Abeekweka abantu be bayise okuva e Uganda 1 Year, 6 Months ago
Well what a show this was........08/07/2007
Kaakati waliwo eyakubye essimu nga akubirizza abantu okukyuusa ku mpisa. Nti waliwo abatekamu bannabwe kassunda baasi nga bali e Uganda nebabasuubiza okubayamba nga bazze mu 'bulaaya.'
Naye bwe bafuna visa ne balinnya enyonyi ne bajja ate ababayita nebabekweeka.
Kati eyakubye essimu yafundikidde nga agamba nti abantu twedeko!
Nze ndowooza omulya mmamba atera kubeera omu. Gwe olowooza otya?
Re:Abeekweka abantu be bayise okuva e Uganda 1 Year, 6 Months ago
Ndowooza nti mbwa nkambwe -- nnungi nga nsibe. Abantu baffe sikugamba nti tebakyamanyi kusiima, wabula kati gwowonyeza ddala eggere, lyalikukubya tteke eri kkula amalungi.Kale ampalane nga tamaze ate nakunkoya.Okusaaga, nekiruyi bidda wali, tulina okukuuma okukkiriza. Tetuwerebuka, tusigale nga tukyayambagana. Temwekweeka, be brave! Heheheheh!
Re:Abeekweka abantu be bayise okuva e Uganda 1 Year, 6 Months ago
Waliwo akayimba Wawawa ne banne kebaayimba akagamba nti; "Ekikere kiri ku mbaata, ekikere kiri ku mbaata. Tonninyira ku kigere ndabika kinnuma. Ddumba wekweeke nkukwekule Ddumba wekweeke." Nze okuva awo ntegeera, nti bano abayitibwa okuva e Uganda, bakendeeze amasimu right and left, banoonye abantu abo ababayita babakwekule.
Re:Abeekweka abantu be bayise okuva e Uganda 1 Year, 6 Months ago
Ate bbo bannaffe abali mu Bungereza bayitiriza! Nebwomukubira obukubizi essimu era yekweeka, ate nga bwagikutte bwayogera. Kwekugamba yekweeka mentally, "Ggwe ani? Nze wammanyira wa? Ani akuwadde essimu yange?" Tewali njawulo ebeyita aba class nabatali. Tewali njawulo abasoma nabatasoma. Ate bwobasanga e Uganda nga bakwesesezako. Tugambye mulina obuzibu, naye temulina ngeri ndala eri more straight forward gyemuyinza kweyambisa okusinga emyekeeko kweeko ne kkabyo?
Re:Abeekweka abantu be bayise okuva e Uganda 1 Year, 6 Months ago
meli olimutufu nyo emilundi kikumi abantu be uk bebasinga okwekweka banabwe nebwoba ova munsi emulinanye akugamba nti agenda kuja akunone kyoka bwokuba esiimu nga akola nga bwogambye nti wamumanyila wa naye sikilunji ate kisesa nti katonda amala namuswaza naye nayagala okuja okulaba ate notamukola ye kyakoze kale awo bagamba kyenkola munange sagala bakinkole oba omulaze omutima naye nekilala abantu be uk webabela aba yebuzamu agenda kusuza wa babalilila nyo ne byebakozesa nga amazii,amasanyalaze bwakuyamba nakunona womugambye bwakutusa ewuwe ogenda mu kinabiro okunaba oba omunabila mumutima kale awo abe uk bo bali kubunkenke ela omukyalila wekyalide naye bedeko wakili muyiya mwembi ebya europe mubela mubimanyi naye okwekwekako tekiba kilunji nakamu abavude wano e europe sikikulu nyo naye bebatademu kasunda baasi okuva euganda banabwe nebatunda namayumba gabwe kubanga ajja london kale aba amukomeza nyo ela abe uk mukilekele awo .