Buli alina ettaka likozese bulungi nga bw’olinda akalulu ka 2011
Kavuma Kaggwa
Bya Kavuma Kaggwa
TWEBAZA Ssaabasajja Kabaka eyassaawo akakiiko akakulemberwa Muky. Betty Nambooze akagenda kasomesa abantu ba Buganda ku tteeka Pulezidenti Museveni ly’aleese okutuggyako ettaka lyaffe n’okutufuula emmombozze mu nsi yaffe mu myaka 20 egijja.
Era twebaza akakiiko olw’omulimu gwe kakoze n’ogwo gwe kakyakola era ne twebaza Ssaabasajja Kabaka olw’okutulondera Gavumenti kati eriwo, erimu abasajja envuumuulo nga minisita Lubega Ssegona, ow’ebyamateeka Apollo Makubuya n’abalala abakoze kye basobola.
Mu kiseera kino eky’akasandali, kirungi nti baminisita bano bavaayo ne boogerera Buganda n’amaanyi nga baanukula Pulezidenti Museveni ne Gavumenti ye, okusinga bwe kyandibadde nti Pulezidenti bw’aboggola ng’abalala babunira.
Olutalo lwe tulimu olw’okulwanirira Buganda lukulu nnyo, bwe tutaaluwangule Buganda yaakusaanawo, olwo abaana n’abazzukulu tebajja kufuna we babeera, baakubeera baddu b’abantu abalala abavudde ebweru wa Buganda.
Ssekabaka Muteesa II yalwanirira nnyo Buganda, mmundu ye yagimuggya mu ngalo. Yadde yakisa omukono mu 1969, emyaka egyaddako Abaganda twagenda mu maaso okulwana ennyo okuzzaawo Obwakabaka bwaffe. Okulwana kwatwala ebbanga ggwanvu era kwalimu n’okukola pulaani ennyingi ezaakubibwa abantu ng’eyali Katikkiro Paul Kavuma, Omulangira Badru Kakungulu, Omulabirizi Yokaana Mukasa n’abalala.
We bituuse, buli Muganda amaze okutegeera we tuyimiridde. Ababadde babitwala ng’eby’olubalaato bazuukuke, bamanye nti tuteekwa okulwanyisa etteeka etteeka lino erigenderera okutuggyako ettaka lyaffe mu myaka 20 egijja mu maaso.
Ensi baagala kugifuula ya makolero na masamba, abantu bonna babagobe mu byalo badde mu busiisira bw’abagagga nga Mehta abanaaba n’amasamba.
Tulwanirira Buganda, esigale nga ffe bannyiniyo. Buli alina ettaka alikulaakulanye mu bulimi n’obulunzi, lisuubulireko oba si ekyo bagenda kulitwala.
Obwakabaka bwa Buganda bubadde mu biseera eby’akabenje bya mirundi esatu. Ekyasooka kyaliwo mu 1953 nga Ssekabaka Muteesa II awang’angusiddwa olw’okugaana federeesoni ya East Afrika; ekyokubiri kyaliwo mu 1966 nga Obote alumbye Olubiri lw’e Mmengo ate ekiseera eky’akabenje ekisembayo kye kino kye tulimu ng’ettaka lyaffe balikoledde olukwe lw’okulitwala.
N’olwekyo kyonna ky’okola kati ojja kuba oli mu lutalo lwa kulwanyisa nsonga eno. Abalimi, bannaddiini, abasuubuzi mwekolemu omulimu gye muli, mukole ekyo ekiyinza okututaasa gye bujja. Abasobola okutuukirira Pulezidenti Museveni nammwe mukikole.
Tetujja kulwana na mmundu, naye ekisinga byonna buli aliwo afube okulonda obulungi mu 2011 tukimanye nti Pulezidenti azzeeko taakole mateeka ganyigirizaako ffe ffekka.
Kino ky’ekiseera okulonda Pulezidenti Omuganda anaamanya obukulu bw’ettaka n’obuwangwa bwaffe. Bwe kitaabe ekyo tujja kusigala mu kunyigirizibwa okutuusa ensi yaffe lw’eneggwaawo.
Kavuma Kaggwa Mutaka w’e Kyaggwe.
Published on: Sunday, 23rd December, 200
