CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
‘Teri ajja kunziyiza ku ttaka’ - Kabaka (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: ‘Teri ajja kunziyiza ku ttaka’ - Kabaka
#8117
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
‘Teri ajja kunziyiza ku ttaka’ - Kabaka 9 Months, 3 Weeks ago  
[img size=150][/img]



ne Robert Masengere

KABAKA Mutebi agambye nti mu bukulu bwe nga Ssaabataka alina obuyinza n’eddembe okwogera ku ttaka n’okulibaako n’obwannannyini ku lw’abantu be.



“Njagala kitegeerekeke, obwakabaka bwazimbibwa ku ttaka era Kabaka ye Ssaabataka. Buli kika kirina obutaka bwakyo. Ssaabataka omulimu gwe kukuumira bantu be ku ttaka okulituulako n’okulikolerako emirimu. Ssaabataka asaanidde era ddembe lye ery’obwebange okwogera n’okuwabula ku nsonga enkulu eno,“ Omutanda bwe yalidde mu ttama ng’aggulawo olukiiko lwa Buganda eggulo mu Bulange.



Gwabadde mukolo gwa kitiibwa ogwetabiddwako n’omulangira John Barigye owa Ankole, Namasole Zirimbuga eyasikira Namasole Sarah Kisosonkole, Namasole w’e Kanyanya, Nnaali-nnya Beatrice Namikka, Ssaabala-ngira Moses Kayima, abalangira David Simbwa, David Wassajja, Namugala Mawanda n’abawi b’amagezi eri Ssaabasajja okuli Mayanja Nkangi, Mulwanyammuli Ssemwogerere ne Dan Muliika.



Abataka baakulembeddwa ssentebe Nakirembeka, bannaddiini n’abantu abatutumufu mu Buga-nda. Gavumenti yakiikiriddwa Mi-nisita avunaanyizibwa ku by’abaa-na n’abavubuka, James Kinobe.









Baminisita beeyanzizza mu maaso ga Kabaka. Nsubuga Nsambu eyasiimye Kabaka okumulonda ng’atuukiriza kye yasuubiza Abasiraamu nti ajja kubawa ekifo ekisava. Yaddiriddwa Sipiika Kaddu Serunkuuma, omuwanika Nagawa Mukasa, Minisita w’Ebyamawulire Peter Mayiga, ow’omu ofiisi ya Katikkiro Israel Mayengo n’omuwanika w’enkuluze William Matovu.



Abalala abeeyanzizza obwami ye ow’Ebyabakyala Mariam Nkalubo Mayanja, ow’Ebyobwegassi George Wilson Nsamba. Nsamba yawubiddwa mu kifo ky’okweyanza obwami yakiyise”Ssaabasajja neeyanzege okumpa Obwakabaka”. Baamukubye olwogoolo ne yeetonda. Ono musajja Mukenyi (Baganda abaazaayira e Teso emyaka 200, kyokka kati bali Bugerere).



Abalala abeeyanzizza ye w’Ebyo-bulimi Mansur Simbwa Bunya, ow’Ebyabavubuka Mathias Mpuu-ga Nsamba n’ow’Ebyenjigiriza Ahmed Lwasa. Kabaka yayozaayozezza Katikkiro ne baminisita abaggya n’asaba Olukiiko lubakwatireko okukulaakulanya abantu.



Published on: Monday, 11th February, 2008 from bukedde
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
      Topics Author Date
    thread link
‘Teri ajja kunziyiza ku ttaka’ - Kabaka
omumbejja 2008/02/11 23:23
    thread link
thread linkthread link Re:‘Teri ajja kunziyiza ku ttaka’ - Kabaka
Balyokwabwe 2008/02/12 11:38
    thread link
thread linkthread link Re:‘Teri ajja kunziyiza ku ttaka’ - Kabaka
Balyokwabwe 2008/02/13 10:24
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here arrow Forum
Advertisement
Advertisement