Omusajja ono twali twakamala mu mukwano omwaka gumu. Wabula lumu nnagendako mu bbaala emu akawungeezi kyokka kyambuukako bwe nnasanga muganzi wange ne mukwano gwange nga beewaamu.
Ssaayagala kubeeraga kwe kufuna akasonda akalimu akazikizazikiza ne ntuula eyo nga bwe ndaba ekigenda mu maaso.
Nnagenda okulaba ng’omusajja atandika okunywegera mukwano gwange mu ngeri y’omukwano, ng’abantu abaali mu bbaala bonna babeegese amaaso.
Nnasooka ne nneegumya naye nnalabira awo nga mbalumbye ne mbaatulira era ne mmusaba twawukane.
Wabula ebbanga lye mmaze nga ndi bw’omu mpulira nkaluubiriziddwa nnyo. Kye nvudde mpita mu Bukedde oba nga waliyo omusajja eyeetegese okummalako ekiwuubaalo kuba 0752611032.