CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Abasajja Abaganda (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Abasajja Abaganda
#921
Meli (User)
Gold Forum Member
Posts: 1414
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Abasajja Abaganda 1 Year, 5 Months ago  
EEh, tugambye naye ate ekyo kiyitiridde, olwo bannaffe abo batuwa magezi ki ekibatutte okwogeera ne mu banna mawulire? Ffenna tugobereerere ekyokulabirako kyaabwe? Nabafumbirwa Abaganda banobe bagende banoonye abagabi? Yye abo babamanyidde ebbanga lyenkanawa balyoke batandike okubagerageranya nabaganda? Lwaki tewali ayogedde ku mukwano nga ekintu ekyamujjira special? Nemubaganda ndaba oyagalana era nofumbirwa omu. Okwo kudiba, kweyagaliza, nakudduka kabwa.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Ayiisa Kuba Mwagale
  The administrator has disabled public write access.
#922
saava (User)
Senior Forum Member
Posts: 300
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Abasajja Abaganda 1 Year, 5 Months ago  
Kansookele kumukyaala Namubilu nze ngamba nti abamawulire wandibagaambye nti emmeeme katale kyesiima kyegula, okusinga okwogerela awamu kubaami baffe abaganda, kyewelabidde obagamba nti nabeelu balina emize gyotosaanga mu bulombolombo bwaffe, era ago agayisa agabi abeelu gebabunyizza wonna agokutwaala abaanabaffe abobuwala nobasanga nga bababambye ku internate, kuba bo bagala okkola ssente, wano ayinza okutwaala nakulaga omukwaano naye owo watya ngakutusizza ewaabwe nakussaawo ozinile abantu be obukunya ngabwe wekuklukunya kumitayimbwa gyakuteredewo. Kati ngammwe abafulumyeeko mwe mwandikomyeewo nemulabula ku baana baffe nti si buli Mweeru gwolaba muntu mulamu , abaddugavu aba bakuliddemu balina obuzibu batwaala abaana baabwe mumasomero nebatandika obajja emize nga bwebalina ADD kuba tubalina biseera bituula nabaana baddugavu nga bwebakikola ku beeru.nabazalibwa mu interacial abaana always bakomawo mubadugavu kuba je baja. Bwooba wasimba omusili gwo ogwe bikajjo notema ekikajjo ekimu ngakilimu nnamujinga tekikwokesa musili gwonna. Waliwo abawalabu abatwaalanga abaana nebasiba amagulu kumbalaasi zaabwe nebakuba embalasi nedduka omwaana gyeyakomanga okuwoggana nembalaasi gyeyakomanga okudduka nti kuba amaloboozi gagiyamba okudduka ennyo. Nfundikila nga mbagamba nti oli aba asazeewo okufumbilwa munamawanga akikole kukwagala kwe aleme tuwanila, nakutujja mize kuba oyinza okwesanga nga gwe wampisa mbi. tekiwomera matama abili, mutulekere abami baffe abaganda ffe ababamanyiimu ekyaama tubeyagalira.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#923
saava (User)
Senior Forum Member
Posts: 300
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Abasajja Abaganda 1 Year, 5 Months ago  
Kati kanyanukule mikwaano gyaffe emilala egyakutte akazindaalo komuna mawulire nabo nebalima abantu baffe empindi ku mugongo .Nammwe muli ba ngeli ngenswa egoba akanyonyi temwatubulidde bifa eyo gye mwafumbilwa mumala mugwa kubamulya asooka ngamulina kusooka kuchanga chanisi nebassezaala bammwe okusobola okukakasa abaana bemuzadde eyo . Mujjukile nti abantu baffe bemuyisaamu amaaso bemukomawo ne muyimbila, olwo mukomawo bakolamu bukozi ssente? mujjukile nti woova toyombye wotera okudda, mulowooza eyo gyemwafumbilwa bwemukubila yo enyimba zammwe banabamatila oba munazitunda kyekimu nge ewaffe gyemuleka musulise abantu baffe? Kati olwo bemuyisaamu amaaso nabo bwebanazila enyimba zamwe mwe munalyaaki?Temukemebwanga kunyiiza balala mulujjudde bwemuba musobola okyebeera, naddala bwebaba bemujjamu ekigulira ba magala eddiba. Obugumikiliza okwata empola okwekwaanya nokwagala mukama kye yakuwa kye tukyayagala emiti gyaffe emito kwejiba jitambulira .Kyetubasaba nti bwemuba temuusomeseze kituufu temutwononela baana baffe.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#924
Erycom (User)
New Forum Member
Posts: 7
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Abasajja Abaganda 1 Year, 5 Months ago  
Nze Abakazzi MbagaalaNnyonaye sibalaaba. Wabula nze siyina ludda lwempagira. Wabula nonya Mukazzi wakuwaasa



DJ.Erycom
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#933
robster (User)
Expert Forum Member
Posts: 393
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Abasajja Abaganda 1 Year, 5 Months ago  
MELI munange webale naye osaze ogwakawala nga towulidde gwakaleenzi! okunenya abaami bokka banange ngamba tobeera mwesigwa nakamu, ekisooka bakyala baffe mwemusinga okwagala emirembe nemuleka ennono nobuwangwa, temukoma awo bwemugya ebweru wa uganda kisuuka nga buli kyemulabye kibatwala mangu, abaana mubawunda mbu batukanne nebanabwe abebweru omwami bwayogerako olwo nafuuka olowozeza mubikadde . mwamanya nti mwemusokerwako munsi zinno nekibonona nemwerabira ekitiibwa kyamwe.obufumbo butabanguse lwakoperera okusinga mubakyala ne wankubadde mulimu abasajja abolubatu!!!! kyengamba tutuule wansi tulwanilire enono nobuwangwa. ekilala nsaba tusigale nekitulaga newankubadde tetulika olulimi tulusigaleko nyo nadala mubaana.osanga amaka nga bagendera ddala okuva ekka nanti nka obaana teli amanyi kigambo mululimi lwe !!!!

tetuyinza kufuuka muntu mulala tusigala tuli ......................

awangale ssabasajja.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Radio arrow Forum
Advertisement
Advertisement