Re:CONNECT UGANDA RADIO AND THE DJS 11 Months, 3 Weeks ago
Nze namdisabye program eyaliwo ku lwomukaaga mwami Lukwaago ne mukyaala Nambooze lwebajja okutunnyonyola ebigenda mumaaso ku ttaka lyaffe program eyo etekebwe mu LISTEN AGAIN gyebateeka abayimbi baffe ababa bazze wano ku connect kuba waliwo bangi ddala abagisubwa abandyagadde okugiwulira
Ekirala ku station ezimu ku ze mpuliriza balina we bakubira akalulu ku luyimba olupya abantu nebakuba essimu nti lusaana okuzannyirwa oba needda naye nga wano bwewali akanyigo okuyitamu ku ssimu kiyinzika okuwandiika enyimba eziwerako notekawo abantu weba lukubirako akalulu ye oba nedda
Kalibattanya enyimba ezigenda mu KINO KIKUUNO tulina nyingi naye maama bweguba omwaka buli omu yaguyingiramu bubwe kijja kuba kizibuko okuwulira chandiru buli omu ewaabwe kusaawa omwenda ogwekiro okujjako ngawafunibwaawo akapesa akali special bweluba luzanyibwa ku mwenda Bungereza awalala wonna akapeesa nekazikiza emikutu gyaabwe okutuusa bwebatuuka esaawa omwenda nabo nebaluwuliriza
Nekirala mu music twandisabye batwongerezaamu ne Soca kuba bo bayimba mu luzungu osigala okyategeera byebayimba nga bwetulina olucongo lwetutategeera netusigaza kunyumirwa ndongo
Re:CONNECT UGANDA RADIO AND THE DJS 11 Months, 3 Weeks ago
Nze nnelarikirira nnyo nga mpulidde Bukenya Brian nga atandika okutuyimbiramu akayimba ka Digida digida digida aka Ragga Dee, nga ntya engeri gyagenda okutuukamu wali ku "Sabagamba nti ngenda kubagaala." Era nassa ekikkowe nti eehhuu, bweyabimaliriza ga agamba nti nga ekimuli.... namalira awo. Mu butuufu oluyimba lwa Ragga Dee luno si lubi nnyo. Naye, mu kuwagira ekirowozo kya Kaliba, ndowooza waliwo ezeetaaga program eri special, abazadde nebajjawo abaana. Ate abaana baffe tetugenda netubegoomeza ffe ffenyini. Songa kati kiyamba abaana abayiga oluganda okubeera ne radio nga eno. Obateeka okwo nebawulira ate nebakola ne practice.
Mpozzi nekirala kyendowooza, nti buli radio station, eri commercial mu ngeri emu oba endala. Kubanga waliwo expences zokugiddukanya. Naddala bwetuba twagala more programs ndowoza tulina okwetegeka okulaba how to finance it. Kino kyateseebwako dda, naye tekigaana kukikuumira mu ddiiro engeri gyetutakikutulanga, nga ne radio bweliwo, lunaba olwo netukitukiriza.
Re:CONNECT UGANDA RADIO AND THE DJS 11 Months, 3 Weeks ago
Meli Ragga Dee teyagamba bantu nti agenda kubagaala ya batemyaako butemya nti agenda ku babamba kati kyesimanyi bateekwa kuba nga bamutunulidde oba oli nebwamukuba amabega nakyo bakozesa kigambo kyekimu ekyo? nekirala abantu bajjumbire omulamwa guno emirimu gyongere okulongosebwa.
Re:CONNECT UGANDA RADIO AND THE DJS 11 Months, 3 Weeks ago
Commercial broadcasting is the practice of broadcasting for profit. This is normally achieved by interrupting normal programming to air advertisements, also commonly called "commercials" in this context. It usually exists alongside public broadcasting where programming is largely funded by broadcast receiver licences, public donations, or government grants.
In an hour of broadcast time on a commercial broadcast outlet, typically ten to twenty minutes are devoted to advertising. Advertisers pay a certain amount of money to air their commercials, usually based upon the popularity or ratings of a station or network. Commercial broadcasting also has considerable overlap with pay services such as cable television, cable radio, satellite television and satellite radio; though such services are generally partially or wholly paid for by local subscribers.
Wikipedia.
Waliwo ekimanyiddwa mu nsi yonna nti abintu bya mawanga ga Africa bibera n'omutindo ogwa wansi. Wadde nga ebintu nga Radio yaffe eno byatandika mu mpola, naye tewali kigaana bawuliriza kussamu maanyi okulaba nti eri ku mutindo nga ogwe bintu byensi zetulimu. Naddala engeri gyetuwereza kaakati mu kusanyusa naye ate nemungeri ezomugaso ku bigenda mu maaso mu community ne mu ggwanga lyaffe.
Erinnya eryagiweebwa ConnectUganda Radio, lyennyini lisubiza omutindo ogulinnya ku proffessionalism eri ku mulembe nga ogwa internet radios eza communities endala eneene nga eyaffe.