Abapunta bawonye okuttibwa lwa ttakaEkipampagalu kya mmotoka y’abapunta eyayokeddwa.
Bya Frank Bazibumbira
BANO abatuuze b’e mawugulu tebawena. Bakkakkanye ku bapunta abaatumiddwa omugagga w’omu Kampala, Haruna Kasaayi okupima ettaka mu kitundu kyabwe ne babakuba emiggo n’okubatema embale ne mmotoka mwe bajjidde ne bagikumako omuliro n’ebengeya.
Eno ye yabadde entikko y’enkaayana z’ettaka eriwerako yiika 280 omugagga Kasaayi kw’ayagala okugoba abatuuze alundireko ente ku mutala Mawugulu mu muluka gw’e Nanziga e Nsangi.
Omu ku batuuze b’omu kitundu Phillip Asiimwe yategeezezza nti abapunta baatuuse mu ttuntu, naye baabadde bapima, abatuuze ne babazinda ne babakuba emiggo n’embale nga bagamba nti babanyagako ettaka lyabwe.
Abapunta bwe badduse mmotoka yaabwe ey’ekika kya Toyota Corsa nnamba UAG 529H abatuuze ne bagikumako omuliro n’esaanawo.
Published on: Friday, 21st December, 2007
