‘Ewaffe omukazi yenna omukwata ku kifuba’ 1 Year, 1 Month ago
‘Ewaffe omukazi yenna omukwata ku kifuba’
Bya Ssennabulya Baagalayina
OMUKALARAMOJA Paulo Logwiri, 25, akawang’amudde ku poliisi bw’agambye nti ewaabwe omusajja bwe yeegomba omukazi amukwata ku kifuba. Kino kiddiridde okukwatibwa ng’alangibwa okukaka Lydia Busingye omukwano.
Busingye,42, ow'e Lugalama, Bukulula e Masaka y’aloopye Logwir ku poliisi e Lukaya nti yamukutte.
Busingye yagambye nti, “Logwiri ne munne bansanze nga nfumba ekyeggulo ne banvumbagira era ne bankuba ennume y'ekigwo. Omu yanzikakkanyeeko nga munne ankutte emikono bwe yamalirizza ne munne n'anzikakkanako. Nakanze kubalabula nti ‘nze gwe mukwata nnina siriimu mwenoonyeza ntaana’ naye ndowooza engeri gye batamanyi Luganda tebaategedde kulabula kwange ne bagenda mu maaso.”
Busingye yalaze poliisi ebbaluwa eziraga nti mulwadde wa siriimu ne kw’anywera eddagala lye.
Logwiri mu sitatimenti ye yagambye nti, "Ewaffe omukazi yenna okumufuna omukwata ku kifuba era tewali awaaba.” Wabula bwe yategeezeddwa nti gwe yakutte mulwadde wa siriimu, ebiyengeyenge ne bijja n’azira n’okulya emmere.
Yaguddwaako omusango ku ffayiro nnamba CRR 955/07 alindiridde kkooti.
Re:‘Ewaffe omukazi yenna omukwata ku kifuba’ 1 Year, 1 Month ago
Mbadde sitegedde ono Omukalamoja kyategeeza mbadde ndowooza nti ategeeza nti amukwatako mukifuba konze nti oli bwaaba agagalo ge tagasiimye agasssamula eri neyeyongerayo naye wemmalidde nga ndaba emboozi gyeraga etandise okulumira naye kirimaanyi okukamutema nti ebintu byewakedde okukavvula byabaddemu kawukuumi , sikweeko okwegoga byamaze okumira.
Re:‘Ewaffe omukazi yenna omukwata ku kifuba’ 1 Year, 1 Month ago
Mwattu Abraham tusanyuse okuba naawe wano, naye maama ngolina ekisa ekitiriika nze ndowooza nti ago amateeka ga Paulo gakola mu jungle mwokka buli nsolo esinza amaanyi yerinnyira, gwaate era olaba nemu jungle, sseddume egobawo endala zonna neeba nga yo yokka yebiri mumitambo nga yeyesalirawo ddi lwegenda, weyagalira , nekirala kyenandyagadde okumanya eriyo ebitundu ebitannamanya nti eriyo obulwadde oba ye munnafe Paulo yabadde aze kuvunyuula ku biri mu Kampala at least yandiyise nomutaputa osanga erindaazi yandirifumise walala.