PHAD Akatabo kano bakamperezaako, naye okatereddeko mukiseera ebirala nyinza okusomako akatono neneyongerayo naye si bino wano nkwebaza akensusso era nesunga next page keep it up owomukwaano Phad
-Ate mu 1900 n’awebwa erinnya ery’Obulamuzi, era okubera omwami ow’okubiri ow’ekitiibwa mu Buganda.
-Mu 1913 n’ayitibwa Ssabasajja Kabaka George IV ow’eBungereza,okukiikirira Obuganda.
-Yamaliriza omulimu ogwamuweebwa ogwa Regent mu 1914, nga Kabaka atusiiza okweramulira, kyokka ate Kabaka ne Gavana ne basalawo okumulonda okubeera Omulamuzi, okulimu gweyakolera emyaka 7 bwe ddu.
Awamu, gy'emyaka 32 nga ali mu buwereza bwa gavumenti.
Bw’amala okunokola emirimu gyonan egyo, n'alyoka akityeemula nti asaba awummule emirimu gye, kubanga yali alumirwa nnyo erinnya lye,obwesigwa bweyalina eri Kabaka we ne gavimenti ya Bungereza, ate nga yali takyetaaga nyombo mu myaka gyeyali atuuseemu.
Ebbaluwa ya Mugwanya yagitegeka era n’esomebwa mu lukiiko tabamiruka, olwaberangawo buli mwaka, era ensasagge yatuukawo nga Abaami, ab’Amagombolola n’abakiise abalala tebakkiriziganya na kulekulira kwa Mugwanya.
Beekolamu akabinja nebawandiikira Gavana ebbaluwa nga eyita ewa Sabasajja, nga bawakanya okusaba kwa Katikkiro n’Omuwanika okusala emisango mu Kooti y’Omulamuzi.Beyongerayo nebagamba nti okulekulira kw’Omulamuzi tekwali kwa kyeyagalire, wabula olw’okulengera olukuunya bano abakungu lwebaali bajja okussa ku Mulamuzi, wamu n’okumulemesa okuweereza Obuganda mu ngeri bonna gyebali bakkiriza nti yali tebuusibwabuusibwa, wabula nga ekwaasa abakungu abo obuggya!
Baanokolayo emirerembe egyaliwo nga abakungu bano tebannayawulibwa,era nebalaga nga Obuganda bwe bwaali buladde okuva Kabaka lweyali yabaawula.
Baamaliriza nga basaba enkola ebaddewo, y’eba eddawo, era nga bakakasa nti bw’eneddawo, Omulamuzi ajja kukuba akadda nnyuma, addemu awereze Obuganda kinnawadda.
Bassaako emikono nga beebano:
Alikisi Pookino
Andereya Kaima
Jooje Kaamuswaga
Nyasio Lule Kyambalango
Yozefu Muteesa
Yozefu Luweekula
Tomasi .S Kasujju
Edward Mbubi
Serwano Mugerere
Semewo Kiyimba
J.T.K.G Kajeerero Ssabalangira
Josefu Kisunje,Mutuba I
E.K Mukasa Musaale
Rafairi Kidza,Mutuba I
E.B Sempiira Ssabaddu w’eBuyaga
Anatoli M . Ssabagabo
D.Kidza,Musaale Bugangazzi
A.Kabuusu,Mutuba VII, Buddu
Leo N.Mutuba IV,Buyaga
Joswa Misango,Omukulu w’Olubiri
R.Ssabawaali
Fesito Munyang’enda, Ssentala.
Ssekabaka bw'agifuna, ate naye kuno n'ateekako eyiye, era nga eggumiza abaami abo gyebawandiise, era nga ennyonyola nga naye yennyini bwatasemba nsonga ya Mulamuzi kuwummula, era nga alaga nga Omulamuzi bwatasabye kuwummula kyeyagalire.Yasaba ow’ekitiibwa Gavana addemu okutunuulira okusala kwe okwasembayo, nga agamba nti akabasa kaviira ddala ku nsala eyo!
