|
Yee, kubanga atiisatiisa mu kifo ky’okuteesa n’Abaganda - Bidandi
WIIKI ewedde, eyali minisita wa gavumenti ez’ebitundu, Bidandi Ssali yawandiikidde Pulezidenti Museveni ng’amulaga akabi akali mu tteeka ly’ettaka erijja, wamu n’obusosoze mu Gavumenti.
Ahmed Kateregga alaze ebiri mu bbaluwa eyo Bidandi by’agamba nti bissizza Pulezidenti Museveni mu uufu bwa Obote ku bya Buganda.
Nkulamusizza era nkwagaliza birungi byereere mu mwaka omuggya ogwa 2008. Ebiseera bya Uganda eby’omu maaso biyimiridde ku nkolagana yo n’abakulembeze ba Buganda ab’ennono.
Kindabikira nti kati by’oyogera ku Buganda, Kabaka n’Abaganda bya busungu, biringa ebiva ku bukyayi. Kalunsambulira ava ku ggwe ky’oyita ekitono, eky’ettaka.
Obwannannyini ku ttaka n’obwannannyini ku bibanja kibaddewo okuviira ddala mu biseera by’abafuzi b’amatwale.
Wabaddewo amateeka n’empisa ezifuga bino byonna, okutuusa lwe biweddewo mu bukulembeze bwo. Lwaki enkolagana wakati wa bannannyini ttaka ne bannannyini bibanja eweddewo kati? Lwaki akatuubagiro akaliwo tekasobola kunogerwa dagala?
Osaana weebuuze nti b’ani abagoba abantu ku ttaka? Lwaki babagoba nga tebakubwa ku nsobotto? Gavumenti ekozeewo ki okumalawo bino?
Pulezidenti mmanyi nti okimanyi nti abasinga okugoba abantu bakozi bo mu magye ne mu gavumenti. Wawulirwa ng’owa ab’e Kalungu amagezi beerwaneko nti kubanga etteeka terikkiriza battaka kugoba babibanja.
Abamu ku bawi bo ab’amagezi ne baminisita nabo babawaga nti balwanyise ababagobaganya wadde nga bakimanyi nti bali baba balina emmundu.
Waliwo amateeka agafuga okuyiwa abajaasi ne poliisi okukola ebikwekweto mu bitundu bye batavunaanyizibwako mu butongole. Waliwo amateeka agatakkiriza muntu kusaalimbira ku ttaka lya munne. Gavumenti yo tennavaayo kuyamba babibanja kukozesa mateeka gano.
Ekyo ky’ekireeta abantu okwebuuza ekigendererwa mu kubaga etteeka lino ng’oli bw’alitunuulira olukwakwayo alowooza nti lizze kulwanirira babibanja. Oba nga gavumenti eremeddwa okutaasa abebibanja, lwaki abantu teebekengere bigendererwa eby’omunda eby’ebbago lino?
Ebbago lino lya mulundi gwakusatu, amalala gaaviibwako olw’oku-wuliriza emiranga gy’abantu.
Ndaba engeri gy’osikamu omugwa ne Mmengo ng’eringa ddala eya Obote gye yagusikamu nabo mu 1966.
Ebyavaamu omuli n’omusaayi okuyiika na kati eggwanga likyanyiga biwundu. Onenya Obote olw’obutakwata mpola bintu by’e Mmengo sso si kukozesa jjoogo lya kwemanya lyanyi.
Naawe osaanye okumalawo okusika omugwa ne Mmengo nga muyita mu kuteesa. Okwagala okuggya Abaganda ku Kabaka n’okwagala okuggya ebitundu bya Uganda ebirala ku Buganda, osiga nsigo za kazigizigi. Oba nga ddala ab’e Mmengo bassaawo akakiiko akakwonoona ne NRM, naawe ssaawo akako kalimbulule ebya kali.
Bwe mubaamu kalebule, bakube mu mbuga z’amateeka. Weewale n’ebigambo ebijeeguula nga “Nange ndi Ssaabataka!”
Okukozesa olulimi olusosola mu mawanga mu bantu ababadde beetuliidde entende kisobola okukoleeza oluyiira.
Okugamba nti Abaganda omuli omumyuka wo, Katikkiro wo, bammemba ba Palamenti, baminisita abava mu Buganda nti basosola mu mawanga ng’ate Abaganda bafumbiriganye n’ab’amawanga amalala era nga mu Buganda tekuli kyalo kitaliiko b’amawanga malala era ng’abebibanja babadde bulungi ku ttaka lya mayiro, era nga Abaganda bawagidde nnyo abatali Baganda mu byobufuzi kiraga omuntu ali ku nkola ya ‘batabuletabule obafuge’.
Published on: Tuesday, 5th February, 2008 from bukedde
|