|
‘Tetuggya kutiisibwa’
b>Bya James Kabengwa
ne Eddie Sejjoba
BANNABIBIINA okuli DP, FDC ne CP baanukudde munnamagye Gen. Aronda Nyakayirima ku bye yayogedde mu ketereekerero k'okwanjula etteeka ly'ettaka mu palamenti leero ne bagamba nti agenderera kussa bantu ku bunkenke nga bwe guli mu mawanga agafugirwa ku biragiro by'amagye.
Omukulembeze w'ekibiina kya CP, John Ken Lukyamuzi yagambye nti ng'omubaka mu palamenti Nyakayirima akimanyi nti bye yayogedde bigenderera kutyoboola ddembe lya buntu n'okubatulugunya.
"Tusuubira ebibinja by'abantu okuva mu buli kanyomero ka ggwanga okugumba ku palamenti nga bawakanya eky'okwanjulira palamenti etteeka erigenderera okuba-nyigiriza mu nsi yaabwe," Lukyamuzi bwe yagasseeko.
Omubaka Elias Lukwago (Kampala Central) ebya Nyakayirima yabiyise bya kutiisatiisa n'okujja abantu ku mulamwa olwo etteeka liyisibwe olw'okunyweza omunyago gw'ettaka abanene mu gavumenti lyebeekomezza.
Betty Nambooze akulira akakiiko k'e Mmengo akasomesa abantu ku ttaka, yagambye, "Olukwe lw'okwokya ebizimbe olwogerwako mupango ogugenderera okutuggya ku mulamwa."
Wabula omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Simeo Nsubuga yalabudde abantu abaneetantala okugenda ku palamenti nti ebinaddirira tebanenya poliisi.
Omubaka Florence Iddi (Kaberamaido-FDC) bwe yabadde mu lukiiko lwa bannamawulire ku kitebe kyabwe e Najjanankumbi yagambye nti aba FDC beekengedde ekigendererwa ky’etteeka lino era bagenda kutwala Gavumenti mu mbuga ku tteeka lino.
Published on: Monday, 4th February, 2008 from bukedde
|