Fun club ngiwagila nnyo ekiyitiridde, naddala nga ba funs abo bwebasubiza bannaabwe ebintu babibawa. LUUTU26, LEETA EKIFANAANYI!!!!!!!!! Singa akalulu kange kanayitamu, ntegeka okukola party eya BYOB awo e London kulwa Fun Club yaffe, next spring. Naye Luutu26, bwetunakugamba obeere ku bategesi tunakwesiga tutya nti onotukiriza emirimu gyo nga ogaanidde ekifaananyi?
Kyesiyinza kutegeela bu star tubufuna Mike alimu mood? ye lwaaki ye atalinyako wano alina bustar bungi kunze asimuula ekimeeza nokizizika obutagwa, kuba kiganyegenya ate kyekubiila oludda.
OLUYIIRA lwa Buganda okwekutula ku Uganda olwakolezeddwa omubaka Hussein Kyanjo lwongedde okulanda abakulembeze mu bitundu ebirala bwe bavuddeyo ne bategeeza nti nabo baagala kugyekutulako kuba tebalina kye baganyuddwa mu kubeera Bannayuganda.
Bino byabadde mu kukubaganya ebirowoozo ku pulogulaamu ya ‘Kimeeza’ eweere-zebwa ku Radio One ng’esinziira ku Club Obligatto mu Kampala ku Lwomukaaga.
Kyanjo (Makindye West) eyagaanyi abantu okumukuba ku nsolobotto olw’okuwaga Buganda okwekutula ku Uganda yagambye nti ye tatya kufa. Yategeezezza nti Buganda okwagala okwekutula ku Uganda tegenderera kugoba batali Baganda.
“Twagala kwegobako abantu abatutuddeko ne batubuzaako obwekyusizo. Buganda bwe yeekutulako, abatali Baganda basobola okusigala nga ba ‘yinvesita’ oba okusasulwa ssente mu bintu bye bakoledde wano ne badda ewaabwe.
Kyanjo yagambye nti Buganda terina ky’eganyuddwa mu kukolagana na Uganda okuggyako okugituulako n’ebulwa obwekyusizo. Omubaka Fungaroo (Obongi) ne Akbar Hussein Godi (Arua Municipality) byonna ebiri mu West Nile baawagidde Kyanjo ne bagamba nti nabo baagala ekitundu kyabwe kyekutuleko bakole ensi eyitibwa ‘Nile Republic’ nga bali n’ebitundu ebirala eby’omu mambuka ga Uganda. Baagambye nti nabo bawulira banyigirizibwa kuba tebalina kinene kye bafunye mu kubeera Bannayuganda.
Ssentebe wa disitulikiti y’e Gulu, Nobert Mao naye gye buvuddeko yagamba nti ayagala ebitundu by’omu mambuka byekutule