|
Banange nebuuza lwaki ABAGANDA ffe tusinga okutibwa atenga ebanga lyonna
abantu abatuta sibaganda okuvira ddala mu 1966? ABAGANDA tulagewa era tukoleki? Lwaki tuffa buli kissera nga emmese? Twaza musangoki?
Police yonna ejudde banamawanga era bebatulumba nebatta abantu baffe awatali musango awamu nokutunyagulura sako netekka epya elitwala etakka lyaffe! Lwaki buli akutte emundu abe wa police,army,securiko mu BUGANDA sibaganda? Eno si occupation?!
ABASERIKALE ba SPC balumbye amaka e Nansana ne bakuba abaana amasasi agattiddewo babiri ate abalala babiri ne bafuna ebisago.
Margaret Namubiru omutuuze mu Nansana East I agamba nti abaserikale ba SPC okuva ku poliisi y’e Nansana okwabadde Simon Kirabira ne Peter Sserukwaya baamulumbye ku maliiri nga bali mu mmotoka ya buyonjo ey’ekika kya RAV 4.
“Baansanze mu luggya nga njera ne baambuza ekisenge mutabani wange Patrick Male Ssentubwe mw’asula ne mbategeeza nti yabadde akyebase naye ka mubayitire. Nnabadde nkyamuyita ne b agenda butereevu ku ddirisa ly’ekisenge ne basongamu emmundu ne batandika okukubamu amasasi ag’okumukumu, era ne mmanya nti abaana bange bonna babasse,” namubiru bwe yannyonnyodde mu maziga.
Agattako nti: Nnakanze kulaajana nti temunzitira baana ng’abaserikale bagenda mu maaso n’okukuba amasasi. ‘Paatu’ yafulumye n’agwa mu luggya we yakutukidde, ate Jovin Busuulwa ow’emyaka 4 naye n’agwa mu kisenge n’afa,” Namubiru bw’alombojja.
Yagambye nti Patrick ‘Paatu’ Male 20, abadde mutabani we, ate Jovin Busuulwa abadde muzzukulu n’abalala abaalumiziddwa okuli Jonah Kyobe 10 ne Keviina Namuyanja 6, amasasi gaabakutte ku magulu.
Kigambibwa nti aba SPC baabadde bazze kukwata Male nga bamulumiriza nti aliko omuwala gwe yakola olubuto, wabula olwamaze okutta abaana ne badduka.
Joseph Muyanja kitaawe w’omwana Busuulwa obwedda alaajana nti : ‘Jovin bakuttidde bwereere kubanga mukwano nkuggye wala okukukuza.’
Gye buvuddeko aba SPC baakuba amasasi mu bantu nga beekalakaasa e Nansana ne batta omuvubuka Vincent Ssebowa.
Akulira poliisi mu Kampala n’emiriraano, Edward Ochom yagenze we battidde abaana bano n’asuubiza okukwata n’okuvunaana abaserikale be.
|