obuyinza okugoba omusenze oyo.
Naye mu Buganda, kino si bwe kiri kubanga mu tteeka lya Busuulu n’Envujjo, singa nnannyini ttaka akola ekintu kino, assibwako omusango era singa gumusinga awa n’omutango ogutasukka 100/- n’okusibibwa oba okukolako ekimu ate nga ku mukopi tewali tteeka limukangavvula nga tasasudde busuulu.
Mu biseera ebyasooka ng’ettaka lyakamala okugabanyizibwa mu bannannyiniryo, lyayinzanga okutundibwa eri abagwira singa Olukiiko ne Gavana bakiyisa. Wabula oluvannyuma kino kyetegerezebwa nga tekisaana abagwira okugula ettaka mu Buganda, bannannyini ttaka ne baziyizibwa okuddamu okuliguza abagwira kyokka ne kisalibwawo nti abagwira basobola okwazikibwa ettaka oba okuweebwa liizi era n’okutuusa kati (we yawandiikira) ebitundu bingi bimaze okwazikibwa oba okugabibwako liizi mu Bazungu, Abayindi n’abantu abalala abagwira nga basasula omuwendo omulagaaneko okuva ku myaka 49 okutuuka ku 99.
Okwazika kuno kumaze okulabikamu omugaso si eri nnannyini ttaka yekka naye n’eri abeebibanja bennyini abaliraanye ebifo ebyo ebyazikibwa kubanga bayinza okufuna emirimu era n’okubafunira omukisa gw’okulima ebirime byabwe. Ebitundu bino ebyazikibwa, byeyazikibwa lwa nsonga ya kulimirawo n’okussaawo ebyuma ebisunsula ppamba era kino kifudde ettaka eryazikiddwa ery’omuwendo omulungi. Enkola eno tewali kubuusaabuusa nti ya mugaso nnyo eri nnannyini mayiro n’oyo oweekibanja. Nga bwe kinnyonnyoddwa waggulu nti oweekibanja enkolagana ye n’owettaka ennyonnyolwa bulungi n’engeri yonna gy’ekugirwamu, ku nnannyini mayiro tewali bingi bimwogerwako. Eno y’ensonga lwaki gavumenti ya Buganda eyagala okwetikka omugugu gw’okukendeeza ku ddembe lya nnannyini mayiro okwazika ettaka.
Olw’ensonga eno, kyandisaanidde nnyini ttaka alekebwe okukozesa obuyinza bwe bw’alina nga bw’ayagala wabula ng’obuyinza obwo bukugirwa gavumenti zombi eya Buganda n’Enkuumi nga bwe kibadde kikolebwa mu biseera ebiyise. Olw’ensonga ezo era bw’olowooza ne ku mbeera eriwo, wakati w’Abaganda abalina ettaka, abasenze baabwe nga bwe kinnyonnyoddwa waggulu, ndaba nga mulimu gwange nga Kabaka wa Buganda era nga nze mukulu mu kukuuma obuyinza bw’abantu bange bonna (bannannyini ttaka n’abeebibanja) bakolagane mu ngeri ey’amazima bonna bafune kyenkanyi ku byonna ebiva mu ttaka mu Buganda.
Nkakasiza ddala bulungi nti okukkiriza okuteekawo embeera enkakafu ey’obuyinza obwenkanankana obw’abantu bange kyetaagira ddala etteeka lya ‘Busuulu n’Envujjo’ eririwo kati lirongoosebwe mu bimu ku bintu bitundu byalo ebisinga obukulu era nandi-gambye nti okulongoosa kuno kwandisaanidde kubeere mu ngeri nga eno.
a) Omuganda alina ettaka asaanira okuweebwa obuyinza bwe obujjuvu nga bwe kiri mu nsi endala zonna ezirina enkola y’ettaka eya ‘freehold’ era obuyinza obwo bwe buyinza okugoba omusenze olw’obutasasula busuulu mu kiseera we bulina okusasulirwa. Ng’amba nti ekitundu (3) eky’etteeka lya Busuulu n’Envujjo, kisaana kirongoosebwe kiryoke kibe nti omusenze bwanaalemwanga oba bwanaagaananga okusasula Busuulu n’Envujjo mu myezi mukaaga, okuva we yandisasulidde, kwe kugamba September 30 buli mwaka, nnannyini ttaka abenga n’obuyinza okumugoba mu kibanja mu kifo ky’okumuwawaabira ku Ggombolola omusango gw’ebbanja. Ensonga eyeetaagisa okulongoosa kino nkulu nnyo era kimaze okulabika wonna mu nsi muno nti abasenze beesuulirayo gwa naggamba eri ebigambo ebibakwatako ku nsonga eno. Bannannyini ttaka bawawaabidde abakopi bangi ku magombolola olw’obusuulu, kyokka amagombolola ne galaga nti tegalina maanyi kuwaliriza basenze kusasula.
