CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Cell Phone Dangers Revealed (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Cell Phone Dangers Revealed
#8219
Meli (User)
Gold Forum Member
Posts: 1408
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Cell Phone Dangers Revealed 9 Months, 3 Weeks ago  
Emboozi mpanvu ddala wano etegeeza nga cellphones abalala zebayita mobile phones, buli wooba nkufuna, nti za kabenje eri obulamu bwomuntu, naddala eri abaana nabatiini. Naye owlokubanga conventional phones ewaffe kyenkana zalema abateesi okutereza abantu bazettanire, kati osanga nga abantu kyenkana bonna bali ku cellphones. Ate nga tetulina na cancer institutes. Tekituletere obuzibu mudda kino? Ggwe abato abakuli okumpi abassa ku cellphones systematically?



..."public health scientist George Carlo found that rare tumors on the outside of the brain are more than doubled among cell phone callers ­ particularly on the right side of the head where `phones are usually held...



Here is more support for the earlier post: "Em Fields On Brain Tumor Incidence - Chemicals And Cell Phones" the evidence is so compelling and the regulatory bodies will continually get usurped by the industry - it should behove the reader to protect her/his health by not using these devices...



Thanks to Tamara Theresa and Steven Zakrzewski for the additional links provided at the end of the post.



Chris Gupta



...Health Canada "also told us thalidomide, asbestos and the blood supply were safe." Carrying similar risks of long-term lethality, and strangely just as legal, cellphone addiction mirrors the prestigious early allure of smoking ­ as well as an immensely profitable industry's steadfast denial of risk and responsibility. As poisonous as cigarette smoke and even harder to corral, the cellphone's "second-hand" microwave and to bystanders ­ ....



.... Roger Coghill became a long-standing advocate for health warnings to be affixed to cell phones after this biologist found that cellphone transmissions damage the ability of white blood cells to ward off infectious disease by disrupting the immune system's electromagnetic communications. Dr. Neil Cherry has measured accelerated aging, increased cell death and cancers caused by radio frequency microwaves from cellphones and their relay towers. With the brain's electro-chemical communications repeatedly zapped by lightning-like cellphone pulses, this Ph.D. biophysicist warns that headaches, fatigue, lethargy, nausea, dizziness, depression, arteriosclerosis and even Alzheimer's can result from frequent or prolonged calls on cell phones....



...."The risk is extremely high," declares Dr. Cherry. "There are 66 epidemiological studies showing that electromagnetic radiation across the spectrum increase brain tumors in human populations. Two of those studies are for particular brain tumors from cell phones."....
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Ayiisa Kuba Mwagale
  The administrator has disabled public write access.
#8255
JeenaJulia (User)
Diamond Forum Member
Posts: 943
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Cell Phone Dangers Revealed 9 Months, 2 Weeks ago  
Essimu eyabise n’etta abadde agyogererako



Essimu eyayabise n’etta omuntu. Mu katono gwe mukono gwe yabadde agikwasizza



Bya Richard Kayiira



ESSIMU ya Edmond yabwatuse ng’eraddu ng’agyogererako n’emukuba n’afiirawo. Essimu yavuddemu omuliro ogwakutte enju ebintu byonna ne biggya. Akabenje kano akawawaazizza ensi yonna amatu n’okutiisa abakozesa essimu z’omu ngalo kaabaddewo omuvubuka ono bwe yabadde acajinga essimu ye n’evuga nga waliwo amukubidde.



Mu kiseera kino Edmond yabadde agalamidde ku buliri n’akwata essimu n’atandika okugyogererako. Yabadde akyayogera essimu kwe kutulika. Bazadde ba Edmond baayanguye okujja mu kisenge kye ne bamusanga ng’avudde ku kitanda agudde eri alambadde ng’obuliri bwe bukutte omuliro.



Essimu yabadde esiridde ne waya z’amasannyalaze kwe yabadde acajingira nga zisiridde.

Engalo za Edmond ezaakutte essimu nazo zaabadde zisiridde. Yaddusiddwa mu ddwaaliro kyokka n’afa nga yakatuusibwayo.



Oluvannyuma kyazuuliddwa nti yakubiddwa masannyalaze agaayise mu ssimu. Bino byabaddewo nga January 26 mu Ghana, kyokka Gavumenti y’ensi eyo n’egazaako okukugira amawalire gano olw’okutya okutataaganya enteekateeka z’empaka z’omupiira ezaakomekkerezeddwa mu ggwanga eryo ku Ssande.



Omwogezi w’ekitongole ky’amasannyalaze mu Ghana yalabudde abantu obutayogerera ku ssimu nga ziri ku masannyalaze. Era kyabulabe nnyo okusuza essimu ku masannyalaze kubanga bwe gajja amangi gasobola okugyabya ne gookya enju yonna.



Ate Fred Otunu akulira ebyempuliziganya n’ensonga z’abakozesa amasimu mu kitongole kya Uganda Communications Commission yategeezezza Bukedde nti kya kabi nnyo okwogerera ku ssimu ng’oli mu kugicajinga.



Yannyonnyodde nti amasannyalaze bwe gafunamu ekizibu ne geesala oba ne geeyongera ennyo (kye yayise power fluctuation), gayitira mu ssimu n’eyabika ne gakuba omuntu abeera agyogererako.

Yawadde abantu amagezi nti bwe babakubira essimu kyokka ng’eri ku masannyalaze, basooke bagiggyeko boogere oluvannyuma bagizzeeko.











Published on: Friday, 15th February, 2008



Email this article to a friend.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
  The administrator has disabled public write access.
#8310
Ancient (User)
Junior Forum Member
Posts: 158
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Cell Phone Dangers Revealed 9 Months, 2 Weeks ago  
Naye ba experts bavayo late balimba!

Kati nze nina only cell phone ate nobwogamba nti ejjakuzibya obwongo bwange sisobola kugivakko.

okuteegera ekintu ate nogana okukyusa is the normal personality of us, kati tuteesa kukolatutya?

Everything electronic is not safe i promise, naye muyige okulya obulungi at least bwoffa nga naddala nga tonayagala, tulekeele organs zo a bayindi nga tebanaziba...ate tugambeki banange!



Cancer is a killer, cell phones are connectors

ani asala ogwe nsuuwa ne ngoma it gwe nze kusinga?
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here arrow Forum
Advertisement
Advertisement