YA MUMANSA
ZIRIDDAMU lwe yadduka ekinyoolankoto ekyali mu Uganda n’addukira e Kenya, Bannakenya baamubuuza nti, “lakini nyinyi waganda mulikuwaje?”. Ekivvuunulwa nti mmwe Bannayuganda mwaba ki?
Olwaleero n’e Kenya eguddeyo ekinyoolankoto, Bannakenya badduse ekibabu ne beeyiwa mu Uganda era kati luwalo lwa Ziriddamu naye okubabuuza nti, ‘Bannakenya mubadde ki?’.
Okudwadwalikana okubadde mu Uganda emyaka emingi nga kuva ku bikolwa bya bannabyabufuzi eby’obubbi n’obutemu, ebikolwa by’ebimu ebyo ebireese akasambattuko e Kenya, n’abaayo ne batuuka okuddukayo okunoonya obubudamo ku miriraano nga Bannayuganda bwe babadde bakola.
Kyakusaalirwa kunene kubanga newankubadde Abazungu baatuleetera Baibuli n’Abawarabu ne baleeta Kuraani, ebitabo ebyo ebitukuvu bituyambe mu kuleetawo amazima n’obwenkanya mu nsi, kyokka ebyo bye bitabo bannabyabufuzi bye beeyambisa mu bikolwa byabwe eby’obubbi n’obutemu.
Anti ebyavudde mu kulonda kw’e Kenya olwalangiriddwa, mangu ago Pulezidenti Mwai Kibaki n’akwata Baibuli n’akoowoola Katonda mu kukulembera n’okufuga Kenya mu mazima n’obwenkanya.
Kyokka nga ago amazima n’obwenkanya Kibaki bye yabadde asaba Katonda ng’akutte ne Baibuli agiwanise, gaabadde gabbiddwa dda!
Okuwangula kwe kwesigamiziddwa ku bululu obubbe era olwo amazima gaabadde gasaabulukuse nga n’ekisigadde ye Raila Odinga kuduumira lutalo lw’okuyiwa omusaayi olwafiiriddemu abantu abasoba mu 500 era olwatuusizza n’abalala okuddukira ku miriraano.
Ebyobufuzi eby’ekikumpanya Baibuli ne Kulaani bizimaliddemu ddala ekitiibwa mu Afrika yaffe eno.
Era bwe waba nga wakyaliwo eky’okutaakiriza, leka olwaleero bannaddiini basitukiremu basabe ebitabo ebyo ebitukuvu biggyibwe mangu mu by’obufuzi.
Kino kinene nga kya wasuze otya, eky’abakulembeze baffe okukwatanga
Adwadwalikanye lwa bannabyabufuzi abatusiba ekiwaani nga bakozesa Baibuliebitabo ebitukuvu ne balayira okukulembera mu mazima n’obwenkanya kyokka ne baba nga batusiba kiwaani,
bagenda kutunyagulula, kutudwadwalikanya n’okututting’anya!
Ate nga n’okuyiga tebayiga.
Bwe kiba nti okubba obululu kye kikyankalanyizza Kenya, tosuubira nti ab’ewaffe ku muliraano balina kye bayize, nedda.
Enkya oba luli, ebyo byennyini ebikyankalanyizza Kenya, era by’ebijja okweyongera okukolebwa ne wano era tukyankalane, mpozzi n’okusinga bwe twali tukyankalanyeeko.
Era Ddwaddwaddwa Mumansa awo we nsinziira okukikinala ne mbuuza nti, “ lwaki mutusiba ekiwaani ne mukwata Baibuli ne Kulaani ne mulayira okutufuga mu mirembe n’obwenkanya so nga mukimanyi nti muli nkucwa zennyini?”
Published on: Wednesday, 9th January, 2008 from bukedde[img size=150][/img]
