Omwana atannayogera tomuwa gonja
Gonja mmere nkulu eri abasajja.
Bya Edward Kalumba ne Keefa Ssentoogo
EKITOOKE kya gonja tekyabulanga mu nsuku z’Abaganda olw’emigaso enfaafa egikiriko. Ekitooke kino ddagala, mmere ate nga kigoba n’ebisiraani.
Gonja alimu ebika nga
Manjaaya ng’ono abeera n’omunwe munene ddala ate nga muwanvu,
mmamba, nnakattansase,ne
nnakakongo akula ng’eminwe gye gyewanise.
Ab’e Mawokota be baasinganga okulima gonja kyokka oluvannyuma olw’obuwoomi bwe n’ebitundu ebirala byatandika okumulima. Kuno kwe kwava n’oluyimba nti. ‘Ewaffe e Mawokota gonja ayengera...’
Gonja ky’ekimu ku bitooke ebitwala ebbanga eddene okukula. Bwe kireeta eng’o kitwala ebbanga lya myezi mwenda okutuuka okuliibwa.
Wabula gonja okuva ku kitooke kyennyini, empummumpu, ebyayi n’omunwe gwa gonja biriko eddagala eritali limu. Omuntu gwe basibye omulundi ogusooka ebisiraani by’ekkomera obutamulondoola, abyeyambululira ku kitooke kya gonja. Oluva mu kkomera ayisibwa wakati w’ebitooke bya gonja nga bw’alaamiriza nti ‘ebisiraani by’ekkomera mbirese wano mu kitooke kya gonja’.
Emirandira gya gonja gyongera ku bungi bw’ebisa eri omukazi agenda okuzaala. Gino gigattibwa n’emirandira gy’akakumirizi, omulandira gw’ejjobyo wamu n’ogw’omusambya. Biyisibwa ku muliro omukazi n’agaaya.
Kyo ekyayi kivumula ettalo. Kino kisibibwa waggulu ne wansi olwo ettalo ne lisigala wakati okutuusa lwe lyengera. Wabula ate yo empummumpu ddagala lya binnyo mu baana. Bagagambulako ebintu 4 bye bafumba. Bwe biggya omwana n’alyoka anywangako mu bipimo bitono ddala okutuusa lw’atereera.
Obukalakate bwa gonja buziba enkundi y’omwana egaanyi okuzibikira. Ono aba mwokye gwe bakalakata n’oluvannyuma obukalakate ne babumamirira mu nkundi y’omwana.
Amasanda ga gonja gayamba omwana addukana okulekera awo. Ofuna obusanda okuva ku munwe gwa gonja ogukyali omuto n’okamulira ku kagiiko omwana n’anywa.
Mu basajja abafumbo ng’oggyeeko emmere eng’anda, gonja ayamba okubazzaamu endasi. Ono ayinza okuba omufumbe oba omwokye.
Wabula newankubadde ebyo byonna biri bityo, kiwanuuzibwa nti gonja wa kisiraani singa omukozesa obubi. Singa omulya ng’obadde tonnalya kintu kirala kyonna n’obaako emirimu gy’ogendako, gidobonkana. Ng’onoomulya waakiri munda sookayo emmere endala.
Gonja omubisi kiwanuuzibwa nti wa kisiraani okumutambuza. Kigambibwa nti singa otambuza gonja omubisi, gy’olaze ebintu tebitambula bulungi. Ky’okola okutangira ebisiraani bino, oggyako omunwe gumu emmotoka n’egulinnya oba ggwe wennyini okugirinnyisa ekigere n’ogubebentula.
Gonja taweebwa mwana atannayogera. Okufaananako n’endaggu, singa omwana atannayogera amulya, kigambibwa nti ayinza okulemwa okwogera.
Ekitooke kino tekisimbibwa wakati mu lusuku. Kisibimbwa ku nkingizzi nga kigambibwa nti singa asimbibwa wakati mu nnimiro, olusuku lunyiiga era luyinza n’okusenguka.
Tasalwako mpummumpu so nga
n’endagala tezifumba. Mu
kuyunja,omugogo tegutemwa gwonna nga bw’oyunja ettooke wabula guno gukutamizibwa bukutamizibwa n’olyoka otemako gonja.Singa emizizo gino gisobezebwa, ggwe akikoze oyinza okufuna obuzibu.
Oyo ye gonja kawoomera!
Published on: Saturday, 1st March, 2008[img size=150][/img]
