Bino byabadde mu kakiiko ka palamenti ak'ebyettaka n'amayumba akayambibwako ak'ebyamateeka okwekenneenya ebbago lino. Ababaka baabadde batudde okuteesa ku ngeri gye banaafunamu ebirowoozo ku tteeka lino okutandika wiiki ejja. Minisita w’Ebyattaka Omara Atobo y’asooka mu kakiiko.
Obukiiko buno obwegasse, bujja kukung’aanya ebirowoozo by’abantu abenjawulo n'oluvannyuma ebbago litwalibwe mu palamenti liteesebweko esalewo okuliyisa oba okuligaana.
Akakiiko kakubirizibwa Nathan Byanyima [Bukanga]. Dr. Brian Asiimwe [Ntoroko] ne Isa Otto [Oyam South] be baleese ekirowoozo ky'okufuna abakugu okulitaputira ababaka balyoke balinnyonnyole abantu. Baawagiddwa Patrick Amuriat [Kumi] eyagambye nti ng'okulitesaako tekunnagenda maaso baagala kusooka kumanya oba terikontana ne Konsitityusoni.
Konsitityusoni ewa abantu obuyinza okuba n'obwanannyini ku bintu byabwe abamu kye bagamba nti ebbago likontana nakyo kuba liggya ku bannannyini ttaka obuyinza.
Charles Aleny [Usuk] yagambye nti kyetaagisa Mmengo , Kabaka n'abafuzi b'ensikirano abalala batuukirirwe bawe ebirowoozo byabwe.
Baagambye nti kkopi z'ebbago zeetaaga okuweerezebwa mu bitundu by'eggwanga lyonna abantu balisome n’oluvannyuma ababaka bagendeyo bafune ebirowoozo.
Margaret Babadri [balema] yasabye ababaka nabo babe n’omusomo ku bbago lino.Ate Mable Bagaine [Bugangaizi] yagambye nti n'etteeka ly'ettaka lyonna nga bwe lyayisibwa mu 1998 lyetaaga okuddamu okwekenneenyezebwa.