CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Bannabyabufuzi balumbye Museveni ku by’okuyigga (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Bannabyabufuzi balumbye Museveni ku by’okuyigga
#8228
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Bannabyabufuzi balumbye Museveni ku by’okuyigga 9 Months, 3 Weeks ago  
Bya Angel Lubowa



EBYAYOGEDDWA Pulezidenti Museveni nti tanatuuka kuva ku bukulembeze ne yeegeraageeranya ku muyizzi amaze okwefumitira ensolo ye bali ne bava eri ne baagala okugigabana byogezza bannabyabufuzi abamu ebikankana.



Museveni bwe yabadde e Munyonga, Kyeizooba mu Bushenyi ku Lwokubiri yagambye nti talina gy’alaga mu Lunyankole nti, “Niinye nahiigire enyamaishwa yange nkagiita, mbwenu ngu ngyende,nzehi?” ekivvuunulwa mu Luganda nti “nze nayigga ensolo yange kati mmaze okugitta nti nveewo”.



Omubaka Beti Kamya owa FDC ategeezezza nti “akagero ka Museveni ak’okuyigga ensolo kanneewuunyisizza kubanga ensolo gy’ayogerako ye Uganda era tagittanga kubanga naffe mwe tuli tugirwanirira.



Yayongeddeko nti Museveni talowooza nti ensolo Uganda yakulya wabula eteekwa kulundibwa n’abalala bagisangewo.



Omumyuka wa Katikkiro w’e Mmengo, Nsubuga Nsambu yategeezezza nti ebigambo bya Pulezidenti byayambye okukakasa abantu abamu bye bazze bamwogerako nti kubanga omuyizzi tatera kuyigga mumwe.



Kyokka omubaka Capt. Guma Gumisiriza (NRM) yawagidde Museveni nti “omusajja mutuufu eggwanga lino yaliggya wala bamuleke afuge okutuuka lw’alikoowa.”



Wabula Ssebaana Kizito (DP) yayambalidde Museveni n’abamuwagira nti agira afuga n’abuuza nti “Museveni alowooza twerabidde bye yayogera mu 1986 nga yakawamba nti wakufugira emyaka ena.



Yali ayogera ebyo nga yeerabidde nti yayizze? Ye ne bwe guba muyiggo emyaka 22 gy’afuze by’alidde ne by’afunye bitono?”



Yahaya Kamulegeya owa Peoples Independent Party (PIP) yagambye nti ebigambo bya Museveni byamukubye wala n’akizuula nti abantu baalonda bubi.

Daniel Muliika yagambye nti Museveni bw’abeera yeeyise muyizzi kitegeeza nti yatyoboola dda banne bwe baagenda okuyigga naddala Buganda etaagabana.



Kukaayana na kuwamba bya balala ate ne bano be muyizze nabo obawaako.

“Atubuulire banne bwe baayigga nga ffe Abaganda atusasudde ki?.



Okuyigga muzzanyo gwa mazima na bwenkanya tegukolwa bw’omu era bano ogabana nabo sso ssi kwekkusa wekka” bwatyo Muliika bwe yakubidde.




Published on: Friday, 15th February, 2008
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
#8231
rambuka (User)
Expert Forum Member
Posts: 659
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Bannabyabufuzi balumbye Museveni ku by’okuyigga 9 Months, 3 Weeks ago  
Banage ndowozza nti former president--his exellence BINAISA--yali mutufu nti entebbe ewoma era tefikamu-----Idi Amin Dada--bweyayogera nti iam the life president of Uganda-abantu nebatandika okuyekera-era our leader his exellence General YOWERI MUSEVENI KAGUTA-na forming wo ekibina FRONASA---Okulwanisa dictator Idi Amin----eyali mu buyinza emyaka nge esatu jokka--naye General museveni ali mu buyinza emaka abiri nokusukawo--era tayatula nti ndi life president-naye kirabika nti kya yakala okuba-banage can we trust our leaders? tomorrow will may be KIZZA BESIGYE OR ANY OTHER HOW CAN WE TRUST them? may be--former president his exellence Binaisa tell us more of the entebbe of the presidency---we are luck that we still have him- respect Q.C
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
peace
  The administrator has disabled public write access.
#8248
Kalibattanya (User)
Expert Forum Member
Posts: 606
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Bannabyabufuzi balumbye Museveni ku by’okuyigga 9 Months, 2 Weeks ago  
Guno mulimu gwa Mike, naye nga bwatakyalabikako, nze kanyambeko kati, kubanga forum eri very dirty. Bannange temufaayo nnyo kuteeka miramwa gyammwe kungulu. Bwetujja obutaala bwaaka, netulaba ebiriwo ebipya. Ate era naffe tunoonya. Waliwo etteeka erigaana ba member okuleeta emiramwa emipya, nga bajjawo abalala gyebaleese nga essaawa 24 tezinnayitawo. Abakikola mweddeko, kubanga mumalamu amaanyi bateesi bannammwe. Tetuli ku mpaka.



Eno topic, mu butuufu egenda mu broken news.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Love Conquers All
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here arrow Forum
Advertisement
Advertisement