NDI muvubuka wa myaka 28. Ekizibu kyange ng’enda luutu emu sisobola kuddamu kubanga mpulira nga nkooye nnyo ate nga n’ekyagala kiweddewo. Munnange bw’aba tatuuse ku ntikko olwo mba nfudde. Ngezaako okubatamala mangu naye asobole okufuna ku ssanyu. Ekizibu kino kimmazeeko emyezi nga mukaaga. Nkole ntya anti omukyala ayinza okutandika okubaliga olw’obutamumatiza.
MMK e Kasiyirize
MUNNANGE ekizibu kino kireetebwa ensonga nnyingi. Oyinza okuba ng’okola nnyo n’okoowa era bw’otuuka mu kitanda nga waweddeyo dda. Ye ggwo omukwano gw’olina eri mukyala wo guli gutya? Mujjuvu oba okwegatta kubeera kutuusa luwalo.
Onywa omwenge? Wateekwa okubaawo ensonga ereetawo obuzibu buno.Gezaako olabe omukugu mu by’okwegatta ku 0772455645. Kirungi mugende mwembi ne mukyalka wo lwe munaafunamu ekirungi. Tokigayaalirira kijja kukulira ddala.