b) Okugatta kw’ebyo ebiri mu katundu (a) akasoose waggulu, nnannyini ttaka bw’aba ng’ayagadde okuwawaabira omusenze we olw’obutasasula Busuulu, gusaana gufuulibwe musango eri omusenze oyo olw’okugaana oba okulemwa okusasula mukama we Busuulu we ateekebwako ekibonerezo ky’okusibwa mu kkomera olw’okumenya etteeka lya Kabaka erya ‘Busuulu n’Envujjo.’
c) Ekitundu ekirala ekisaana okulongoosebwamu kye kino nti kati omukopi yenna alina obuyinza okubeera ku ttaka lya nnannyini ttaka awatali kumala kufuna kukkirizibwa era yeewa obunene bw’ekibanja bwonna bw’ayagala kyokka bw’atuuka okusasula Obusuulu n’Envujjo alina omuwendo omugere kw’akoma. Kino kikolebwa mu butali butuufu kubanga omuwendo gwa Busuulu n’Envujjo gwagerekebwa dda mu tteeka, naye obunene obw’ettaka omukopi bw’ayinza okukozesa tebulina kigero. Ng’amba nti mu maaso eyo, omuntu yenna ng’ayagala okusenga alina okumala okugenda ewa nnannyini mayiro n’akkirizibwa ku ttaka lye n’annyonnyolwa obunene bw’alina okukozesa era bwe kiba nga kisoboka annyonnyolwe ensalo kw’alina okuyita. Nnannyini mayiro asaanira okuweebwa eddembe ly’okulonda omusigire oba omuntu omulala yenna okubeera omubaka we ku ttaka lye anaayinzanga okugaba ebbaluwa zino ezikkiriza omukopi okusenga.
d) Eky’obuyinza bwa nnannyini mayiro okutunda okwazika oba okuwaanyisa oba okugaba ku ttaka lye kisaana kyongerwe okutunuulirwa era obuyinza bwe obwo bukugirwe. Obuyinza bwa nnannyini ttaka eri abasenze be obuli mu tteeka lya Busuulu n’e Nvujjo, busikirwe nnannyini ttaka omuggya wadde Muganda oba mugwira.
e) Eky’okuwa engassi eri abasenze ng’ettaka libadde lyazikiddwa eri abagwira kisaana kibeere ddala eky’okutetenkenya wakati w’omugwira oyo nnannyini kweyazika ttaka eryo (oba nannyini ttaka omuggya) n’abasenze abali ku ttaka eryo. Weewaawo eno y’enkola eriwo ne kaakano naye kyetaaga okunywezebwa kw’amateeka. Okwazika kwonna okukolebwa wakati w’Abaganda n’abagwira gavumenti Enkuumi yeegendereze nnyo okulaba nti ekitundu ekyogera ku kuwa abasenze engassi kiyingizibwa mu ndagaano ey’okwazika. Bwe kityo kisaana nnannyini ttaka Omuganda, abeere n’obuyinza okwazika ettaka lye eri abagwira newankubadde nga ettaka eryo lirimu abantu aba nedda naye nga kitegeerwa nti obuvunaanyizibwa bwonna nnannyini ttaka bwe yalina ku basenze abali ku ttaka eryo butwalibwa omweyazisi.
Nga mmaliriza, njagala kitegeerwe nti mpaliriziddwa okuwandiika ebigambo bino olw’okuggyawo obutategeeragana obulabise. Bwe kityo kye kiva kisaanira ddala okuddamu okwekenneenya n’obwegendereza etteeka lya Busuulu n’e Nvujjo liryoke lyongerwe okulongoosebwamu olw’okukuuma obuyinza bwa nnannyini ttaka n’obwo obw’abasenze era n’okulabirira obuyinza obwaweebwa Kabaka ng’ayita mu gavumenti ye mu kifo kye ky’alimu ng’omukuumi w’abantu be era omulimu gwe ogusookera ddala mu kigambo kino kwe kulaba ng’abantu be bafuna amazima ku njuyi zonna.
Published on: Saturday, 12th January, 2008[img size=150][/img]
