CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: TWENYUMIRIZE MU BYAFFE
#8438
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
TWENYUMIRIZE MU BYAFFE 9 Months, 1 Week ago  
Owino -Gye batunga engoye ne bazissaako obupande bwa Yitale

WALI otunuddeko ku kitogi ky’olugoye lwo n’olaba wa gye lwatungibwa?



Bannakampala okuyiiya kubasusse,akuguza olugoye ng’ataddeko ensi gye luva kyokka nga balukoledde mu mayumba gaabwe.



Sijja kukutwala wala, kankulambuze ‘Made In Owino’ ekifo awagumbye abantu akatunga engoye eziyaayaanirwa nga bazitaddeko obupande bwa Yitale.



Abantu ekitundu kino baakikazaako lya ‘Down Town’ era oli bw’akulagirira yo omanya nti akugamba katale k’abantu akajjudde abayiiya kyokka nga n’ebintu njolo, ssente ze zikusalako.



Wakati mu kitundu kya Down Town we wali Made in Owino. Era kiri wakati mu katale ka Owino. Eno wewali abakyala n’abaami abamanyi okutetenkanya obulamu.



Abakoleramu batunga buli kika kya lugoye era ogwabwe si gwa kuddaabiriza oba kukuba biraka.



Bano bakyusa ekibadde ekiwero,ebadde essuuka oba olugoye ne balufuula olugoye olwambalwa omuntu. Balimu ebibinja, si buli muntu nti akola gwa munne era bagigabana bulungi buli omu n’abaako gw’akola.



Nnalongo Nanteza akola ogw’okukomola obuwale bw’abaana, agamba nti mu bbo mulimu abakeera okusala endiboota ne bafunamu engoye embi bbo ze batungamu endala ne bazizza mu katale.



Abakeera be bafuna amasuuka ge batungamu amasaati, ekkooti, empale n’ebirala era tebasuula kiwero kubanga n’ebiwero bye basala ku bye batunga bakomekkereza babitunzeemu waakiri ebisaati eby’amadowadowa eby’ettanirwa ennyo abalaasi.



Mulimu ekibinja ekikola ogw’okukomola. Bano olubaleetera ekigoye kyonna kye basaze mu ndibota nga bayiiya kambalo kinaavaamu.



Bano olumala okutunga engoye nga basuubuza era babeera n’obubonero bw’amakampuni g’ebweru bungi, gwe aguze olugoye n’olowooza nti lw’oyambadde luva Thailand oba Yitale. Ogw’okutunga gusinga kwettanirwa bakazi, ate ogw’okusuubula n’okugula ebiwero ne gukolebwa basajja.



Batunga buli kika kya lugoye omuli amasuuti, engoye z’abakazi ez’omulembe n’endala. Oli bw’akugamba nti ‘ono Kampala kuyiiya’ tomuwakanya. Buli muntu alina kulya ku magezi ge.[img size=150][/img]
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
#8439
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:TWENYUMIRIZE MU BYAFFE 9 Months, 1 Week ago  
Kati ebiri eka wabiwuliranga mu ba Nigerians abakutunzanga chains nezikufuula owa blu ku mikono oba mumbulago bweziba tezikubutudde .Naye eka olwokwagala okuzannya olutalo lwebyenfuna abantu bamalirizza nga ekitu kye kyakedde okutunga obulungi akiwadde calvin klien nze awo nfirawo oli bwaaba tayagala kukigula nga yeyongerayo, kuba ne mu America abaddugavu bwe benyigaawo bakola ebintu bingi ebisinga nebya beeru kati nabo bwebenyize mukutunga engoye banansangwaawo ngababakubira wala era kati okuyitako kumasomero ngabaana majority bambala ngoye baddugavu zebayiyiza emisono .

Kati awo newebuuza nti abantu baffe eka lwaaki befeebya nga bamanyi okukola ebintu obulungi ? Leero ye omuddugavu aligwaamu ddi mentality eyo mweeru okuba (yes sir master) its so pathetic. Abaddugavu okuganira emabega akagenderere kyeralikiriza kuba abeeru babawa upper hand okubajooga nokubayisaamu amaaso kyoova olaba nti abaddugavu abatwalibwa kunjegere munsi za beeru tebatutegeera okuba nti tukyaali munsi zaffe naye mukifo kyokwekulakulanya tukya wanjagalira beeru kutufuga nakutubulira kyakkola .

Bo abatwalibwa kunjegere berwanyeeko wonna webasobola okwenyigiriza nebawaguza nebalaga kiki omuddugavu kyasobola okukola ngomuwadde eddembe naye ffe tukyalina olugendo lwamaanyi eka .Ekikwewunyisa nti bwofuluma bana Uganda webabeera tewabula kuba kyebakutusizaako nti awo waliwo mu na Uganda akolerawo naye muntu mukozi nnyo ate muntu mulamu, Kino nakirabako, waliwo omusawo eyali akolera mu ddwaliro erimu munsi za Africa eyo naye nga bwaaba awummudde nga balwadde baddayo eka nti tulikomawo nga komyeewo era bweyaddanga nga ba nurse bakayana nti bafa emirimu olwabantu ababa basimbye okumulaba kuba baali bamulaba nti akola nomutima gwe gwonna nokwagala omulimu gwe . Nekikuzaamu kumaanyi ngo maze okuwulira emigozobano egiri eka.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
#8456
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:TWENYUMIRIZE MU BYAFFE 9 Months, 1 Week ago  
Tukyalina omukisa okuba nti abakola lugabire bakyazikuumye in their original form nga tekuli nti made in Italy mpozzi layer enyingi zebazongerako nekiba nti azambala atambula ne swagger.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here arrow Forum
Advertisement
Advertisement