CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Emmotoka ya Kabaka eyatomeddwa takisi (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Emmotoka ya Kabaka eyatomeddwa takisi
#7592
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1818
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Emmotoka ya Kabaka eyatomeddwa takisi 9 Months ago  
Emmotoka ya Kabaka eyatomeddwa takisi (ku ddyo). Ate mu katono be bakuumi ba Kabaka.[img size=150][/img]



Bya Siraje Kizito ne Lilian Nalubega



TAKISI yatomereganye n’emmotoka ya Ssaabasajja Kabaka bwe yabadde agenda mu Lubiri e Bamunaanika ku Ssande ekiro.



Mu kabenje kano akaagudde e Kakerenge ku mayiro 18 okuva e Kampala ku lw’e Bombo, takisi UAF 645U yatomedde eya Kabaka ku ludda lwa dereeva n’egyasa ettaala n’egiyuza ne boneti. Mmotoka ya Kabaka yawabye n’eva ku luguudo.



Kyokka omwogezi wa Mmengo, Peter Mayiga yategeezezza nti Kabaka yavudde mu kabenje kano nga talumiziddwa.



Kabaka yabadde mu mmotoka Landcruiser UAF 235X. Akulira poliisi y’e Bombo, Peter Onega yategeezezza nti takisi yabadde eva Nakasongola ng’evugibwa Bogere Ssentalo.



Takisi teyasoose kuyimirira yagenze mu maaso n’etomera takisi endala UAJ 462R eyabadde egenda e Luweero. Sentalo yakwatiddwa ate takisi yatwaliddwa ku poliisi e Bombo.



Ssentalo yagambye nti, okutomera emmotoka ya Ssaabasajja yabadde asala kinnya so nga yabadde talaba bulungi kubanga dereeva wa Kabaka yabadde amazeeyo amataala nga gaaka nnyo.



Poliisi yaggudde ku Ssentalo ogw’okuvugisa ekimama era eggulo yasimbiddwa mu kkooti e Nyimbwa-Luweero.



Kabaka yatumizza emmotoka ye entongole Lexus gye yakozesezza. Abakuumi be eggulo baakedde ku poliisi e Bombo awali emmotoka ya Kabaka mwe yabadde ne bagibikkako ebigoye ku nnamba.



Published on: Monday, 14th January, 2008
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
#7636
rambuka (User)
Expert Forum Member
Posts: 577
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Emmotoka ya Kabaka eyatomeddwa takisi 9 Months ago  
banange SABASAJJAKABAKA--NAYE AYINA OKUFUNA SECURITY DETAIL--LABA TAXI OKUKONA OBA OKUTOMERA KABAKA WA BUGANDA.......MR PRESIDENT??????
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
peace
  The administrator has disabled public write access.
#7641
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1818
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Entambula ya Kabaka eyongere okutereezebwa 9 Months ago  


Entambula ya Kabaka eyongere okutereezebwa




EMMOTOKA eyabadde etwala Kabaka e Bamunaanika ku Ssande akawungeezi yafunye akabenje ku lw’e Bombo bwe yatomereganye ne takisi .



KABAKA yavudde mu kabenje kano nga talumiziddwa kyokka kyabadde kisoboka okulumizibwa. Kabaka si muntu wabulijjo y’ensonga lwaki alina abakuumi abenjawulo era buli kyakozesa omuli emmere gy’alya ekolwako abantu banjawulo.



SSAABASAJJA tatuukikako y’ensonga lwaki abafuna omukisa okumusisinkana bakolerwa enteekateeka eyenjawulo ng’ekyabulayo ekiseera.



ENGUUDO zaffe kumpi buli lunaku zibeerako obubenje omufiira abantu.



N’olwekyo Kabaka bw’aba atambulira ku nguudo zino yeetaaga emmoekulembera ng’eriko n’ekitaala ekirabula oba okulaalika ebidduka ebirala nti Kabaka ajja.



KYOKKA Kabaka bwe yabadde agenda e Bamunaanika eyo emmotoka teyabaddewo wadde emmotoka endala ekulembedde eya Kabaka. Y’ensonga lwaki mmotoka ya Kabaka yatomereganye ne takisi.



ABAVUNAANYIZIBWA ku ntambula ya Kabaka bateekwa okukakasa nga buli lw’atambula aba n’obukuumi obumala gattako emmotoka ekulembera erabula ebidduka ebirala okwerulira Kabaka ekkubo.





Published on: Tuesday, 15th January, 2008





wano waliwo obubuuzo bungi ??????????????????????????????????????????
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here arrow Forum
Advertisement
Advertisement