Ebikooya Ku Baami Ne Ku Bakyala Mu Maka (1 viewing) (1) Guest
Favoured: 0
TOPIC: Ebikooya Ku Baami Ne Ku Bakyala Mu Maka
Meli (User)
Gold Forum Member
Posts: 1414
Ebikooya Ku Baami Ne Ku Bakyala Mu Maka 1 Year ago
Ennaku ezo nnasanze omwami n'omukyala nga bakaabera bonna emyaaka ana(40). Nababuzizza kiki ekyabasobozesa okusigala awamu nga bangi balemwa, nebaddamu bombi nti mukwano. Ewaffe kyenkana buli gwobuuza akugamba nti bugumikiriza, baana, ate nga anokola otya, nebirala bwebityo. Era naddala abakyala bangi ku nkomerero kyenkana babeera banakuwavu olwo bulamu bwaabwe engeri gyebwagendamu. Bakutegeeza, ekikubagizo kyaabwe be baana baabwe bokka. Nabo nno bwebaba bamuviriddemu bulungi ogamba nti wewawo. Naye abantu bano bennasanze, nga bombi balabika basanyu, bakola nga omuntu omu, buli omu alowoleza munne, amumanyi katugambe kumpi nga bweyemanyi. Naye nenzira emabega nendaba, nga abeeru abasinga nga 90% bennakasanga nga bakaddiyidde mu bufumbo, obasanga nga bamativu, nendowooza, naffe twangyetaaze okukola ku nsonga eyo, tuleme okukifuula ekyo kumala ga, kwatira awo, ate onodda wa. Essanyu lisoboka. Kiki ffe ekisinga okutuletera okwetamwa bannaffe, nokutabula obulamu bwobufumbo nebufuuka bwa kwesibamu bwesibi?
Ayiisa Kuba Mwagale
The administrator has disabled public write access.
Re:Ebikooya Ku Baami Ne Ku Bakyala Mu Maka 1 Year ago
Kino njakumala kukilowozako ndyoke nkomewo ntese naye as per now nze ndowoza nti bambi emitwe gyabwe giyinza okuba nga jiliko ekikyamu,naye bwebaba nga balamu bulungi njakuda ntese after a thought or two.
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
The administrator has disabled public write access.
tonto (User)
Senior Forum Member
Posts: 259
Re:Ebikooya Ku Baami Ne Ku Bakyala Mu Maka 1 Year ago
Meli mukwano kulikayo. Nze nayisa ebirango ku radio, naye nga tewali noomu yali akulabyeeko.
Abafumbo abatalina Katonda mubufumbo bwabwe kizibu nnyo okubeera bonna ebbanga eddene. Amaka agatalimu Katonda, gabeeramu ettamiro, obwenzi, buli omu okwefaako yekka, mubeeramu okukubagana emiggo, nebirala ng'ebyo.
Katonda yagamba nti abafumbo bafuuka omuntu omu. Okufuuka omuntu omu kyetagisa abafumbo abo okuba ne Katonda mubufumbo bwabwe. Okufuuka omuntu omu tekitegeeza kwegatta kyokka. Abafumbo jebakoma okubeera bonna, jebakoma okufuuka omuntu omu.
Endowooza yabwe etandika okufanagana. Ogenda okulaba nga kumpi bogera mungeri yeemu, batambula mungeri yeemu, nga nenseka yeemu, oyinza nokulowooza nti batandise nokufanagana. Buli omu aba amanyi munne kyayagala oba nekyalowooza. Wesanga nga buli omu amanya mangu ensobize. Buli omu amanyi plan za munne. Basanyufu kuba buli omu afa kubyetaago bya munne. Omubiri gwomukyala guba gwamwami, era nogwomwami guba gwamukyala. Ekitegeeza nti omu bwalwala omulala naye alumwa.
Bwatyo Katonda bweyategeka abafumbo okubeera, nebasigala nga bafumbo okutuusa okufa lwekubawula. Naye kyetagisa nti mubufumbo bwabwe mulimu Katonda.
The administrator has disabled public write access.
Meli (User)
Gold Forum Member
Posts: 1414
Re:Ebikooya Ku Baami Ne Ku Bakyala Mu Maka 1 Year ago
Nze ndowooza nti waliwo ebintu, ebitayogerwako nnyo, kubanga abasajja ensonga zaabwe bazogerako mpola. Okusinga bantu ba bikolwa. Naye abakazi Abaganda balina omuze gwo kwekobaana nabaana nebakola nabo team. Omusajja agenda okujja awaka nga awulira nti alinga ataali wawe, nga banne bakadda mu bwaama babuddamu. Ate maama psupsupsu, maama psupsupsu. Ate engeri bbo abasajja gyebata taking-a nosense. Olwo emisango gya baana omukazi natandika okugimukweeka. Ate neyefuula nti yekka yaafa ku baana, wadde munne bulijjo abeera amubuuza ebyetaagisa, yadde nga bwazikola bwazimukwasa alabe ebya waka. Naye mwaana muzaale. Naye yakola amaka kubeera nebanne. Naye atandika okuwulira nga owebweeru, ate atawanya abawaka. Nze ndowooza nti oluusi ekyo kireta nnyo abasajja okunoonya omukazi omulala, gwanayogerako naye. Ate noyo bwazaala naye nagenda nabaana. Olwo ono nasigala nga anoonya wwa wanaaja.
Ayiisa Kuba Mwagale
The administrator has disabled public write access.
tonto (User)
Senior Forum Member
Posts: 259
Re:Ebikooya Ku Baami Ne Ku Bakyala Mu Maka 1 Year ago
Ekya Katonda okubeera mu bufumbo is a principle. In practice, ebyo byogamba bibeerawo. Katonda ye anchor amaka kwegekwata nga omuyaga ogwo guzze. Abafumbo abo abaludde bonna era abatandise okufanagana, mubufumbo bwabwe bafunamu omuyaga. Wabula Katonda oba Holy Spirit, agukyuusa naguwugula. Ekitali mubufumbo obutalimu Katonda.
Ebizibu byabafumbo kumpi bifanagana, naye engeri jebigonjokamu yeyenjawulo. Romans 8:28 says "And we know that in all things God works for the good of those who love him, who have been called according to his purpose". Buli muntu yenna akkiriza omwana wa Katonda Jesus Christ, oyo ye ali called according to his purpose .
The administrator has disabled public write access.
Sorry, but Javascript is not enabled in your browser!
You are here:
Radio Forum