CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Re:MASTER BLASTER YASINGA....VERY POETIC IN A SENS (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Re:MASTER BLASTER YASINGA....VERY POETIC IN A SENS
#8030
Meli (User)
Gold Forum Member
Posts: 1414
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:MASTER BLASTER YASINGA....VERY POETIC IN A SENS 11 Months ago  
Babaakwate bonna babateeke mu mbuzi ekogga, bafune ample time and space okulwana all they can. Oba oli awo banatuyamba nebejja mu misery yaabwe ensi newona obugwaagwa bwaabwe. For starters, enyimba bwezityo weziri nyingi, zayimbibwanga bulijjo abaana abe byeejo, era nga abalala bagenda babaloopa nti bogedde ebye bisiru. Awo nga abazadde batutegerezawo obutazannya yadde okutambula nabo. Bayitibwanga ba maka mabi era nga batwalibwa nga bawansi. Ekikola obubi kati kwekuba nti enyimba nga ezo bwezigenda ku radio, ebeera yenyonyoddeko ya kika ki. Tewali ebyo nti abantu nebakuba akalulu. Ogenda okulaba nga abantu abategeevu bebulungulula badduka. Ekivaamu nga kya nsonyi okugamba nti ndi member mu nsonda eri. Anti batandise, ate mugamba bagenda kulekerawo, anti zebakola zebalya! Temufaayo, program yonna bajja kugijjuza.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Ayiisa Kuba Mwagale
  The administrator has disabled public write access.
#8041
rambuka (User)
Diamond Forum Member
Posts: 718
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:MASTER BLASTER YASINGA....VERY POETIC IN A SENS 11 Months ago  
In his video it looks so normal---naye engeri ja awunzukamu ebigambo bye muluyimba nzibuzibu---------
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
peace
  The administrator has disabled public write access.
#8137
Meli (User)
Gold Forum Member
Posts: 1414
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:MASTER BLASTER YASINGA....VERY POETIC IN A SENS 11 Months ago  
Mweyo enjiri ya ba master blaster gyebabulira mwemuva bino. Era gyebunakoma obukaba obwo Abaganda bwemweteekako mu byemuyita ebyokusaaga, neba serial killers mujja kufuna abatemula abaana bammwe. Nga bannaffe wano a beeru, nga temukyamanyi na mulabe gyeyava, oba ngeri ki eyokumuzzayo.





JJaja wa Nantume ng’akaabira omugenzi. Mu katono bw’abadde afaanana.

Bya Moses Nyanzi



OMUYIZI attiddwa oluvannyuma lw’okusobezebwako omulambo gwe ne bagusuula mu nsiko. Teddy Nantume (16) abadde omuyizi mu Gayaza Mixed SSS mu siniya eyookusatu, yeyasangiddwa ng’attiddwa abantu.



Ettemu lino lyabaddewo mu kiro ekyakeesezza olwa Mmande mu Zooni ya Kyetume B e Gayaza mu ggombolola y’e Nangabo mu Disitulikiti y’e Wakiso.



Jjajja w’omugenzi, Muky. Teddy Nantume yategeezezza nti yakomye okulaba ku muzukkulu we ono gwabadde abeera naye ku Ssande essaawa 9: 00 ez’olweggulo, ng’awerekera bassengabe abakyadde awaka.



Obudde we bwawungeeredde nga Nantume tannadda okutuusa enkeera lwe baamugambye nti Nantume yattiddwa.



Nnyina wa Nantume omuto, Muky. Juliet Ndagire, yagambye nti omugenzi yakomye okubeera naye akawungeezi ka Ssande namutegeezza nti agenda kugula engoye mu katale k’omubuulo akabeera e Gayaza ku Ssande.

Baayawukanye naye n’amuwa 500/- okulinnya bodaboda emuzze eka singa anaaba avuddeyo, wabula baakedde kumugamba nti yattiddwa.



Omulambo gwa Nantume gwasangiddwa mu kasiko nga wabulayo mita 200 okutuuka ewa Jjajja we, ng’akawale k’omunda kayuziddwa, ensingo ng’enyooleddwa era ng’emabbali we wasigadde engoye ze yaguze mu katale n’engatto ze yabaddemu.



Akulira Poliisi e Kasa-ngati, Meriton Muhimbula yasabye abatuuze okuyamba poliisi mu kunoonyereza ku butemu buno.



Tewannabaawo akwattibwa ku ttemu lino omulambo gwajjiddwawo Poliisi oluvannyuma lw’okugwekebejja negutwalibwa e Mulago.







Published on: Monday, 11th February, 2008
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Ayiisa Kuba Mwagale
  The administrator has disabled public write access.
#8229
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:MASTER BLASTER YASINGA....VERY POETIC IN A SENS 10 Months, 3 Weeks ago  
Abavumiridde

KAMISONA
w'ebyenjigiriza e Mmengo, Alozius Joy Matovu avumiridde abayimbi abayimba ennyimba mu lulimi Oluganda eziwemula n'agamba nti zikontana n'enteekateeka ya Nabagereka ey'ekisaakaate ekiyigiriza abaana empisa n'ebyobuwangwa. Bino yabyogeredde mu lukungaana lwa bannamawulire mu National Theatre wiiki ewedde.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Radio arrow Forum
Advertisement
Advertisement