OMUYINDI owa kkampuni ya Shumuk Investments aguze ebyalo bisatu n’alagira abatuuze abasoba mu 300 baamuke ettaka lye akolereko ebibye.
Bya Luke Kagiri
OMUYINDI owa kkampuni ya Shumuk Investments aguze ebyalo bisatu n’alagira abatuuze abasoba mu 300 baamuke ettaka lye akolereko ebibye.
Ebyalo ebyaguliddwa mulimu Kigesera, Kibibi ne Lusaana ebisangibwa mu ggombolola y’e Bulera mu Mityana.
Era mu ggombolola y’emu, Muky. Kaggwa yaguze ebyalo by’e Kibooba naye n’alagira abatuuze baamuke ettaka.
Omubaka wa Mityana North mu Palamenti Dr. Gordon Ssematiko yafunye balooya aba Kimanje Nsibambi Advocates ne bawandiikira kkampuni ya Shumuk ne bagiragira okuko-mya okutiisatiisa abantu nti babasengula.