CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Re:‘Tetuggya kutiisibwa’ (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Re:‘Tetuggya kutiisibwa’
#8092
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:‘Tetuggya kutiisibwa’ 9 Months, 3 Weeks ago  
Kamya ampita atya omugwira – Museveni



Pulezidenti Museveni agenda kutwala Beti Kamya mu kkooti. Kamya alumirizza Pulezidenti Museveni okwekkusa n’abeggwanga lye bokka.



Bya Ahmed Mukiibi



PULEZIDENTI Museveni ayanukudde Beti Kamya eyakimutaddeko nti si Munnayuganda, asosola mu mawanga, asembeza babe era anyaguludde eggwanga mu myaka 20 gye yaakafuga.



Museveni atangaazizza ku buzaale bwe nti: “Ndi wa kika ky’Abasiita abeddira Bagahe (ente), ekika kyange kye kimu ku bika binnansangwa, ffe bamu ku bakola emikolo gy’okutikkira Kabaka wa Tooro n’owa Bunyoro”, Museveni bwe yategeezezza mu kiwandiiko eky’emiko 11 kye yafulumiza nga February 5 ng’ayanukula Beti Kamya.



Beti Kamya, Museveni gwe yayogeddeko nga muwala w’omugenzi Lt. Col. Kamya eyali omujaasi wa Amin yasiikudde omukulembeze w’eggwanga emmeeme bwe yawandiise mu lupapula lwa ‘Monitor’ nga January 28 n’alumiriza nti ‘Museveni si nzaalwa ya Uganda’



“Nze obutabeera Munnayuganda, mukyala Beti ajja kubinnyonnyolera mu kkooti”, Museveni bwe yagambye n’annyonnyola nti Beti Kamya okumuyita omugwira aba ategeeza nti “Ndi Pulezidenti wa Uganda mu bukyamu kubanga akatundu 102 aka Konsitityusoni tekakkiriza mugwira kubeera Pulezidenti”.



Kamya yawandise ng’alumiriza Museveni nti atunze ebintu bya gavumenti, ettaka aligemudde mu ngeri y’ekyeyonoonero, kw’agasse okwonoona ebyenfuna n’agamba nti tekijja kuba kyangu okumusiguukulula okuggyako nga Bannayuganda bakoppye ku biri mu Kenya.



“Omubaka Kamya okumpita omubbi!!, Bintu by’ani bye naluutinga?”, Museveni bwe yeecwacwanye n’ayongera okubuuza: “Bintu ki bye nnina okuggyako ebyange bye ntuuyanidde ne bye nnasikira e Kisozi ne Rwakitura?” Beti Kamya okukunga abantu okukoppa Bannakenya, Museveni yagambye nti ogwo musango naggomola kubanga kubeera kusendasenda abantu okutandika lutalo ekintu ekimenya amateeka.



Okumuyita Nnaakyemalira, Museveni yakizzeemu nti, “Obwannaakyemalira bwe bulungi ggwe ate ani yandirese Beti Kamya okulya obutaala ng’awandiise kalebule, n’okukuma omuliro mu bantu batting’ane!



Wano kwe kulabula Kamya nti ajja kusaanawo n’abo bonna abalowooleza mu kukuma omuliro mu bantu batting’ane n’agamba nti NRM ezimbye ebitongole ebinywevu omuli amagye, Poliisi, ekitongole ekiramuzi ne Palamenti ebitajja kugumiikiriza bantu nga Beti.



Ku byogerwa nti ab’eggwanga lya Museveni be balya, Pulezidenti yagambye nti abantu nga Beti Kamya byabakalidde ku matama, bwe baakitegedde nti mu kitongole ky’emisolo ekya URA abantu be babadde balowooza nti be basingamu.



Yannyonnyodde ebintu ebyo nti ab’eggwanga lye be balya azze ebiwulira, byatuuka ne mu kabondo ka NRM n’alagira Katikkiro Polof. Apolo Nsibambi okumuwa lipoota ku bakozi ba gavumenti.



Kyokka yagambye yakuba ttooci mu ofiisi ye n’akizuula nga ku bawandiisi abataano abali mu ofiisi ye, bana Baganda John Mitala, Amelia Kyambadde, Thecla Kinalwa ne Hilda Musubira. Richard Muhinda yekka y’ava mu Ankole.



Yagambye nti bwe yakimanya yeebuuza mu mutima oba yali nsobi okulonda abantu bana ku bifo ebitaano nga bava mu kitundu kimu n’agamba nti teyejjusa kubanga ye afa ku busobozi.



Ku kutiisatiisa kwa Beti Kamya nti enkola ya Museveni okusembeza abantu be ajja kubazaalira leenya, Museveni yalabudde nti okwo kwerimba kubanga NRM esimye emisingi eminywevu n’agamba nti okuggyako nga bikoleddwa mu mateeka, tewali ajja kutwalira mateeka mu ngalo era zibasanze abo ababungeesa obulimba.



Yagambye omuze guno gwaliwo nga NRM yaakajja mu buyinza abantu abamu ne bagezaako okuyigganya bannaabwe abava mu bitundu by’obukiikakkono kyokka NRM yakigaana era abantu b’engulu bakuumibwa mu ngeri y’emu nga abaana b’abajaasi ba Amin nga Beti Kamya bwe baakuumibwa.



Enkola y’okutunda amakampuni ga gavumenti Beti Kamya gye yagyogeddeko nti Museveni mw’ayise okutwala amakolero, banka, bbaasi za UTC, ennyonyi ya y’eggwanga, eggaali y’omukka, ebibiina by’obwegassi, ebyagi, amasomero, ettaka.



Kyokka Museveni yamujereze nti, “Muwala w’omujaasi wa Amin avumirira enkola y’okutunda amakampuni gaayo agaali gakola obubi ng’abajaasi ba Amin bokka be bagalyaamu ng’eno Bannayuganda abasigadde beerya nkuta ng’eno bwe batemulwa kijambiya’,



Pulezidenti yawolerezza ekiragiro ky’omuduumizi wa Poliisi Maj. Gen Kale Kayihura okugaana enkung’aana mu Kampala n’agamba nti okukkiriza enkung’aana mu Kampala kuba nga kukkiriza abantu kuligitira n’okulinnyirira nnimiro za bannaabwe n’agamba nti enkung’aana zitaataaganya abasuubuzi.



“ Tetujja kuddamu kukkiriza nkung’aana za bya bufuzi mu Kampala, lwe twakola ensobi ne tukkiriza abayaaye ba FDC okukung’aana mu Kampala, batta abantu basatu n’okuluutinga ebintu by’abantu”.



Published on: Saturday, 9th February, 2008
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
      Topics Author Date
    thread link
‘Tetuggya kutiisibwa’
omumbejja 2008/02/05 05:50
    thread link
thread linkthread link Re:‘Tetuggya kutiisibwa’
omumbejja 2008/02/08 07:41
    thread link
thread linkthread linkthread link Re:‘Tetuggya kutiisibwa’
omumbejja 2008/02/08 08:06
    thread link
thread linkthread linkthread linkthread link Re:‘Tetuggya kutiisibwa’
robster 2008/02/09 14:26
    thread link
thread linkthread linkthread linkthread linkthread link Re:‘Tetuggya kutiisibwa’
omumbejja 2008/02/10 06:57
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here arrow Forum
Advertisement
Advertisement