CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
EBYOBUWANGWA BYAFFE TETUBISULIRIRA (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 7
TOPIC: EBYOBUWANGWA BYAFFE TETUBISULIRIRA
#7553
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
EBYOBUWANGWA BYAFFE TETUBISULIRIRA 12 Months ago  
Nnaabagereka Sylivia Nnagginda ng’ayigiriza abamu ku Basaakaate engeri y’okulukamu omukeeka.



Bya Terah Kaaya





EKISAAKAATE y’emu ku nkola Buganda mw’eyise okunyweza empisa, obuwangwa, obuntubulamu n’ennono mu baana baayo. Eky’omwaka guno, Nnaabagereka Sylivia Nagginda yakigguddewo ku ssomero lya Mbogo Mixed Secondary e Kawanda.



Ekisaakaate kitambulidde ku miramwa 11 gyonna nga gyekuusa ku kuzza abaana abakyali mu myaka emito ku biruubirirwa by’okukuza Obuganda.



Abaana abatuumiddwa Abasaakaate, 865 be bakyetabyemu nga kuliko n’abavudde wabweru w’eggwanga nga Kenya awaavudde Abasaakaate 12, South Africa 12, e Tanzania n’abalala 7 okuva e Bungereza.



Omugunjuzi omukulu, Anatole Kiriggwajjo agamba, abantu bangi okuva mu mawanga amalala beegomba empisa, ennono n’obuntubulamu bw’Abaganda era eno y’ensonga lwaki nabo baa-leese abaana baabwe bayigirizibwe ku bintu ng’ebyo.



Kirigwajjo yategeezezza nti ku baana bano, 140 bokka be balenzi. Annyonnyola nti abaana baabayise basaakaate nga baagala okukomyawo omutima gwa Buganda n’enjogera eyabeeranga mu bisakaate.



Abasaakaate baategekeddwa mu bibinja bisatu okusinziira ku myaka gyabwe. ekisooka kirimu ba myaka 9 okutuuka ku 12 nga bano bali 192, ab’e 13 -15 nga bali 208 ng’abasigadde bali wakati w’emyaka 16 -18.

Ebisomesebwa mulimu:



1. Obunnamuntu: Lino ssomo erisomesebwa Abasaakaate okutandika n’okunyweza okwetegeera, okwekkiririzaamu wamu n’okwekuuma nga ba kitiibwa.



2. Entondwa: lino ssomo abaana lye bayigirizibwa okwetegeera ekikula kyabwe nti balenzi oba bawala ate basobole okwekkiririzaamu.



3. Obwakabaka: Mu lino, Abasaakaate bakubirizibwa okwagala Obwakabaka bwabwe, okubutegeera obulungi, okubayamba okusibusa mu bo obuvunaanyizibwa, obukulembeze obwegombesa n’okwettanira empisa ez’obuntubulamu.



4. Obukulembeze: Muno abaana bayigirizibwa obukulembeze era nga bategekebwa mu masaza buli omu n’amanya essaza ly’avaamu, omukulu waalyo na ki ky’alina okukola ng’Omuganda mu bukulembeze.



5. Obuvunaanyizibwa: Abaganda balina okubeera ab’obuvunaanyizibwa, era nnyingo nkulu okunyweza obuganda mu mirimu n’ebifo eby’enjawulo.



6. Obukozi n’obutetenkanya: Abasaakaate basomesebwa n’okunywezebwamu obusobozi bw’okuvumbula n’okugaggawala mu ngeri eyeegombesa.



7. Obwebulungulule: Mu ssomo lino Abasaakaate basomesebwa n’okunyweza obusobozi bw’okukuuma n’okutaasa Obwebulungulule (obutonde bw’ensi), okwagala ennyo ettaka n’okulikuuma.



8. Obutebenkevu: Mu ssomo lino bayiga okukuuma Obwakabaka bwabwe nga buli ggulugulu.



9. Endya, ensula, obulamu bw’omubiri n’ebitone: Lino essomo likoleddwa okusomesa mu baana okwettanira okukuuma n’okulabirira emibiri gyabwe nga miramu era nga gyesobola.



10. Obukkiririza mu Katonda n’obulamuzi obw’obwenkanya: lino mulimu okusomesa n’okunywereza mu baana obukkiriza mu Katonda n’okulamula mu bwenkanya. Muno Abasaakaate bakubirizibwa okumanya nti waggulu wa buli kintu eriyo Katonda, era nti mu bye bakola walina okubaawo obwenkanya nga balamula.



11. Olulimi oluganda: Kino kissiddwaako nnyo essira Abasaakaate bamanye engeri gye balina okulweyambisamu obulungi ate n’okulwagala okusinga endala zonna.



Bayigirizibwa n’okukola ebintu ebyemikono omuli okuluka ebibbo, ebitambaala n’ebirala. Kino kikulu naddala mu baana abawala kuba be babeezaawo amaka amayonjo ng’ebikozesebwa be babyerukira. Bayigirizibwa n’enfumba eng’anda naddala ku mmere ey’amatooke, okuwaata, okusiba n’okufumba okutuuka ng’etuuse okujjula.



Abalenzi bayigiriziddwa obuvunaanyizibwa bw’omusajja Omuganda ng’okukolerera amaka.



Published on: Saturday, 12th January, 2008[img size=150][/img]
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
      Topics Author Date
    thread link
EBYOBUWANGWA BYAFFE TETUBISULIRIRA Favorite
omumbejja 2008/01/13 00:00
    thread link
thread linkthread link Re:EBYOBUWANGWA BYAFFE TETUBISULIRIRA
rambuka 2008/01/19 01:04
    thread link
thread linkthread linkthread link Re:EBYOBUWANGWA BYAFFE TETUBISULIRIRA
omumbejja 2008/01/22 02:25
    thread link
thread linkthread linkthread linkthread link Re:EBYOBUWANGWA BYAFFE TETUBISULIRIRA
omumbejja 2008/02/09 01:31
    thread link
thread linkthread link M7 AGENDA KATI?
Shaggy 2008/02/09 12:18
    thread link
thread linkthread linkthread link Re:M7 AGENDA KATI?
Meli 2008/02/09 13:25
    thread link
thread linkthread linkthread linkthread link ebyobuwangwa byaffe tetubisulirira
omumbejja 2008/02/11 22:18
    thread link
thread linkthread linkthread linkthread link ebyobuwangwa byaffe tetubisulirira
omumbejja 2008/02/11 22:22
    thread link
thread linkthread linkthread link EBYOBUWANGWA BYAFFE
omumbejja 2008/03/02 04:18
    thread link
thread linkthread linkthread linkthread link Re:EBYOBUWANGWA BYAFFE
omumbejja 2008/03/02 23:47
    thread link
thread linkthread linkthread linkthread linkthread link Re:EBYOBUWANGWA BYAFFE
omumbejja 2008/03/03 03:14
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Radio arrow Forum
Advertisement
Advertisement