ABALOWOOZA nti abakazi bafiira ku basajja balina waleti nsanyufu muli ku bikadde. Abakugu mu by’omukwano bazudde nti eddoboozi ly’omusajja likola kinene okusikiriza omukazi gw’akwana.
Ggwe alina akaloboozi akalinga ak’omwana omuto ne bw’oba ne ssente omukazi ayinza okukuddukako.
Abakazi balina endowooza nti omusajja gy’akoma okubeera n’eddoboozi eddene, n’amaanyi.
Ate olina okukimanya nti ng’ovudde ku mukwano omukazi gw’anoonya mu musajja, abakazi baagala omuntu asobola okubataasa mu buzibu.
Saava abo abakugu bo mbagobye! Wamu nebyebazudde!! Kubanga nze nnina wano ekintu ekituufu buli omu kyayinza okwegerezako. Abakazi, basikirizibwa nnyo abasajja abalina obwongo obulaga nti butambula. Abasajja abakola ebintu bya society, oba nebafuna okumanyibwa olwe mirimu gyaabwe emirungi, egigatta abantu, bafuna ekifo kineene mumitima gyabakyala. Kyova olaba nga ba Hollywood stars balina ba groupies from all over the world. Kuba balina advert system ebafuula indispensable eri society. Kale owe dobozi eddene ajja kufuna alyagala, nga nowebitege, bebagamba nti babeera stubborn and determined. Naye omusajja akozesa mind ye, yasobola okubeera gutsy in all circumstances. Gwosobola okudepening-a ko, not to protect you, but not to melt away on you in the face of danger. Someone who'll stand his ground and fight with you. Always remembering he's the commander, and it's okay for him to move in first. A mind man. That's him.
It's would be nice to see you guys come over here to defend our honour.The women were burying us alive, and not without reason. I myself grew up in a single parent family. Out here, you are really cut off from your father's side. Like you haven't got one. I only had a good look at my father in a coutroom, when my mother sued for child support.I will never let my children go through such!
Bandi for the first time i agree with you, it was the other way around,when ladeis had to stand by their men ,but now its like you go i will see, if i will be able to join, its like the pain we are going through at home numbed our men to the point of uuuh let me think about it, come on our strong mivule come out and let exchange some ideas, some may be wacky, but who knows we may find solution together, you know agali awamu ge galuma ennyama, temukoma kuba masimu gokka tubetaaga ne ku forum
Judith Babirye Niiwo: Samuel Niiwo ayogera bulungi era kino nakirabira we yankwanira. Enjogera ennungi nali ngibuliddwa mu muvubuka Omuganda.
Prime Nabbosa yafumbirwa Martin Angume Omukakwa: Angume amanyi omukwano era anneeguya.
Kuruthum Nansamba: Ekyanfumbiza Juma Okumu kuba musajja mukkakkamu ate anneeguya. Okuva lwe yantwala ewaabwe bampita mwana wa mumbejja kuba ndi Muganda kwe kugamba batuwa ekitiibwa kyaffe.
Patra Kazibwe alina Muz-ungu: Abavubuka abaddugavu si beesigwa ate tebamanyi mukwano.
Ensonga endala ezaaweereddwa mwe muli Abavubuka Abaganda okuba abatiitiizi nga batya obuvunaanyizibwa. Bo ab’amawanga amalala bwe boogera nabo bawulira nga bavumu nnyo mu bye boogera era balaga nti bajja kusobola okubalabirira.
Amawanga amalala baba beeguya abakazi Abaganda era babakwata n’obwegendereza newankubadde nga bakambwe nnyo kuba bagamba nti bw’awasa omukazi Omuganda kiba kitiibwa ewaabwe.