ku mpale nekiteteeyi ki kyoyagala munno ayambale (1 viewing) (1) Guest
Favoured: 0
TOPIC: ku mpale nekiteteeyi ki kyoyagala munno ayambale
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
ku mpale nekiteteeyi ki kyoyagala munno ayambale 9 Months, 2 Weeks ago
Kulwange ndaba nti enyambala yomuntu esaana negendera kukikula kye ekifo walaga nga nemyaka oyagadde okugibalirira . Kyewava olaba nti Abaganda bakisalira amagezi olugoye lwaabwe olwabusuuti neluba nga teluboola kikula kyamuntu era nga wonna walwambalira lumuweesa ekitiibwa telulinaako gwelwesittaza nti oba alaze ebitundu ebitateekwa kugendera kungulu ate teluboola myaaka .
Kati oli bwaaba ayagala okukyusaako katugambe ngoyagala kugendako ku kabaga kiro ayinza okusalawo okwambala ekyo kyonna kyoyagadde kasita oba ogoberedde amateeka agakufuga ngokulowooza kukikula kyo ne myaaka gyo kuba tosobola kusulamu bugoye bwogenda kutandika kwetundula mu mubiri kuba oyagala okugenda nomulembe notandika okussa abakulaba kubunkenke nga batya nti ekiseera kyonna bupasuka. oba noyambala bulawuzi yekiteteeyi ngolina kugisikasikanya kkubikka , olwo ngeyakedde okwambala okutonnya otandise kwemoola, ekiteteeyi kituuka bulungi naddala bwekiba kituuse bulungi ngakikuwa emirembe wamu nobutesittaza bakulaba
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
The administrator has disabled public write access.
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
ENNYAMBALA y’abakazi ennaku zino oluusi esukka. 9 Months, 2 Weeks ago
ENNYAMBALA y’abakazi ennaku zino oluusi esukka. Abamu bambala bubi nnyo nga naawe bw’omutunulako olina okwesisiwala.
Ekyewuunyisa abamu bazadde kyokka bambala engoye ennyimpi ennyo nga bw’atuula abeera abasitamira.
Nsaba minisita avunaanyizibwa mu kukwasisa empisa ayise etteeka erigaana abakazi okwambala enyoye ennyimpi ennyo.
Ennyambala eno eyonoonye n’abaana abato kubanga nabo kati balowooza nti bw’oyambala engoye empavu tonyuma.
James Musiitwa,
Masaka.
Published on: Monday, 18th February, 2008
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
The administrator has disabled public write access.
Re:ku mpale nekiteteeyi ki kyoyagala munno ayambale 9 Months, 2 Weeks ago
Ekiteteyi kyo kyagenda wala kubanga bwekiba nga tekikunamiza omwambazi kigenda wona.Okujjako abo abayitawo nebambala zino enkunamyo okwesitaza abantu naye bwaba angasimulagajavu ngayeddabiliza ekiteteeyi kiweesa ekitibwa munno nebwoba omututte mubakadde asinga oli eyenenise empale ate kigenda nemumasinzizo bwekiba nga tekikunukidde.Tulina okwebaza oyo eyayiya busuti enyumila buli agitekamu mulaba mutya abacholi nabalala bwebazambala bafuukila ddala bakyala bajuvu songa yayitibwanga yabaganda kati obwoobugoye obukunukila nebulaga namakundi bwebutwesaaza entooto era buswaaza nnyo bwewaberawo abakulu nabaana abato nebelolera nebakamala.Ekiteteeyi ngasikabulawuzi kinywela kumubili era bakubilize abakyala nabawaala abato bambale baggumile mu fashions zonna zebagala.Ekiteteeyi kyambalibwe nnyo kuba tekigwa bbeyi.
The administrator has disabled public write access.
Meli (User)
Gold Forum Member
Posts: 1408
Re:ku mpale nekiteteeyi ki kyoyagala munno ayambale 9 Months, 2 Weeks ago
Waliwo mukwano gwange omu musajja tuba tulaba Tv nalaba abakazi nga bambadde zino eziyitibwa enkunayo ate nga za lace, kyaava ambuuza nti kati abo bagala ki? Kko nze nnemmanya? Naye bwengenda okukitebeereza nga mululu. Mululu gwa baami, ggwe ate lwaki obeera oyagala bonna batunulire ggwe omu? Waliwo nno nabalina eka already, abafumbo, kale nga ava eka nga mugabule bulungi, otegera mutuuze munnange, ate najja mu kkubo mbu okubeera sexy!! Nogamba nti bannange waliwo abatannafuna!! Ggwe waliddeko dda!! Lwaki tagenda nabeera sexy munju ye bba gyaali? Ewaffe kyekyava kyali kikoze obulungi, nga afumbirwa nga ava mu bye kiwala okulaga nti yye avude ku katuguyite omudaala. Yye empale nze nga omukazi njagala nnyo abakazi abalala abagala bazambale, kubanga ebiseera bingi zimanyi nokubizza, awo ffe abe bitetteyi nga beyi erinnya. Kkwo okuba ebyokusaaga bidda wali, naye empale ebeera mpale, terina nnyo musono, tejagatta. Naye waliwo obuteteyi obuli fit, nze nkusiba, nti omukazi omu bwayambala neyemalayo mu mpale nomulala mu kiteteeyi, abasajja bajja kuyikira ono owe kiteteeyi.
Ayiisa Kuba Mwagale
The administrator has disabled public write access.
rambuka (User)
Expert Forum Member
Posts: 659
Re:ku mpale nekiteteeyi ki kyoyagala munno ayambale 9 Months, 2 Weeks ago
kiteteeyi---naye nga kiwanvu bulungi.
peace
The administrator has disabled public write access.
Re:ku mpale nekiteteeyi ki kyoyagala munno ayambale 9 Months, 2 Weeks ago
Mhhhh emitwe egimu ku forum wanno gikuleka webuza akana nakatano...kati eyalese guno,empala otegeza kali akomunda oba omuzungu kyeyandiyise tulawuza?Kankitwale nti tuli ku tulawuzazi..Nze mbakuba mwami owewange nandimwagaliza byonna okusinzila kumbela mwetuba.Kati ngeza kubudde bwa winter bunno,nze tolina ngeli gyoyinza kunyambaza kiteteyi mbu kuba kyoyagala mpozzi nga oyagala empewo empitemu olye goolu lyenyini.Hope u get the picture.Ebiteteyi bilungi nyoo mubudde obwekka naye ate waliyo ne bika byempale munno gyasobola okwambala neba nga telina gwesitaza nga mubutuffu nemusinzizo etukka.Eyo gomasi yo sijja nakujogelako kuba ate eyo chapter ndala nyoo.Ate sikati zzo nga muzelabidde?
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
The administrator has disabled public write access.
Sorry, but Javascript is not enabled in your browser!