Kalibattanya okoze omulimu omuyonjo naye kikaabya amaziga okuba nti Kampala yali ku map ngabuli omu waddukira kati buli alina akabuuzo ku end ye linnyalye yeyeyunayo okukolerayo emirimu kasita aba nga ssabagabe amukunyulirako ezize 40%. Kati kampala atunula nga kisibo kyante ekitali kimaale busa .
Teeri ayinza kwebuuza nti okukola enguudo nokusimba omuddo emiti nebimuli kyekinyiriza ekifo nokukendeeza enfuufu . Naye tewewuunya buli omu aliwo kwoonoona na kunyagulula okutuusa nga emigozobano givuddewo tujja kwetaaga bulldozer ebyeeyo ebyebyuuma okuzaawo ekibuga kyaffe nga bwekyaali
Kallibs webale website eno,abaswidi bagude amatu nga tebakiliza nti ne mu Africa wasobola okufananako bwewati,omu agambye agenda kugenda e Eritrea akakase mbi siki Kiwani kyalisiza ku lisso lye.Omanyi wanno batela kulaga bisolo na ntalo byokka kale bambi abamu abatatela kutambulako bwebalabye tebakiliza.God Bless Africa.
Bannange ndaba bubi, oba Capital City ya Uganda yesinga okubeera entono, embi, enjama, eya bi pavements ebivundu mu Africa yonna? Ebizimbe bijjudde enfuufu bya kitakataka,tunula ku GPO, simanyi bakyagiyita General Post Office? Laba Commercial Bank! Ebizimbe mu kibuga ebiwanvu mulimu bitaano? Abavubuka bajoboze ffe nebatutuusa okusiba ekkira mu buli kimu!