Awo ate ab’Amasaza nabo nebasitula enkundi, nga bawandiika ebbaluwa eri Sabasajja, era nayo nga mu bufunze esaba Kabaka aleme kukkiriza kulekulira kwa Mulamuzi.Baalaga nti tebaalina luuyi lwebagoberera, okujjako okugoberera amazima n’obwenkanya.Ebbaluwa eno yawandiikibwa mu Luganda, sso Ssabasajja yalina okugikyuusa mu lufuutifuuti, kuba yalina okugiwereza ne ku Gavana.
Bassaako emikono gyabwe:
Fesito Munyang’enda Ssentala
Y.Kyazze Kajugujwe,Mutuba V
S.M Bazongere,Musaale Singo
S.W Kulubya,Mutuba IV,Kyaddondo
Ezera Kabali,Mumyuka,Singo
Zonna olwo n’aziweereza ewa Gavana, nga ziyita ewa PC Magulu meeru, oba muyite Kyeruppe.
Era awo Sabasajja yakiraba nga kisanidde okwanjula eri olukiiko okusaba kw’Omulamuzi okulekulira. Kino era yakyanjula mu bbaluwa,eri Mengo lukiiko,nga 28th January 1921.Yasaba afune okuddibwaamu amangu ddala, era nga anokola ensonga nga ye bweyali tasobola kukkiriza Omulamuzi okuwummula, wabula nga ate takiraba lwaki abakungu bali abavaako entabwe balemera ku nsonga y’okubeera ku kakiiko akalamula mu Kooti .
Tebaalwaayo, era abakungu b’olukiiko nebadamu ebbaluwa nga 29th January 1921 nga bonna bassa kimu nga nkuyege.Wabula,nebateesa nti wadde kyali kiraga kunyigirizibwa,Omulamuzi akirize akolere wamu ne banne,mu kutabagana, ku lw’obulungi bwa Buganda, ensi y’aboobwe.
Nga bweyali nkola ye, era ne kuluno yateekerako ebbaluwa ye mu mukono gwe nga Kabaka, era n’aziweereza wamu, ewa Mugwanya.
Nga 1st February 1921, Mugwanya yaddamu mu bwangu ebbaluwa nga yebaza amabaluwa gonna, era nga agamba nti olunaku olwa 7th January bweyawandiiira Gavana, yannyonnyola bulungi enyimirira ye ku nsonga eno, era ebibye nebiggwa.Yagamba nti newankubadde Obuganda busiima nnyo emirimu gy’abukoledde, emyaka egyo gyonna, tekirisoboka okusiimibwa nate, singa abeera n’abaami bombi abo mu Office emu, era nga n’abo ab’Amagombolola tewali ayinza okukkiriza okukolera awamu n’omulala mu Gombolola y’emu.Wabula kino olw’okuba yali akikozeeko n’abami bano, ebikirimu yali abimanyi,era nga ssi mwetefuteefu okudda mu mirerembe egyo.
Yamaliriza ng’agamba nti embera bw’eba ezeeyo nga byeyabadde, ye mwetefutefu, ku lw’obulungi bw’eggwanga, nga bwerikyamwagala, okugira nga akola nga Omulamuzi, kuba yali takooye bukooyi mirimu gye.
Awo n’ayiwako omukono gwe.Stanslas Mugwanya, Omulamuzi wa Buganda.
Wayita mbale Kabaka n’afuna ebbaluwa okuva ewa PC nga alaga nga bw’akkirizza okusaba kw’Omulamuzi okuwummula.Eno yali eviiridde ddala wa Gavana, nga eriko enaku z'omwezi 7th April 1921. Kyokka ate era nga 21 April 1921 Kabaka n’afuna copy okuva ewa ba kazaala bulwa,Katikkiro Sir Apollo Kaggwa ne munne Omuwanika Yakobo Lule Musajjalumbwa,gyebali bawandikidde mukungu munaabwe Stanslas Mugwanya,era mu bumpi yali bw’eti:
“Tukuwandikidde nga tudda mu baluwa gewafuna okuva ewa PC nga bw’osanyuse kubanga yali akkirizza okulekulira kwo,okw’Obulamuzi bw’eggwanga.
Wabula ffe nga bakulu banno bwetuwerezza emyaka gino tekitusanyusizza,tetukisanyukidde.era okulekulira kuno, ffe tukirabye nti tokikoze lwa kwagala kwo, wabula kulwa ffe, era kiraga tewali mwetefuteefu kukolaganira wamu naffe, okuwererza eggwanga ly’aboffe.Bw’oli mukulu mu gwanga, mu myaka ne mu kitiibwa,singa wali oyagala okutabagana, wandigumiikirizza, n’omala emyezi nga 2 oba 3, n’olyoka olekulira, era ekyo kyandiraze okuwagalana n’okutabagana.Wabula mu kikolwa kino, oyolesezza nga bw’ototwagalira ddala, era kitulumye nnyo, tetwategeera nti totwagalirako ddala!”.......ka tukome wano”
Naye ggwe olowooza nti Mugwanya yali mwetegefu okumenyeka olw'ebbaluwa eyo?
Bw'oba olowooza bw'otyo, okigudde kubanga kyeyali asinga okwettanira lye linya lye, lyeyali akoloredde emyaka emingi bwegityo.Eno ebbaluwa teyamunyegenya nako, era n'agenda mu maaso okusaba akasiimo, n'ebinaamuyamba mu bulamu bwe nga awummudde( Pension and Gratuity)
Era eno yawandiika bbaluwa, nga mu bufunze yali bw’eti:
.....”era sebo nga bwenasaba, mu kuwummula kwange olw’emirimu gyenkoledde eggwanga mbadde nsaba okuweebwa bino wammanga:-
-Pension, mu kino neme okubulwa ekinanguliranga enyama, era neme okwegomba ebirala ebyetaago mu bulamu.
- Nsaba mpeebwe abawereza 25, kuba mbadde nina abawereza awamu 70, abampandiikibwako nga Omulamuzi.
-Nsaba abapakasi ab’akasanvu abaweebwa Olukiiko buli mwezi, mpebwe 10, wabula nga bano neteseteese okubasasulanga.Bano mbadde na 22 abampandiikibwaako
-Era nsaba abasibe 3 okunongosezanga awaka wange ku kibuga, walabikenga bulungi kuba bano bbo nze mbadde mbafuga.
-N'ekisembayo mukama wange n’obuwombeefu nsaba okukkirizibwa ndabenga Kabaka wona wemba nga njagalidde okumukyalira, era n’okumutoneranga ebirabo nga mbadde nina kye mmuwa.
Nze musajja omukulu ennyo eyakwasibwa Kabaka okumukuza,kuba ndi Regenti,era mmulaba nga omwana gwe n'ezaalira nze kenyini.Naasanyuka nnyo nga mpereddwa ebyo byensabye mukama wange.
Nze omudduwo omugonvu ennyo S.Mugwanya.”
Ebbaluwa eno Mugwanya yagiyisa wa Ssabasajja Kabaka,era okwo Ne Kabaka kweyateeka eyiye, nga esaba Gavana n'okukkaatiriza ebyo byonna Mugwanya by'asabye, bibeere nga bimuweebwa.Okwo Kabaka yayongerako okusaba nti bwewanabangawo okuteesebwa ku nsonga yonna enzibu, oba enkulu ennyo,asobole okwebuzanga ku Mugwanya, n’okuwabulwa.Wamu n'ekyo, Kabaka era neyeyama okwogera n’abaami (Ministers) Mugwanya okubeeranga n’eddembe okuteesa nga olukiiko lutudde, era naye abeerenga n’ebbeetu okuteesa nga ababaka bona ab’olukiiko.
Bweyaziwereza Gavana, ku lunaku lwe lumu, nga 25 April Gavana Coryndon n’awereza okuddibwamu kwebyo Mugwanya bye yasaba, era nga asinziira ku mirimu egy’ettendo Mugwanya gyeyakolera eggwanga lye. Obwesigwa, obwesimbu, obuvunanyizibwa n’obuzira, Mugwanya bye yakozesa ebbanga lyonna, byasikiriza Gavana okumuwa byonna nga bweyabisaba.Mu bbaluwa Gavana gyeyawandiikira Mugwanya ey'okumuwa byonna byeyasaba, yamaliriza nga yeebaza ne ssekwebaza yenna, obuzira n’obuvumu Mugwanya byeyakozesa okuweereza eggwanga lye.
Era ku eyo, Sekabaka Daudi Chwa n’awererezaako ebbaluwa ye( Era nga enkola ye bweyali) Eyozayoza okuwummula, era n'okwebaza Mugwanya olw’ebyo byonna byeyerekereza nga awereza mu biti ebyenjawulo, mu myaka egyasukkira ddala amakumi asatu.
Nga Gavana bweyamwebaza mu bbaluwa ye, era ne Ssabasajja Kabaka Daudi Chwa yebaza nnyo Mugwanya olw’obwesimbu n’obumalirivu byeyakozesa ebbanga ly'eyaweereza mu biti ebitali bimu mu Buganda.
Ssekabaka Chwa weyawandiikira bino, Mugwanya yali akyeyagalira mu kuwummula kwe, era yali ku lusegere lwa Ssabasajja, nga muwi wa magezi mu bintu ebitali bimu ebikwata ku nyaffe Buganda.Obulamuzi obukulu obw’eBuganda yamalirako ddala emyaka 20.
Kyaddamu okufuluma mu 1997, era nga kyafulumizibwa CRANE PUBLISHERS LIMITED.
Omulimu gw'okufulumya ekitabo kino gwakwasibwa Ow'ekitiibwa Alhaj Mustafa Mutyaba,
Minister w'Ebyobuwangwa,Ennono,Olulimi Oluganda n'Ebitabo.
Bulange Mengo.
Ku lwange kimpa amaanyi okulaba nga wakyaliwo empagi luwaga,eziwaddeyo amaanyi n'ebiseera okuyimirizaawo obuwangwa,ennono n'olulimi lwaffe okutaakirizibwa obutasaanawo.Era wano owekitiibwa Alhaj Mustafa Mutyaba mwebaza ak'ensusso.
Ekitabo kino kyasookera ddala kufulumizibwa Ssekabaka Daudi Chwa,wabula Oluvannyuma lw'okuddizibwa Ebyaffe,Ssabasajja Kabaka Muwenda Mutebi II n'akwasa ow'ekiitibwa Alhaj Mustafa Mutyaba eddimu lino, era ly'akoze obuteebalira.
Omulanga gw'ow'ekitiibwa oyo nga yakakwasibwa omulimu guno, kwali kukubiriza abalina ebitabo nga kino okubeera nga babimuweereza,abeere nga abikuba mu kyaapa,(Re-producing)naddala ebyo ebitakyasoboka kufunika mu matundiro,wabula nange nsaba nti singa kisoboka,nga olina ekitabo kyonna ekifananako kino, okiwereze connect uganda ekole entegeka,esobole okukituusa ku batalina mukisa kukigula,fenna tugabanire wamu mu kukisoma.
-Omukiise wa Forum Namba emu,(No.1)ku ddoboozi lya connect parliament, nga ye Ow'ekitiibwa Meli, olw'okwerekereza emirimu gye, n'akola entegeka z'okuntuusaako ekitabo kino e bunaayira gyendi,nsobole okukiwereza ku mukutu gwa parliament yaffe eno.
Era nebaza
-Abakiise ba parliament bonna, mu bitiibwa byabwe, olw'obuwagizi bwebandaze nga nkola omulimu guno.
Ne maliriza nga neebaza ggwe omusomi, kubanga w'otali, tewali kijja kuwandiikibwa, kuba tewali asoma!